Okuva lwe nabasiibula ndudde nnyo okuwuliza
Ebibafaako nga n’omutima gunnuma
Nagwamu ekimbe ekibadde kintulugunya
Nga n’agadda eno sigalaba
Bwe nkubyekubye ku matu
Kye twaliyise bwe mpembaawemba
Kko nze kampitewo nga nsuna guitar
Atenderezebwe abankuumidde taata
Be naleka oluli okudda nga mukyamoga
Bannaffe bangi lwabaliddemu ebinyeebwa
Ne lubaleka nga bisosonkole
Engeri gye ssiyimba lwa mirimo mindi kumbula
Obugambo bwange bwo buba busomesa
Kiba kibi ku nze ng’eyasalawo mbafumbire
Saagala mwayuuye na mitemampola
Okuggyako Walukagga nga lungolodde mpozzi
Ababadde ku nkoko nga mudda ku ntula
Nsiima nnyo amasanyu ge mundaga kko emizira
Abanja okwebaza awo ne bw’olinnyuka
N’olwaleero nsonze n’akayimba kaakano
Olwaleero nsonze n’akayimba kaakano
Abasekerera abalwadde mwesesa mpewo
Mpaawo yatumya twalabira bulabizi awo
Nga kizze ekimbe kitugoya
Munno omulaba akogga aggwawo ate n’odda mu nseko!
Gundi jjukira ekimansannaku kigimansa mpalo
Nga n’ekirya atabadde n’eyasigadde eka kikutaayiza
Nze ne ku be nziise ntandikira wa afe omugeyengula?
Gundi agenda nti gw’osigala ensi oligikungula?
Mu kifo ky’okusaasira amabujje ge kko omukumaakuma
Ntidde abantubalamu!
Nze emitego gy’okufa ky’ekintu kye manyi nti gyayala
Bwe weepena accident ofa n’essasi
Sso n’ennyanja abagifiiramu kamaala
Nze n’abafa eddogo ndabye njolo
Twesibye ku siriimu gwe tutamanyiiko mayitire
Sso ne sennyiga ng’akisazeewo akuwogola obuba
Newuunya nnyo omuntu bw’oseka mbu
Gundi wuuli aggwawo era kati asuulwa n’empewo
Guarantee ya nabaki ku bulamu bwo gwe gundi
Kulw’okuba nga weeraba oli munene
Ekyo ky’okola nkiraba ng’obukookolo nga bugeyaŋana
Ne gw’olaba asongodde oyo yaliko nga yeebitiggula
Wano olina ebizibu byo byakulemye okubimulungula
Omala obudde kati ogeya abafa
Banno ebibakaabya by’ebikusesa gundi
Baziika gwe otema bulali!
Bw’oba toli musezi wandibeeramu olulyo oluyeekera
Olumwa otya obulwadde n’ojja osinga gwe buluma
Osoberwa abaddugavu ne kye twagala
Gwe n’odigida nga mukwano gwo
Agazibu gamutaddemu oluseke akwata bisubi!
Gwe ogamba wawa ki Omukama oyo gw’oseka kyataamuwa?
Njagala ojjukire ekimansannaku kigimansa mpalo
Kino ekirya atabadde n’eyasigadde eka kimutaayiza
Nze ne ku be nziise ntandikira wa afe omugeyengula?
Luttamaguzi agenda mbu gw’osigala ensi oligikungula?
Mu kifo ky’okusaasira amabujje ge kko omukumaakuma
Y’eyo Uganda mwetuli!
Eby’obusungu n’empalana kye naalisabye banywanyi
Mu kufiirwa n’okulwaza bidde ku bbali
Tufunengawo akadde akeekubagiza mitima
Nti mu kaseera ako tubeera mu kunyolwa
Bwe nkoze research ke nkwasizzaayo kaakano
Ebintu ebyo okusinga biri mu ba mummy
Bo abaami batera ne beeresa obusungu
Besanga beesika ne mu njala
Nze newuunya omukazi bw’ogeya munno mbu Amina
Eyali atiba akenenye akira luwagi
Baabuwe nootamanya nti omusajja wo Siraje
Baapepeyaako ne Amina ebbalibbali
Awo ekirya atabaala w’okiwonera wampa okutankana!
Ekisibye ebinywa bya Amina ky’ekijja okukumaanya omutwe
Tetukuganye kugeya nkenku naye nga n’agago amabidde
Twawuliddeko gakyali gye gawanikwa
Oseka abbidde obwato bw’olimu sso tonnawunguka
Ebyo bye wewaana mbu obeera waka mpaawo kusattira
Okuvaawo ng’ogenda mu mmisa
Balo y’atabadde n’akuleetera okukuwala k’ozike
Olaba lugaaya bu baby obutannaba na kwerigombako!
Bwe biba bijanjaalo twalikomezza okubiriisa empiso
Gwe okunyaaluka kya Amina ky’ekisanyusa omutima ky’olabye?
Ye bwe mba nfa nfe nkuyita ntya ndaba ogira ekitwe
Mbadde ŋenda bwa ppeke ssikuyiseeko kumperekera
Oli wa binnyo tega
Ekimansannaku engeri gye kyaggyamu tetwamanya
Wabula ebintu bino bikwasa n’ensonyi
Lwe kyakuba koodi ffenna twaddamu nti karibu
Obulwa ne gwe weesibako nti yali Kawombe eyatumya
Tebanga nsobi y’abufunye
Mpozzi kiba oba nga accident
Tewali agitumya kujja emugoye
N’eyali yesealinze osisinkana atabadde
Oluvannyuma lw’okumira endeku agenderawo alaali
Mu ngeri y’okunoonya essanyu n’akolerayo nsobi bambi
Yekanga afunye eyalya katunkuma
Eyo body ennene oba yekkinaggusa ndaba ekulimbamu
Weefudde muti gwa ndegeya
Oleekaana ng’aliko Omulangira Segamwenge!
Munno mu kabi nsaba okumekume asooka okwabula
Njawulo nnaku bw’afa olwaleero enkya gwe ogendayo
Ebyo by’ebyange ŋenze Masaka kuyigga birala
Mubeeyo bulungi abampagira
Njagala ojjukire ekimansannaku kigimansa mpalo
Ekirya atabadde n’eyasigadde eka kikutaayiza
Nze ne ku be nziise ntandikira wa afe omugeyengula?
Luttamaguzi aggwawo nti gw’osigala ensi oligikungula?
Mu kifo ky’okusaasira amabujje ge kko omukumaakuma
Gundi jjukira ekimansannaku kigimansa mpalo
Nga n’ekirya atabadde n’eyasigadde eka kikutaayiza
Nze ne ku be nziise ntandikira wa afe omugeyengula?
Gundi agenda nti gw’osigala ensi oligikungula?
Mu kifo ky’okusaasira amabujje ge kko omukumaakuma!
Ntidde abantu balamu!