Ekimuli Kya Roza Lyrics – Fred Maiso

Mu bawala teri akusinga
Oli wa njawulo mu bulungi n’empisa
Gy’oyita bonna bakutenda
Boogera, beewunya
Enkula yo maama
Mwenya ndabe ku kazigo
Tambula nga bw’okyuka ndabe ne ku ffiga
Oli kimuli ekiwunya akawoowo
Kimuli kya Roza kye ŋamba maama

Oli kimuli ekya Roza
Ekiwunya akawoowo
Mu mpisa, endabika
Gwe obasinga
Laba amaaso maama
Laba entumbwe
Kimuli kya Roza
Roza

Kale yoya ky’oyagala kye ndeeta
Maama saba, ebyange by’ebibyo
Tuula we ntudde tongyabuliranga
Tondeka, oba mu bizibu
Mbeerenga naawe
Sembeza omutwe teeka ku nze
Nze ndi wuwo
W’oyagala w’okwata
Oli kimuli ekiwunya akawoowo
Kimuli kya Roza kye ŋamba maama

Oli kimuli ekya Roza
Ekiwunya akawoowo
Mu mpisa, endabika
Gwe obasinga
Laba amaaso maama
Laba entumbwe
Kimuli kya Roza
Roza x 4

Kimuli kya Roza
Roza x 3

Oli kimuli ekya Roza
Ekiwunya akawoowo
Mu mpisa, endabika
Gwe obasinga
Laba amaaso maama
Laba entumbwe
Kimuli kya Roza
Roza

Submit Corrections