Mujje muwulire ku kijjankunene
Nakiyiiyirizza ate endongo empya
Era kiri ku muziki sansabula
Ne muzeeyi muziki n’ayiiya
Yataddemu solo egenderamu
Era ne rhythm y’eyagipanzeemu
Kabuye n’atereeza ekitawuliro
Ekya bass guitar mu kijjankunene
Ne kifuuka ekijjankunene
Nange eby’okwebaka ne mbiggalawo
Ng’anti buli gye mpita ne bambuuza
Nti ekyokusatu olikiyimba ddi?
Sitera nze na kwanukula nnyo
Mbassa kasiiso abo ne mbaleka
Saagala kujjula bitayidde
Enju eyasigala ekyangaala
Yawaawaaza nnyo abawuliriza
Ne kw’olwo naleka sikugidde
Sikigenderera kunyumya bitawedde
Akadde mbeera na katono nnyo
Mbeera nsiibula lwa buwaze
Kati nno tega okutu nnyanjuluza
Ebiwekera ate olugero luli
Olwasigala nga terukugiddwa
Jjukira eyasooka okwabulira
Yali Kaddulubaale okuva awaka
Naye teyapaala kugenda wala
Yeewogoma awo mu liti lya ffene
Ku lusebenju ewa Diikuula
N’alaaza okumanya ku biddirira
Era obugulumbo obwali eka
Mu nju nga Diiku akomyewo
Ku bwonna, mpaawo kaamuwuba
Era Diikuula okuwalamuka
Yamuyitira ddala ku lusegere
Ng’adduka ekijjankunene
Ne mugole yapaala asaanuuse
Ng’akirako akazigo akookyeko
Mukazi wattu adduka byeneena
Nga ye Kaddulubaale mu liti lya ffene
Abwamye n’ensiri azigobya mumwa
Leero nkugambye yakenga bali
Bombi bwe bamala okwabulira
Ŋamba Diikuula n’omugole
Nga ne Kaddulubaale agugunukayo
Ng’adda kukajjala wa Dikuula
Yasanga omugole ekijjankunene
Yakikasuse na mu mulyango emmanju
Yaba ng’alabye ku ndaba ku ki
Ng’ayoola kintu ng’azzaayo
Ng’akukulira mu bisebbuusi
Ng’olwo atuula kulindirira
Ekiva mu madda ga Diikuula
Wabula era yali ku bwerende
Mu ffe abakozi ba Diikuula
Mwe mwali n’oluwala lu Namusisi
Nga lu house girl lwa mu nju
Lwali lusula ku mizigo emmanju
Wabula nga nalwo Diikuula
Yali yaluganziza mu kimugunyu
Ng’era bw’adda ekiro eyo gy’akolera
Asooka kwekoona wa Namusisi
Nga bwebatyo baagalana mu bubba
Enkeera w’olunaku lwe ndojja
Ne nnyina wa Diikuula n’akyala
Yasangawo ffe na muka nnyinimu
Enkeera w’olunaku lwe ndojja
Ne nnyina wa Diikuula n’akyala
Yasangawo ffe na muka nnyinimu
Nga mukazi mukulu tumwaniriza
Wabula era budde kuwungeera
Nga Diikuula tumukonga lusu!
Obudde buba bugendera ddala
Kaddulubaale olwo n’atandika
Okuyiiya ensula ya nazaala we
Bwatyo n’ayita Namusisi
N’amubuulira entegeka empya
Nti ojja kusula nange engulu mu nju
Mu muzigo gwo nsaba kwaliramu
Omukadde omukulu y’aba asulamu
Eno enju ennene emuzira ye
Ng’omukadde bamulaga muzigo
Ng’era ffenna tweggala kuwujjaala
Anti era obudde bwe bwali bwo
Ziba ziwera nnya ezomukiro
Ne zireeta basajja miwula
Ŋamba Mwami Diikuula
Laba bwe gugenda okugyabagira
Yasooka kukonkona wa munne
House girl Namusisi
Yalinanga engeri gy’ateguliza
Olusumaali olwasibangawo
Yogaayoga ng’ali na munda
Engoye azambudde asudde wali
Ng’omwami yevumba obuliri
Bw’awoza ofuluuta Namusisi?
Ng’atandika kutiga gwe yasangamu
Mwami olwo akkalira mu buliri
Kumbe omwami atiga nnyina, ho!
Omukadde omukazi okuwawamuka
N’ayimuka n’abuuzaamu
Nti gwe ani era wano wazze otya?
Ng’omwami byomera adoodooma
Mbu nze wa bulijjo ayanukula
Oli ssi musajja musege busege
Omukazi n’awammanta akabiriiti
Asaze alabe oyo owa bulijjo
Essajja ne likamunyakulako
Eh, bwe yalaba limwekakabyeko
N’aliyiira amaweke g’enduulu
Ng’ataddeko okuleekaana ennyo
Ne liwamattuka omwo kiwalaazima
Ne ligenda ly’ekola Namusisi
House girl ng’ampemukidde nnyo!
Naffe tugenda okuwawamuka
Tujje tutaase tusanga kiyubwe
Ng’essota ettemu ly’akunse
Mukadde waffe ate bizze bitya?
Amataala tugakoleezezza
Ebigambo abituyitireyitiremu
Omukadde omukazi ayanukula
Nti nsisimuse ndi na muntu mu buliri
Wabula baana bange ntidde nnyo!
Okumanya baana bange ntidde nnyo
Omusajja mmulabye mu kuwalabuka
Ng’alabika ali na bukunya
Awo Kaddulubaale kye yava atulika
N’atema omulanga ogw’omwanguka
Ate fenna ne tukyewuunya nti eh!!
Nga bw’abuuza Namusisi
Nti ate zino engoye wano zazze zitya
Gwe we twayaliddewo wazirabyeko?
Ye omukadde omukazi ng’agamba
Nti ziteekwa kuba za mutemu oli
Nkikakasa abadde ali bukunya
Kumbe Kaddulubaale yazitegedde
Naffe ogenda ozekkaanya ennyo
Nga z’eza Mwami Diikuula!
Obudde ne budda ku bunnaabwo
N’engatto zennyini lyazireka
Kuba lyapaala kiwalaazima
Okwanjuluza mu ngoye okwazaayaza
Nga ku bitambuliiso bya Diikuula
Fenna ensonyi ne zitubuutikira
N’omukadde awo gaamuyungukamu
Okumanya nti omwana gw’azaala
Y’abadde amwesisimpako!
Kaali kadde ka kuwuniikirira
Ne twebuuza nti oba kizze kitya?
Mu kadde ako fenna byatuwuba
Okufaanana naffe ampuliriza
Naawe kino kikuwaawaaza
Nnyinimu okomaga embugo mu kalyambwa!
Nayiiya nnyo awo kye tuba tukolawo
Bwe byansiba enkalu ne mbireka
Ne nnyambuka ku mizigo gye ngumanyi
Ne nkonkona agutunda n’aggulawo
Kko nze fuka mini n’agifuka
Ne ntabaaza ekirawuli ne nderuka
Mba ngumalamu ne ka Namusisi
Kasonze we nali nguguze
Kko nze bagutwongere Namusisi
Nga tekanywa waragi kasimba makuuli
Bwe gwakabaka era ne katandika
Okunzigyirayo ku byama bye kakusise
Mbu alo Pawulo bino bizze bubi
Diikuula okukonkona ku muzigo
Ng’alowooza nti nze nasuzeemu
Naye tontunda nsaba busabi
Kino ninga ng’akubbirako
Obubbizi ekyama obwama
Kko nze vvaawo Namusisi
Mulina engeri gye mutegeeragana
Ne musanyukamu ne Diikuula?
Kanzirangamu kawoomerera
Nga n’endigi ekayiseeyiseemu
Mbu ajjayo oluusi n’andabako
Ne nzikubamu ne zingyakako
Bwe namanya nti Namusisi
Y’atomezza eddebe Diikuula!
Mu mazima ddala Namusisi
Mazima guli omugosolo gw’akawala
Omusajja kaamusikiriza wa oba?
Abasajja naffe twafa mitwe
Nze ne bwemba nze Kafeero
Eri grade ya mulala nnyo
Kko nze kati nno Namusisi
Emirembe w’okola ogikonga lusu
Kati yiiya birala ebinaakujuna
Nange nalaba ewa Diikuula
Tewata kugwagwa byeneena
Enkeera w’olwo ne mmalamu
Gwe ate bino bijjankunene
Bino bya kwesisimpa ku nnyina!
Nga sirina galaba ebyo ne mmalamu
Ebyaddirira awo saabimanya
Wabula jjuuzi mba ndi mu Nyendo
Ne nsisinkana Diikuula
Ng’ettama eryali lyengedde
Ligudde embugubugu lyaggwaako
Nga n’ekibuto kyamuggwaako!
Ng’obuviiri bumwaka busana
N’empale zinywera mu kkundi
Ng’ayiye n’ebintu ku mubiri
Bano beyasombanga ng’azzaako
Mwe mwali eyagaaya molokoni
Eyaliibwa ku kawaali oba?
Kirabika Mwami Diikuula
Yayoola akawuka agenda kufa
Kitalo nnyo twajjirwa olumbulege!
Kibe kya kuyiga eri awuliriza
Mukyawe ekigambo kwendekuzanga
Ensi yadobonkana mbasiibula mwenna