Ekijjankunene Part 2 Lyrics – Paul Kafeero

N’olwaleero nakedde mu kiro
Okuva ewaffe emmanga gye mumanyi
Nga bwe nabalaga nkomyewo
Nkugire bye naleka bitajjudde
Ku kaboozi kaffe ekijjankunene
Ke nasazaamu ng’emmotoka z’ewaffe zindese
Siggya kwebuuza bwe mbitandika
Luli we twakoma nzijukirawo
Bannange ebintu byali wa Diikuula
Teweerabira emboozi n’owubwa
Ekijjankunene kyatayiza bali
Kuluno enju kyaleka kyangaala kambinyumye

Mukyala Diiku bw’amala ogenda
Ekijjankunene gwe kyali kigobye
Kaddulubaale ng’akisumulula
Akaliba k’emmondo ng’akazzaawo
Awo wennyini we yali abiggye
Ku malidaadi ng’abitimbawo
Yadda ku gigye ng’akkwaza waka
Ng’alindirira binaddawo
Naye bambi kya mukisa mubi
Nti ku mulimu Diiku gye yali yalaze
Kw’olwo kyajja ne kimwetaaza okusula
Era bwatyo yadda nkeera
Ng’atwalaganye n’ebitavujjana
Byatagulangako kakyanga babaawo
Kyeyatuukirako ng’ayita mugole
Ajje amutikkule akooye nnyo
Nga ne Kaddulubaale yeetuulako
Nti mugole wo ajje abikuggyeko
Yalaba aluddeyo n’abuuza Kaddu we
Nti munno wo yalaze wa?
Kaddulubaale ng’amwanukula
Naye ng’ettama limuzimbye nnyo
Era n’ekigambo yayogera kimu
Nti mmwe mumanyi gye mwasuze
Gwe gwennyumiza njagala okubemu akafaananyi
Diiku awo atunula atya?
Bambi loodi ono yawaawaala nnyo
Naye omusango n’agwesalira
Yamanya okwava kalunsambulira
Kwekusulayo n’adda nkeera
Kale yagendangayo gye yali amuggye
Amuwooyewooye amukomyewo
Nga naye omuwala olumulengera
Nnyabo nga naye amuweta kikuubo
Tali ku ssajja ssezi lukulwe
Ani gwe lizzaayo okusamba endu
Yalaba litandise kumuliimisa
Nga ne weyali asengukawo

Ebirwawo bw’omanyi bwe byerabirwa
Nga Diiku omukazi amubuukako
N’omwoyo ne gubyesonyiwa
Ye ng’ate kale anaakola ki?
Naye okumanya Diikuula kyali
Waayita myezi ng’apanga mupya
Olwo nno nze gwe yatumangayo
Anti ewuwe gye nalinga mpakasa
Era bwebatyo ne bajja bateesa
Naye bamueleete ajje afumbe

Mpawe lyaga ebbanga eryayitawo
Nga Diiku ategeeza Kaddu we
Nti nnyabo olunaku kati ebula lumu
Nkuleetere omuyambi ku mirimu
Wabula empasa ye nga ya kiggwerawo
Teyaliiko kutegeka kugenda wala
Kuluno ewaka y’eyetegekerawo
Yaleka biteredde nga yeggyawo
Kaddulubaale ne yebuuzaamu
Nti mu maka ga Diikuula mpitibwa ani
Naye teyabirowooza kugenda wala
Nga yeekuba mu nju ng’asiba bibye
Naye ebigere yatambula bimeka?
Ne zimukyusa ne zimukomyawo
Ng’engugu ye agikuba mu nju
Mulowooza awo ki ekyali kiddirira?
Kuddamu kusiba kijjankunene
Mu kunyumya sidda mu bye nanyumya luli
Gwe mpa omukisa nkumalireyo
Sidda mu bye nanyumya luli
Gwe mpa omukisa nkumalireyo
Kuluno mu kusiba ekijjankunene
Yakiwunda bupya yakiwunza bukodyo
Akaliba kaffe okajjukira
Ng’akawanulayo ng’akasibaasiba
Emboobo yaffe ogijjukira
Ng’agiwanulayo ng’agirippako
Ensimbi eŋŋanda obulege buli
Ebyo y’eyamanya gye yali abiggye
Akabugo kaffe akasensuse
Ng’akakukunulayo gye yali akasonsese
Eh eh kuluno kyalabika bupya
Obugyoligyo bwali kuli
Ng’assa mu kibbo ng’akibikkako
Ng’akikusikira ddala wala

Z’olaga omulungi ate zirwa zitya?
Diiku enkeera yadda na kinne
Ng’era alamuza bwe yandikoze
Ne kaddulubaale bwe yafaananako
Wabula omugole ekyamwennyamiza ennyo
Y’enfaanana ya muka Diikuula
Teyakiyamba n’akimubuuza
Nti ono mukozi oba mukyala wo
Omukalukalu obusera bumwokya butya?
Wulira Diikuula ayanukula
Mbu grade ye mu kusaana omulala
Ekyo nange ky’ekikundeesezza

Diikuula ewaka ennaku yamala mbale
Ng’afuba okulaba nti abatabaganya
Mukubaleka ewaka ogenda ku mirimu
Yaleka omukwano gubasaza mu kabu
Era yaleka agambye mugole we
Bye sikulaze onoobibuuza munno
Kaddulubaale ne yebuuzaamu
Nti byonna nze mba mbimulaga?
Nga Diiku yekkiriranya
Kyataamanya nti kali kakodyo
Nga Diiku yekkiriranya
Kyataamanya nti kali kakodyo
Mwami Diikuula nga yeggyawo
Ne banywanyi be ng’abasiibula
Mu kukulembeza obusekoseko
Kaddulubaale ng’ayanja ensonga
Mbu hmmm kyokka mukyala mugole
Bba ffe ono muntu wa mutawaana!
Gaamulemye okulaga emizizo gy’awaka
Ate nze gwe yagiwakatiseeko!
Jangu tugende mbikulage
By’ebinanjaguza ng’akomyewo
Mukyala mugole mu kwanukula ye
Nti by’ebyo bye nawulidde akukomereza?
Ekyo ogenda okimala mu kamwa
Ng’amaaso gatunula mu byeneena
Sembera eno mukyala mugole
Ye Kaddu aggyeyo ekijjankunene
Munnange bino bitalo bya waka
Sibyange bya balo Diikuula
Okufumba muno obilayirira
Kukola byonna kyebinaasaba
Ojja nno kupima lwaggulo ddala
Okitwale mu buliri emitwetwe wo
Ngya na kukuwangirayo akambe
Osale ku nviiri zo katono okisuulemu
Nga ke kabonero akakiraga
Nti tolyawukana na Diikuula
Ngabwekitayinza kusoboka
Nviiri ezo kuddamu kukumera ku mutwe
Ojja kusula nakyo emitwetwe wo
Enkya naakulaga emizizo emirala
Ojja kusula nakyo emitwetwe wo
Enkya naakulaga emizizo emirala
Mu matumbi bw’owulira ekinnyogoga
Teweekanga era kibeera kyo
Oluusi amabeere kigatuulako
Bwe kiba kyagadde ne kiyonkako
Gira kwata nno mukyala mugole
Mugole yaguma n’akimuggyako
Nze oli omukazi mutenda bugumu
Tobindaga ebyo ne ngisulamu

Mu bumalirivu obw’ekitalo ennyo
Mugole emikolo ng’agimaliriza
Era obudde ogendera ddala
Bamaze okulya beevumba buliri
Naye Kaddulubaale yabwebakamu?
Anti omupango gwe gwamusaze
Kuba yalowooza ekinaddawo
Nga Diikuula akomyewo
Ekintu ekyo bw’akisanga mu buliri
Mugole bw’anabyogerayo!
Kaddulubaale n’aba ku bw’ani
Awo enzigi yaziggula kasirise
Ne yeseebulula n’abulizaako
Ebinaddirira binaamusanga ka
Ku lujja lwa nnyina ne kitaawe

Awo era akabanga waayita kaaga
Ne Diikuula ne zimuleeta
Omanyi loodi ono yabanga nkola ye
Ng’oluggi alukonkonya kigere
Kuluno engatto yalusimba emu
Terwali lusibe ng’ali munda mu nju
Loodi yeeyuna ewa mugole
Yasanga ettaala eyakirira
Bw’amala omuzuukusa mu tulo
Ne yekanga ekijjankunene
Yakibikkula n’akyekkaanya nnyo
Ne yeebuuza kino kyazze kitya?
Mugole kyava awunnuuna
Mbu hmmm kyokka mwami Diikuula
Teyayongerako kigambo kirala
Ŋŋamba Mwami Dikuula
Yaggula lw’emmanju ng’anaakomawo
Ne yeesebula n’abulizaako
Lyagendanga lyesansabaga
Nti luno Diiku kakyanga mbawasa
Kino nawasizza kyeneena!
Wooo ne liwoowoola

Mugole y’ali eno alindirira
Bba we afulumye anaakomawo
Bwe waayita akabanga kyava ayimuka
N’afuluma n’ayitaayitako
Yalaba gw’ayita akoneddeyo
Ng’amuvaako ng’ayingira mu nju
Genda mu kisenge kya Kaddulubaale
Amubuulire bbaabwe bw’azze n’addayo
Yasanga kyasamye bufulukwa
Nga ye Kaddulubaale amulabire ki?
Yajjula entiisa mukyala mugole
Okulaba nga mu nju asigadde bw’omu
Bwe yagattako ekijjankunene kiri
N’akakasa nti bano basezi bya ddala
Hmmm bombi kaakati balaze wa?
Era bagenze kutabaaza bitalo
Yabulwa gw’abiyitiramu
Enju yamufuukira ekibira oli
N’ateebereza otakiza enduulu
Yatya ng’ejja kumugasa kitono
Yakaabanga akuŋŋaanya bibye
Ng’era atidde bw’afaananako
Ekiro ekyo kyennyini naye nadduka
Bwebatyo enju baaleka kyangaala

Submit Corrections