Mwenna abawasa n’abafumbirwa mbayita mbaagala
Waliwo ekyalemye
Abawasa n’abafumbirwa mbayita mbaagala
Waliwo ekyalemye
Mwanguweko musalewo nkooye okuziika
Nze mpulira nenyiye
Abafumbo abakutuka emisana n’ekiro
Ez’embaga zifiira ki?
Ggwe ate omuntu n’ayiwa bwatyo ensimbi ze
Mbu ayagala mpeta
N’aleeta n’abemikwano awo ne bajjula
Embaga n’enyuma
Kyokka essanyu mu maka ate ne limwepena
Likoma mu bugole
Omukazi olufumbayo emyaka giba ena
Olwo n’atandika
Okulwala ebirwadderwadde eby’okumukumu
Ensimbi n’oyiwa
Ng’ojjanjaba mukwano gwo omugole gw’olina
Nti era atere awone
Bw’obuuza ku mukyala wo ebimbe ebimulya
Nti baggya bange bandoze
Ate awo n’omuggyayo ku kitanda e Mulago
N’otwala masabo
Omuganga agambirawo olutalo lw’oliko
Nti omukazi ajja kufa, ho!
Muggya we amuli bubi amuloga tamweguya
Amwagaza ttaka!
Awo nno n’omutoolera ensimbi n’omuwa
Omuganga n’azirya
Ng’ono omukazi ekimuluma akimanyi ky’alina
Tayagala kuyogera
Mu mutwe gwange nafunye ekiwuka eky’eddalu
Nze ŋŋenda kubalangira ho!
Ssi ku kino ekiwuka eky’akazoole kye nfunye

Muno mulimu
Eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Maama eky’eddaluddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hajji Lwegaba abayita abalwadde
Muno mulimu
Mwenna temwekisa
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mugende mu ba Kammengo munywe ku ddagala
Muno mulimu
Eddagala libeerayo
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Buli bwe kyetigonyola obwongo ne budduka
Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mpulira eky’eddaluddalu ekiwuka ekinsena
Muno mulimu
Mpulira eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mulimu eky’eddaluddalu
Ddalu, ddalu, ddalu!

Ggwe lwaki bw’olwala toyagala kuyogera?
Ne munno wo n’amanya
Lwaki ng’olwadde toyagala kuyogera?
Ne munno wo n’amanya
Nti ono nno omukazi oba omusajja gwe nina
Yalinnya mu kaveera
N’otandika onoonyereza engeri gy’obeerawo
Obulamu tebugulwa
Bwoba nga walinako bba wo emabega
Naye nga yakufaako
Kyokka ng’olumbe olwamutta tolumanyi
Ng’olubuusabuusa
N’otandika olwalirira omusujja ogwakabi
Ogw’olutetenzi
Lwaki togendako mu kyuma e Mulago
Ne bakukebera
Bwe bakizuula nti nno ebiwuka byalimu
Nga naawe by’ebikusoya
Siraba nsonga lwaki toŋŋamba
Mmanye bwe nalinnya mu kaveera
Ne ntandika onoonyereza eddagala erijuna
Fenna ne tulinywa
Ne tuwangaalako nga n’abaana bwe bakula
Era ne basoma
Ne tubategekera wa we basigala
Bwe tuba tuvuddewo
Mpozzi ate mulimu n’abaami abazibu
Omukazi n’amutya
Ssebo ate mulimu n’abasajja abakambwe
Omukazi n’akutya
Ng’akimanyi bwanakugamba omusibirako
Oba oli ku bibyo
Kuba ne bw’omugoba ng’ebiwuka byalimu
Era naawe bikubeeramu
Ssebo wange omugoba ng’ebiwuka byalimu
Era naawe bikubeeramu
Ffe abasajja tugwira nnyo abakazi abawedde
Ng’era ba namwandu
Bwe tulaba diifu n’olususu lw’alina
Ne tugenderawo
N’abamu ne batufaako era ne tumanya
Kyokka ne tusirika
Muyige okwogerangako nti omukazi eyafa
Nagenderangawo
Nabagambye dda nafunye ekiwuka eky’eddalu
Nze ŋŋenda kubalangira
Ssi ku kino ekiwuka eky’akazoole kye nina

Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mulimu eky’eddaluddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Mpulira eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Buli bwe kyetigonyola obwongo ne budduka
Muno mulimu
Kati ngya kubalangira
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Muyige okwogerangako munywe ku ddagala
Muno mulimu
Eddagala libeerayo
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hajji Lwegaba abayita abalwadde
Muno mulimu
Mwenna temwekisa
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mugende mu ba Kammengo munywe ku ddagala
Muno mulimu
Eddagala libeerayo
Muno mulimu eky’eddaluddalu
N’abasajja muyige nammwe okwogera
Muno mulimu
Nti nno kyansena
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Nabagambye dda nafunye ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Kiringa kya ndiga
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Buli bwe kyetigonyola obwongo ne budduka
Muno mulimu
Awo ne ntandika
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Maama eky’eddaluddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Mpulira ekyeddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Maama eky’eddaluddalu nga kinnyogootola
Muno mulimu
Mpulira ekyeddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mulimu eky’eddaluddalu
Ddalu, ddalu, ddalu!

Lwaki mwagala mufe ng’ensimbi ziweddewo
Abaana basigaze ki?
Mmwe lwaki mwagala mufe nga ssente ziweddewo
Abaana basigaze ki?
Omuntu n’osirikira olumbe lw’omanyi
Mbu otya kuswala
Laba ate bw’alukweka munne amujjanjaba!
Ssente ne zoonooneka
Sso bw’oba ojjanjaba ng’omanyi ky’ojjanjaba
Ensimbi zigenda ntono
Eddagala eriweweeza olumbe libeerayo
Emyaka ne gitambula
Ne mulabirira ezadde lye mulina
Kuba ssente zibeerawo
Obeera okimanyi nti abasawo bampima
Nnywa dose ya mmeka
N’okola budget buli ssente z’ofunye
Ng’ezolumbe zibeerako
Kisinga lw’ozikwata n’ozissa masabo
Ng’olumbe ssi lwa mu ssabo
Abakazi mwesuulamu n’akazoole n’eddalu
Nti amayembe gantuze
Muliraanwa ne muggya wange oli gw’olina
Banzitira ddala
Wano aleka akutabudde ne bano b’olina
Ate naye n’akufaako
N’osigaza zero ng’omukazi tolina
Nga ne ssente ziweddewo
Banno abandikuyambyenga ng’avuddewo
Yabayitanga balogo
Mikwano gyo abandikuyambye ng’avuddewo
Yabayitanga balogo
Kyokka nga yali amanyi ye gye yayitako
Nti yaleka yaziikayo oh
Amaanyi g’ekisajja gampedde ku bye ndabye
Nŋenze kuwuula awaka
Nabagambye dda nafunye ekiwuka eky’eddalu

Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mulimu eky’eddaluddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Kiringa kya ndiga
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Buli bwe kyetigonyola mba ntabanguka
Muno mulimu
Mulimu eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hajji Lwegaba abayita abalwadde
Muno mulimu
Mwenna temwekisa
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mugende mu ba Kammengo munywe ku ddagala
Muno mulimu
Eddagala libeerayo
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Ssi ku kino ekiwuka eky’akazoole kye nina
Muno mulimu
Mulimu ekyeddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Muyige okwogerangako nti olumbe lwansena
Muno mulimu
Muyige okwogera
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Maama ekyeddaluddalu ekiwuka ekikambwe
Muno mulimu
Ekyeddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mpulira eky’eddaluddalu nga kinnyogootolo
Muno mulimu
Mulimu eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Mulimu eky’eddaluddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Kiringa kya ndiga
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Muyige okwogerangako nti olumbe lwansena
Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Ddalu ddalu ekiwuka kye nina
Muno mulimu
Eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Kati ddalu ddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Ngya kubalangira
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hmmm ddalu ddalu ekiwuka kye nina
Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Muyige okwogerangako nti olumbe lwansena
Muno mulimu
Muyige okwogera
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Muyige okwogerangako munywe ku ddagala
Muno mulimu
Mulimu ekyeddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hmmm ddalu, ddalu, ddalu!
Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Ddalu ddalu ekiwuka kye nina
Muno mulimu
Eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Kati ddalu ddalu ekiwuka eky’omutwe
Muno mulimu
Kati ngya kubalangira
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Hmmm ddalu ddalu ekiwuka kye nina
Muno mulimu
Maama eky’eddalu
Muno mulimu eky’eddaluddalu
Ddalu, ddalu, ddalu!

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *