Kino kye neeyama ng’akalombolombo kange
Eky’okujja mbasunirenga endongo
Ndi mwana wa wano ate omudongo omutendeke
Owa ddala muganda wammwe Kafeero
Temumbuusabuusa ne mu bika by’Abaganda
Nsibuka mu kya jajja wange Mugema
Kabube ttumbi wakati bwe ndigenda mukonkone
Anzigulira taboola bantu ba Kika
Obwo bubeera butalaba okuleka wali muganda wo
N’ozza gw’otomanyi ku lusegere
Mukyawulanga kusosola okwo kuba kumanya
musaayi gwo
Nga n’enda ebagatta ye ttabaganya
Ndi mumalirivu nnyo okufiira ku kyantumwa
Kyo ekyo eky’omulimu gwange nsobola
Ŋŋumidde n’okuvumibwa eyo yonna gye ŋenda mpita
Nti era n’ekitiibwa kyange kitono
Sso nsikiriza n’abagwenyufu mu nkoba za guitar
Wendi bonna bawola ne bateeka
Ebigambo ebikonjere bye bajja bansomasoma
Nabikwasa musumba wange Katonda
Ngiyizza obuyimba bungi
Era mbyatulira mu lulimi Luganda
Ne mu maaso ga bakama bange
Nfuba okola ekituufu era ŋonze
Siyinza kweyisaayisa kikungu
Ebyo by’ewaka wange nga ŋenze
Singa eyo ye yali enneyisa mwendi
Mpaawo yandintegedde mu mmwe
Nsenvudde!

Abo be weesiga boggulira  n’ebyama byo
Munnange begenderezenga bakakkali
Omuntu gw’onyumya naye omufudde na muganda
wo
Okufuukira obutwa ssebo kyangu nnyo
Emikwano tegyewalwa era kizibu okubeera mu nsi
Nga weemaliridde gwe oli omu
Nze awo nkoteka omutwe nga nkubyamu gye ndiseegera
Okuwugula endowooza zange abantu
Nkugambye tebagendeka gwe n’abo b’ojuna
Weyolera mayute ga mu kkundi
Omuntu gw’onyumya naye nga muteesa ekisaanira
Mwogera ku ngulu nga munda ngo bugo
Tufaanana bu kkapa kuba osobola okuzannya nako
Naye okakwata mu kibatu olwo olunyumya
Essanyu lyatusiibula ensi yonna n’edobonkana
Okuva kw’oyo gw’olina ku lusegere
Nze sibagambye muve ku bammwe
Era sikugaanye bawe balye
Naye abo b’olaga omukwano bw’otyo
Be bakulojja nti mwawola
Munno wo gw’oyiiyiza akalungi
Y’akwogerako nti weegula gy’ali emikwano gitye

Bataayi nkoteka omutwe nga nkubyamu gye ndiseegera
Okuwugula endowooza zange abantu
Ebyererezi gyebiri mw’osobola ozimbako
Ne weesumalika obwa namunigina
Naye ng’ebyo tubyelesa eddungu teryesoggeka
Okuva mu baganda bo ekyo kikakali
Gwe ago amabala g’olaba ne langi z’obafaananya
Ziba za ngeri ku ziba myoyo ate
Zifuuka n’ebiro ebimu mu ngeri gy’otaziteebeza
Ffe lwa butaziraba munda muli
Nange ntuula ewange ne nnyaniriza
Ne gwe manyi omubi gwe ate n’azimba ŋanyurwe ki?
Naawe oyo mupangire kuba akwekubako ojune
Naye kaanasomoka eryo ejjengo
Bw’aliyima we wamugwanyiza ekkompola lyalisindika
Ndifaananya mbwa ya ku kisanvu
Ssebo oliva ne ku by’okola omale obune obufo
Okunoonya w’oneewogoma ekitalo
Kati wano omulaga ekkubo era omwefubako ayige
Naye alina ekitala mu nsawo ye
Ab’emikwano bantamye nze gw’olaba
Okuva ku kye ndabye mu nsi omuto nti
Ne kaakati nalinnye ku brake
Okukuggulira ekyange mba nkusiimye
Ne bensekera nondamu balonde
Baakimmalako lwe bansinisa amannyo
Nina warning eri abagwa obuzoole
Ne baneetemerako mu lujjudde
Mwegendereze!

Oyo nfa nfe wo gw’oyanjalira n’ekisenge kyo
Be bamu ku batuyita abo emmanju
Akeera n’ewuwo okumwazika ky’oyambala
Era n’omulondera ekyo ekinyuma
Bw’amala y’abyogera ng’oweebuuka mu bataamanya
Nti Kafeero alina ebizibu mu ngoye ze
Gwe lwaki tonzibirako omuntu eyajja awanjaga?
Nze nga nakwesiga ne nkujuna!
Z’ezo langi ze nkukuutira ajja na ndala gy’olaba
Tafaanana bwatyo munda muli
Wano ajja bw’omu ewuwo era omwaniriza
Naye alina ekkumi awo emabega
Amagimbi gababunye ku myoyo ba nkwe
ezitagambika
Nze bandippako ku kkoligo
Mu kufunvubira ennyo okole n’okwerwanako ofune
Oyita mu buzibu obugudde akaleka
Ziba nsaalwa mu bootolaba okukwebaza n’okwesesa
Bakutimba bbula gwe butamanya
Teweekanganga ebyonziira ekyo bwe kiba kirina okuba
Nga baagala okomya oyo ayitawo
Bakusiima wabirwanyisa wano mu kujja obaazike
Abamu no kuba na kuwaalirira
Bangi nnyo tubaazise bw’amala okufumya ekyamuweebwa
Ng’adda wuwe ng’abunira
Gwe gwenyumiza teweeyibaala naawe
Akanaakulyako amenvu go bwe kajja
Kasooka okususa nga naawe weesesa
Ekyakaleese okyevuma okakwanye
N’abakondeere bakwanya mikka bwe batyo
Gwe abalaba n’obatenda okuteesa
Mu mitima mu baabeeramu obuwaayi
Gye bakwanya egyo gibeera mikka bukka
Ssi nda zaabwe

Nze k’empisa ziŋwenyuke
Gube musango mu myoyo gyammwe
Sikitidde kuba ntegedde abantu
Nafuuse kigere kya mbogo bakyegezaamu weetaba
Sso bwe tukwolekanya okwenyezebwa
Nze kati nkola byange sikola kusiimwa batantuma
Oyo atayagadde ng’alekayo
Nakyuse ne mu nneeyisa abo abaali bataayi bange
Mbatunuulira kati mbapima
Nze era nabatidde nnyo okumpemukira bwe batyo
Era kwe kupanga bwentyo ebintu
Ab’emikwano nabayimbye lwa kumpemukira bwe batyo
Nze kwe kuyimba bwentyo ensonga
Entegetege zibakankanye okunkomya obutwa ku mumwa
Ate ne nkibalanga batidde nnyo
Mbanjadde nnyabula munoonye eky’okunkola
Nze omwana w’embuga niigiina
Bampe kugenda kulaba ku bannyinaze
Mbanyumiza kye neekoze e Buganda
Ngya na kuyita mwa muzeeyi bwentyo
Eyo gye n’ava by’olere mikwano…

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *