Ndi ndiga etayawula muddo
Oluusi ndya buli
Naye ekisa kyo era ne kinkuuma
Ng’akaweewo akanuuse obugere
Wakati mu mpologoma
Naye ekisa kyo era ne kinkuuma
Waliwo ekisa ekinondoola
Kye newuunya, aah!
Okuva obuto bwange
Mukama omukono gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kye nekola kintuusa eka
Waliwo ekisa ekinondoola
Kye newuunya aah!
Okuva obuto bwange
Mukama omukono gwo ngulabye
Ekisa ekinondoola
Ekitaŋŋanya era kugwa
Ekisa ekyo kye nekola kintuusa eka
Nali muzibe
Ng’ebyensi ey’omwoyo sibimanyi
Naye ekisa kyo era ne kinkuuma
Nali muto
Nga ndaba omusota ne nsembera
Naye ekisa kyo era ne kinkuuma
Ndaba ndiga
Naye ng’emisege gye mingi
Gyambadde amaliba g’endiga
Giri mu kusolobeza okundya
Laba ekisa bwe kimpalula
Kimpisa ku mumwa gw’empiri
Laba bwe kitegulula emitegoooo!
Ekisaaaa!!!
Ekisakye kyeyongre okulondoola era mukisakye olimuwanguzi !!
Mukama assume.