Ekyapa Lyrics – Abdu Mulaasi

Ngya kuyimba ebyange ng’eno onyumirwa
Olituuka okkakasa nti ono azuula
Ngya kuyimba ebyange ng’eno onyumirwa
Olituuka okkakasa nti ono azuula
Kantakule obwongo ng’eno ompaana
Eyantuma yali muyinza Katonda
Ebigambo bye nnyimba yampa ebinyuma
Bwe nsumulula emboozi ogamba Nabbi
Nga mwagala okulaba atuuza emyoyo
Yenze akatono body mu bwongo nzitowa
Ngya kutonda emboozi ewooma okunyumya
Okwate ku nkoona nti ono awooma
Ngya kufuula ekikopo nkiyite ennyweso
Omuto bw’akinyumya totta mbeera
Ky’obadde okweka nti nno oswala
Ngya kufuula erinnya kiwoomye ayatula
Nze bampita Abdu ssikyusa Nabbi
Ab’Olugave Siimu yenze ayimba
Na kati ekindeese kyapa ŋŋombo
Buli alina ebbeere ekyapa nkigula
Sisosola ggwanga kasita onyirira
Ettaka linkwase nti nze nnyini lyo

Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nkooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa, ah
Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nakooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa

Ekinfudde amaaso gafuuke enniina
Abakazi ze poloti ezandya omwoyo
Mbaagala bannange mpozzi agaanyi
Mmuleka n’agenda gwe ate nkole ki?
Singa abantu tulinga ebisolo
Twalibagobye endiima ne tubba ebyama
Bya mpuna bannange gwe ate nkole ki?
Emmeeme bw’etabanguka olya emmwanyi
Naye tusiimagana ng’era abantu
N’onkwasa poloti nti nze nnyini lyo
Laba bwe weerabira okumpa ekiraga
Nti gwe nsanga alimako mmukube ennyondo
Kano ke kadde ngaaye embaati
Buli eyasenga ku poloti zange aveeko
Nannyini poloti yenze ntuuse
We nagula ekyapa ng’oyo mmugoba
Abanguza empewo nakooye abanyazi
Land board omuzadde abeewo
Onkwase ekibanja kyo ng’atunula
Gwe nsanga alimamu muteme najjo

Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nkooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa, ah
Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nakooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa

Ow’ekikye aba n’obubonero obulaga
Atabulina oswadde olidde efisse
Waalirya n’enkaafu gwe ate obaawo?
Yakuguza poloti okutali ajulira
Omulala osanga atakula nkokoto
Mbu azimbeko mbu naye abeewo
Ka poloti ke katono fenna atujuna
N’owa liizi alimako butunda
On’obagamba otya nti nze nnyiniwo
Omwana ky’ekyapa obwedda mbaleka
Omukazi ye poloti buli omu agigula
Buli alina ssente osanga alamuza
Kati mumpe ebyapa
Nakooye weebale ammalirawo ssente
Ka nziwe b’abaana
Kati naawe anjagala gira oggyeyo ekyapa
Osighninge boy
Oba girl ekyo ndinyumiza Mukama
Nti nayina abaana

Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nkooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa, ah
Njagala ekyapa
Buli anguza ettaka anteereko n’ekyapa
Nakooye abalima okwange
Buli mukazi njagala ampe n’ekyapa

Muve ku njogera ezibba ebintu
Nti bwe nkuzaalira omwana ng’enkya onkyawa
Gwe bw’oba onkyaye omwana anjagala
Bw’alifuna amagezi osanga annyamba
Ezo enjogera z’abo bagumba
Mbu bwe nkuzaalira omwana owange alye ki?
Nze ndya ku za taata ampabula aveeyo?
Nze nnyamba owange omuzadde Katonda
Maama yanfaako abeere mirembe
Nze kyapa kya taata yagenda akirina
Amakulu g’ekyapa omwana ayigga
Bw’afuna kayizze omuzadde abuuka
Abankudde ebbanga mwenna mbasaba
Mbaagalamu ebyapa tubeere mirembe
Buli mukazi anyirira nnaaza entuuyo
Nkufunemu ekyapa Buganda ebeewo
Awo ojja kuwaana omufuzi nti nno abeeko
Ng’abanaamuwa akalulu yenze nzaala
Leka ebigambo mbireke
Nakula kano akatwe kava mboozi
Olutatta muyima
Terumala nnyana nkyakasuka ennyimba
N’amannya galinnye
Abdu Mulaasi kavumbula mboozi
N’e Bulaaya bituuke
Abdu Mulaasi kati asaba ebyapa
Mwenna bbaayi

Submit Corrections