Emikwano Lyrics – Kazibwe Kapo

Sso kale nali mbyekubye
Ebintu by’okuganza abakazi nga byantama
Nga byankogganya
Natuuka n’olowoozesa enkumu nalwala na dda
Gundi abawala nga bansumbuwa
Ne bankaabya omuntu omukulu naswaluka
Nabeegayiriranga ne nkoma
Tewebuuza ekyansikanga maama
Natyanga nnyo obalirwa enkumu nti bange bonna
Bubeera buswavu okubaawo gundi
Ku kyalo kimu n’ojja obalirwa abakazi mwenda
Amakulu g’engoye olwo oba ogasudde
B’oyambalira nga bakumanyi wenna ne munda
Buli omu okumanya ekikula kyange
Ky’ekyampaliriza mbe ne Betty akuume ku byama
Ekyandesa Cissy kutya makongo
Omuntu amansa obutonde bwe sibeera waali
Eyafa n’eyasika bonna bazoole
N’ono gwe nfunye ekitone kye ekikulu bwenzi

Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’
Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’

Buli omu n’ekitone kye yagabana
N’omuwala Betty eky’obwenzi mugagga mu kyo
Bw’ogaba ngule star mu bwenzi
Oyo agiwangula nga tagabye mulonzi yenna
Muntu mulungi mugoggofu
Sso n’enjogera ye mukakkamu tapapirwako
Omwo mwakwasiza abalenzi be
Kuba enneeyisa ye n’endabika talaga ky’ali
Yasooka kubeera mukwano gwange
Ne munyumiza eby’abawala bye bankola
Yeekubagiza n’ansaasira
N’aŋamba mbeere mugumu ebyo bwebityo
Wamma kye saamanya nti oba mbizadde
Ky’ava aŋamba tubeerane nti ye ssi bw’ali
Bwe nawulira ebigambo bye
N’anfaananira obutanjuza nagamba ky’ekyo
Laba bw’atwala endowooza yange
Sso tuli nkumu mbeerawo lwa substitute

Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’
Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’

Buli omu ne style mu bwenzi bwe
Gwe nkunyumiza nga tofubye tomutegeera
Bw’akuwa laavu tosuubira
Enjagala gy’akwagala nti oliko ba kiyambi bo
Sso nno bambi n’enjogera ye
Kizibu omubalira amayisa ag’ekigwenyufu
Omwana w’omukazi omugogofu
Obulungi bwe yabukuba mu latrine
Ekisa akirina ekyegabangula
Muntu wa nabaki ow’omutima ogutaligaana!
N’engoye aseerwa za bbule nze ndaba bambi
Kuba byakweka babimanyi omuluka gwonna
Siggya gumira biyungu byammwe
Laavu engabanye nze yannema musajja wattu

Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’
Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’

Omuntu ky’alabika kale ssi ky’aba
Nange ekyantomeza mbeera ye nga tategeerwa
Awo we yasikira omutima gwange
Bukyamba na ggume lyaggwawo nawangulwa
Nga ssinamuyiga nga nacacanca
Buli w’abeera simuleka nga nange we mba
Sso ng’abandaba kale basunga
Ekisa ky’alina bakimanyi talumya muntu
Era nze kaakati ssikyeraga
Ne bwemba nkufunye mbikwekamu lwa mpisa zammwe
Owoza nafunye ono ye mwawufu
Sso nga gy’abeera yababuna dda mwana wange
Awo we nkomye bataayi bange
Kazibwe Kapo ge mannya go tegakyuka

Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’
Emikwano gya luno emigattike
Gimpalirizza mbeere muwuulu sigattikwa
Kintumako mponye baggya bange
Nze omwenyinyaze ebyo mbivuddeko si ‘seyalingwa’

Submit Corrections