Asoggola aligguula
Kw’omanyira ssi ye nannyini mbooli
Asoggola aligguula oh
Kw’omanyira ssi ye nannyini mbooli
Okugeza ng’omukazi nga yakusiba abaana
Abimba obusungu obulimu deal
Ebitangaaza ke mmaze obikka
Yogaayoga nga bimbunye amaaso
Teri mukazi ng’omuzaddemu abaana
Ayinza okukuteeka ku bunkenke atyo
Nze ninga nkuba atannaba kimanya
Kyesanga mu luggya kyetobya
Ow’omutima ogubuguma vvaawo
Eddagala ndeese likaawa kyanguko okudda
Abo abakyala atabatya ntya gwe!
Ku kigambo bya nfuna basuulawo eddiini
Kulwokuba nga mwadigidamu kko eyo
Akusiba omwana gw’amanyi ssi wuwo
Ekyama n’akisirikira ebbanga
Gwe kitawe n’ofaabiina okkuliza
Ne mateeka n’akutwalayo oluusi
N’oweebuukana bw’osuulirira abaana

Singa ssi bufunda bwa nsawo
Buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule
Buli awali leeba gavumenti ngisaba
Esseewo ekyuma kibe kitaawuluzi

Nakirabidde ku afere Deo
Omukazi yamugoba n’ewaka e Ssunga
Akalimu kamuweddeko alomba
Kko ne ssente ezibaweerera abaana
Emirembe gyamuggwaako Deo
Nga buli lw’adda ewaka avumibwa ng’akaana
Kumbe ekitiibwa ky’awaka okukikonga olusu
Abaana baali ba Male e Kyaggwe
Lwa bufuna mpola nze kye mmaze okenga
Buli musajja yaalikebezza abaana
Nfukamidde nga nsaba gavumenti wano
Buli we bazaalira etuteerewo ekyuma
Ng’omwana oluyingira ensi eno
Mu kitaawuluzi mw’aba ateekwa osooka
Obwenzi bwandisibamu osaaga
Ebyanguwa ne bujja buddayo e gindi
Mukazi ki alisalawo ekyuma
Kimulonkome nga bwe yamenyaamu cake?
Deo aba ali Kyabbogo kitawe
Gye yapangisa akasenge ayiiye ensi empya
Ow’olugambo n’amubbirako ntinno
Mu maka gye wava wewuluntayo essajja
Lyandiba eritabbuliiki nno
Kuba empale zaalyo ezisingayo nkomole
Lijja ne lyewejjeekawo enzingu
Mwattu n’abaana baalifaananye okamala
Tebaba abaana b’eritabbuliiki eryo
N’okuba nga ky’ekyakugobya e Ssunga
N’aleeta musajja we ow’edda
Deogratious waalikebezza abaana
Ba mugumu oba tolina ssente
Nze nzuuno neesowoddeyo okuwola
Teri mukazi alikugoba nkakasa
Mu maka nga yegwe taata w’abato ŋaanye

Singa ssi bufunda bwa nsawo
Buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule
Buli awali leeba gavumenti ngisaba
Esseewo ekyuma kibe kitaawuluzi

Yali yakiwulirako Deo
Mu mpulubujju nti eriyo akaayanira abaana
Kale yakeera bwa nawankya awo
Ku poliisi n’ajja aggulawo fayiro
Kkooti n’ekkaatiriza ntinno
Deo agende akebeze abaana
Omukazi n’apanga nnyo obiremya
Naye poliisi n’ebiteekamu force
Omusaayi baagubaggyako abaana
Bonna abasatu ne nkulabira effirimu
Results nga zimaze okudda
Waabulako azaalibwa Lwanga Deo!
Omukyala n’awemuka nnyo nnyo
Era ne kkooti n’ejja esalawo nga yo
Nti ennyumba omwagobwa Lwanga Deo
Emuddire era baakola nsobi omulumya
Yali abasaba ne school fees mbu
Ze yawangayo ku baana abatali ate babe
Kkooti n’ekisazaamu kyo ekyo
Nti kasita obulamu obusigazza Deo

Singa ssi bufunda bwa nsawo
Buli mwana agwa wali
Nga tonasola kinusu oba waakiri akagozi
Ekyuma kisooke kibataawulule

Abasajja muli mu kiti ng’ekyo
Muzeeyi Lwanga kati ate anoonya buto ezzadde
Bandiba nga b’olabirira ssi babo
Mutaayi wange waalikebezza abaana
Waliyo n’abaakuteze olubbo
Omwana n’akufaanana ennyindo
Kibeera kibi n’otwaliriza emyaka
Eno mu buzeeyi n’abakuggyako nnyaabwe
Amaziika go ne gajja gawewuka okamala
Nti ebyafaayo by’omugenzi talese zzadde
N’abawala be wandizaddemu abaana
Bagamba ani agenda n’omuzeeyi oyo?

Okuggwesa kw’enswa tekundiisa nkuyege abataka
Enkola ya wano omanyi akabasukka omumiro
Mulisamba ettale munoonye alingya mu ngatto
Ŋenze Kyengera abalungi nkole ku nguudo
Eby’obulamu n’obuyonjo byonna okubikwasaganya
Hmmm, n’ekibbattaka ndabe nga kifuuse olufumo
Awangaale omwana wa Muteesa
Yenze Walukagga mbasiibudde

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *