Ekyombo Kya Noah Lyrics – Nambi Gloria

Ensolo ne ziyingira nga balaba
Biwuka ne biyingira batunula
Binyonyi ne biyingira nga batemya
Naye nebatayinza kukiyingira
Ensolo ne ziyingira nga balaba
Biwuka ne biyingira batunula
Binyonyi ne biyingira nga batemya
Naye nebatayinza kukiyingira
Mbu ensolo enjama zaali muli
Obubi bwazo bwonna omwo
Mbu olwo ekyombo ne kijamawala nnyo
Olw’ensolo ennyingi ezaakirimu

Ku ngulu baagambanga
Tekikola sense okusula mu nsolo
Amataba bwe gaatandika
Batuuka ku kyombo nga kyesibye
Olwo ne bakaabira Noah
Nti Noah, otuggulire
Ne balinnya ensozi, emiti n’amayumba
Nga tewakyali kye bazza

Newankubadde nga kyali kibi
Ekyombo kya Noah kyali kijama
Lyokka ly’eryali ekkubo
Mwe bandiyise okuwona amataba
Newankubadde ng’ogamba
Nti ebya Yesu bizibu tebifuna
Lyokka ly’ekkubo ettuufu
Ery’okutuwonya obusungu bwa Katonda

Noah n’abakaabirira
Nga yeegayirira bayingire
Nebatayinza kukiyingiramu
Olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe
Ne beesiga emikwano omutali
Nti gundi anaawulilra atya?
Amasanyu, obugagga n’ebitiibwa by’ensi
Ne bikakanyaza emitima gyabwe

Abagezigezi baagambanga
Nti tewali tebanga Katonda
Ne bakakanyaza emitima gyabwe
Nga berowooza nti bakugu nnyo
Naye kati mbu batidde
Balengera oguyinja guli ku speed
Nti gwa kubuutikira ensi yonna
Eky’okugukolera tebakimanyi
Laba Bayibuli eranga ejjinja
Eryatemebwa ewataali ngalo
Ne likuba ensi n’abatuulamu
Ne biba bisasiro ne bifuumuuka
Laba Bayibuli ekiranga lunye
Nti ejjinja eryo ye Yesu
Ow’okufuga ekibuga ekirungi
Abatukuvu mwetulituula

Newankubadde nga kyali kibi
Ekyombo kya Noah kyali kijama
Lyokka ly’eryali ekkubo
Mwe bandiyise okuwona amataba
Newankubadde ng’ogamba
Nti ebya Yesu bizibu tebifuna
Lyokka ly’ekkubo ettuufu
Ery’okutuwonya obusungu bwa Katonda

Noah n’abakaabirira
Nga yeegayirira bayingire
Nebatayinza kukiyingiramu
Olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe
Ne beesiga emikwano omutali
Nti gundi anaawulilra atya?
Amasanyu, obugagga n’ebitiibwa by’ensi
Ne bikakanyaza emitima gyabwe

Kino ky’ekyombo kya leero
Yingira amataba gakutuuse
Eby’obugagga n’emikwano bye weesiga
Biriba vvu ku lunaku luli
Laba ekyombo kyesiba nkulabula
Fubutuka oyingire ekyombo
Ziba amatu eri abasekerezi abo
Kubanga y’engabo y’omulabe leero

Noah n’abakaabirira
Nga yeegayirira bayingire
Nebatayinza kukiyingiramu
Olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe
Ne beesiga emikwano omutali
Nti gundi anaawulilra atya?
Amasanyu, obugagga n’ebitiibwa by’ensi
Ne bikakanyaza emitima gyabwe

Newankubadde nga kyali kibi
Ekyombo kya Noah kyali kijama
Lyokka ly’eryali ekkubo
Mwe bandiyise okuwona amataba
Newankubadde ng’ogamba
Nti ebya Yesu bizibu tebifuna
Lyokka ly’ekkubo ettuufu
Ery’okutuwonya obusungu bwa Katonda
Repeat to fade

Submit Corrections