Ekitiibwa Kya Dokita Lyrics – Fred Sebatta

Bwenfunye ekitiibwa kya Dokita ka ntaganjule obwongo
Ntumidde ne basawo bannange abagwa mu biti ebingi
Okufuna ekitiibwa kya Dokita mu kusoma oba olwanye
N’amateeka ne gakukkiriza mbu obudeebude ataawa
Nafuna n’akafo we basanga e Mmengo we nkubye ekitebe
Abalwadde mbasaba mwewalirize musembere wendi
Bino biyamba mmwe
Tugezeeko okufuba ku ndwadde ezibatemula
Asiika obulamu nze nkumiddewo ekyoto
Ngya kubatendeka temwenyooma
Nga mbalaga obulamu bwe bukwatibwa obagasa
Osanga kyandiyamba n’abasawo
Ng’omulwadde azze ayina ky’amanyi okeberwa

Ekisooka okutuulira endwadde kintu kyakabi gyemuli
N’omuntu okulwala notomanya ndwadde gye yava ekubake
Ne nkubuuza olumbe lwajja lutya maama tusale amagezi?
Nga tompuuna!
Ab’embuto ebisa lwe byesomba olwo lwe mulaba abasawo
Abalala zibabuga ttumbi naatafunako ayamba
N’abaami batono b’osanga abafa kw’alina olubuto
N’ensimbi ewaka gye yekuumya n’ebula alina omwami
Waliwo no abasaba n’obuyiso nti nze lwe ntera okuwona
Talinda na ddagala ly’omukubye nti oba limale okukola
Ng’abaka nguuli
Y’omu ayagala eddakiika eyo abeere ng’amaze okuwona!
Basawo by’ebitumala amaanyi
Ne mutulangira amalyansimbi
N’empiso bwe tuziteekamu amazzi!

Simanyi ng’eriyo abanambuuka kati kambake abanyaga
Mu mazima eriyo abakyafuwala n’obula okuta obusawo
Nga n’obufo obuyonjobwa ggirita teyitangayo nende
Naawe nfune we nkutandikira nti ssebo nzize naabye
Abalala kiva na ku ndyambi ng’awaka alimu obukopi
Ŋamba mmwe abakozesa enkumbi
Enswera esaabye wabweru gy’ovudde
Laba bw’ewugira mu luwombo lwo olw’enva
Olugisena mu ssupu ne yewaana
Emikisa emingi bw’ajja n’okufa ssente
Aba woteeri, obutale n’ebirabo
Batono abalina we mukyamira awalabwa
N’olyoka olaba atoga mu by’atunda
Nga ddala kolera gw’aba atemera empenda
Tulabye!!!

Amaaso gatulaga ebinene omwoyo ne gubyanjuluza
Era kati ssikyanenya basawo nze abalwadde munkanze
Jjuuzi awo omusawo yannumba okunkuba ettu lya laavu
Mu mazima omuwala yeerebeza nga ndowooza taakeese
Abakyala bazibu nnyo
Ng’omwoyo gw’omukwano gwamulinnye
Akotyonkose obukanga
Ebyuma mupima abisindika eri
Kyava atandika okaaba
Nti munnange Dokita tonswaza
Saagala ogambe nti ndi wa mpiso nzungu
Era ndi mulamu kebera w’osanga
Wandinyambye ne nkuzaalamu omwana
Anaakufaanana omusaayi gw’ekisawo
Obwetowaaze n’eddoboozi lyo eddungi
Yali serious nnyo lwa butaŋonza
Katonda n’annyamba ne mufulumya ebweru
Abange!!

Era kati ssikyanenya basawo baaba
Mu mazima labira kw’ono
Omuntu bw’oleka amakaago okusuuza nze
Buno obulamu bannange bumpi
Tomala getunda
Kitiibwa ky’amaka kikuume ogire okyassa
Osaana n’okuyiga ky’oli
Ebifa ku bulamu bwo
Laba Dokita wo akuyambe okugire endwadde
N’emigaso mu kulya gifuuze
Buuza ku Madam Anna
Ebintu by’asomesa bingi endya ennungi
Amazzi g’okunywa gafumbe
N’abaana bagemwenga
Laba nga w’osuze walungi tewava entaanya
Ate omubiri gw’olina ssi kyuma
Gukozese bulungi
Wadde olafubana kuba bulungi
Funayo essaawa owummuleko

Submit Corrections