Hmmm
Oh yeah yi yeah
Ah yiii yeah yi

Bino mbinyumiza ku mikwaano gyange
Abayitako gye mpise bonna
Nti bannange olugendo olwo lunyiga
Ye nga lunyiga!
Otambulira na mu kwegomba
Nga buli akuyitako n’owuwe n’olumwa
Entalamule nga buli wamu zeetala
Naye nga temuli wuwo
Abamu ne bakulimbalimba
Abamanyi okugeya nebageya
Neweegumya neweegumya ogamba kimu
Nti luliba olwo
Naye Mukama kyaterekera
Nali ndy’awo nandeetera
Bannange ekiwamattula enjuki olugendo
Nga yali yakintondera
Kati nsaba kisembayo
Buli amanyi essaala annyambeko
Ono owange gw’ampadde amunkuumire
Ate tube nga balongo, ooh

Nkusaba tubenga bumu
Nga bw’ofuna ekikunyumira nange bwentyo
Kye nnyumirwa
Tussenga kimu
Nga bw’oleeta ekinsesa nange ndeeta
Ekikunyumira
Nkusaba tubenga bumu
Nga bw’ofuna ekikunyumira nange bwentyo
Kye nnyumirwa
Tussenga kimu
Nga bw’oleeta ekinsesa nange ndeeta
Ekikunyumira

Sirimulumya, ekyo nkyeyama
Ne Mukama atutaddeko eriiso
Era nkimanyi na buli kimu
Kye njogera aba akiwulira
Tulimwewa, atukuumire
Mu bugumu nga tukirako olwazi
Nga nebweguba muyaga
Gukunta gutya tegutuyinza
Tukireko bannabansasaana
Ng’omutima gwo gukubira mu nze
Nga n’ogwange gukubira mu ggwe
Era nga wootali tebikola
Ne Mukama tumwesigameko oh oh
Tumusabe atukwatirengako oh oh
Gye tuvudde y’atukutteko oh oh
Okutuuka wano
Amagezi nga gampeddeko oh oh
Omulungi ompabulengako dear
Tulo tulo nkuyimberengako oh oh
Tulo nga tubuze

Nkusaba tubenga bumu
Nga bw’ofuna ekikunyumira nange bwentyo
Kye nnyumirwa
Tussenga kimu
Nga bw’oleeta ekinsesa nange ndeeta
Ekikunyumira
Nkusaba tubenga bumu
Nga bw’ofuna ekikunyumira nange bwentyo
Kye nnyumirwa
Tussenga kimu
Nga bw’oleeta ekinsesa nange ndeeta
Ekikunyumira

Kati tuli kulyengedde
Katwekulise nga tulabye bangi
Nga batandikira mu kyenda
Bawunzika ne bw’amuyita tamuwuuna
Abeeyisanga katubalumye
Nga kati bw’omubuuza munne gyali tamanyi
Nze mazima sibirowoozanganako ng’ebyo
Nakuzibwa na bulungi, siringa abo
Ne Mukama tumwesigameko oh oh
Tumusabe atuyambengako oh oh
Ebizibu nga bituguddeko oh oh, eh yeah
Amagezi nga gampeddeko oh oh
Omulungi ompabulengako dear
Tulo tulo nkuyimbirengako oh oh
Tulo nga tubuze

Nkusaba tubenga bumu
Nga bw’ofuna ekikunyumira nange bwentyo
Kye nnyumirwa
Tussenga kimu
Nga bw’oleeta ekinsesa nange ndeeta
Ekikunyumira

Amagezi nga gampeddeko oh oh
Omulungi ompabulengako dear
Tulo tulo nkuyimbirengako oh oh
Tulo nga tubuze
Kye nnyumirwa
Tulo tulo nkuyimbirengako oh oh
Tulo nga tubuze
Kye nnyumirwa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *