Ye ng’obikedde, eby’okunkyawa
Ng’ate nze nkyakwagala
Landiroodi ng’akukooye, akuwa deadline
Oba giyite warning
Mbadde n’omukwano mutono gyoli
Naye gulinnye kuba osoose okunkyawa
Bwe wali ng’onkwana
Ki tewampa expiry date eya laavu yaffe
Omukwano gwe nina gyoli
Okedde ogukubako ekibaati
Olinga bano abakeera okubikuba
Ku ppaaka nga banazisenda
Mbadde mu bokisi nakyala
Nga mmanyi expiry date kufa kwaffe
Yiii!!

Waalibadde ondabula
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
Oba n’ojja n’ekipapula
Nga kuliko expiry date lw’olinkyawa
Oh waalibadde ondabula
N’onteerawo mukwano kalenda
Nti ennaku z’omwezi musanvu
Omwezi ogujja nti lw’ogenda okunkyawa
Oh waalibadde ondabula
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
Oba n’ojja n’ekipapula
Nga kuliko olunaku lw’olinkyawa

DMS Records

Ky’okoze obunene bwakyo
Kyenkana n’omuliro ogwayokya amasiro
Okukyawa kwo kunnumye nnyo
Ye nkufaananye ki?
Ninga gwe baawa obwa minisita
Paalamenti n’engoba
Singa namanya nti eno love ya season
Nandibadde neetegekera ekyeya
Ye ng’obikedde!
Kiki tolinzeeko ne nkuzaalira?
Waalimpadde akaseera
Kino ekizimbe kya love nootakimenya mangu
Nootandeka awo mu bbanga
Ng’omugwira atali na kwabwe
Yiii!!

Waalibadde ondabula
(Oh maama)
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Wandirinze ne nkusooka)
Oba n’ojja n’ekipapula
Nga kuliko expiry date lw’olinkyawa
(Ky’onkoze nga kyokya munnange!)
Oh waalibadde ondabula
(Aya ya ya ya ya)
N’onteerawo mukwano kalenda
(Ky’onkoze kibabula)
Nti ennaku z’omwezi musanvu
Omwezi ogujja nti lw’ogenda okunkyawa
(Onkubyeko ekibaati)
Oh waalibadde ondabula
(Oh ma ma ma ma)
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Ye ng’obikedde!)
Oba n’ojja n’ekipapula
(Oh ma ma ma ma)
Kiriko olunaku lw’olinkyawa
(Ye ng’obikedde yiii!)
Oh ma ma ma ma
Aya ya ya ya ya

David

Onkubyeko ekibaati
Toŋŋanyizza na kufulumya bwange
Ninze bakanyama bamenye, ooh!
Awatali na court order
Ng’ate ba court broker bonna weebali
Okukyawa kwo kwa kibwatukira
Ninga gwe baakuba akateyimbwa ku mutwe
Nkukubira essimu onimba tojja
Ndowooza oli ku lugendo lwa walk to work

Waalibadde ondabula
(Oh maama)
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Wandirinze ne nkusooka)
Oba n’ojja n’ekipapula
Nga kuliko expiry date lw’olinkyawa
(Ky’onkoze nga kyokya munnange!)
Oh waalibadde ondabula
(Aya ya ya ya ya)
N’onteerawo mukwano kalenda
(Ky’onkoze kibabula mukwano)
Nti ennaku z’omwezi musanvu
Omwezi ogujja nti lw’ogenda okunkyawa
(Onkubyeko ekibaati)
Oh waalibadde ondabula
(Oh ma ma ma ma)
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Ye ng’obikedde!)
Oba n’ojja n’ekipapula
(Oh ma ma ma ma)
Kiriko olunaku lw’olinkyawa
(Wandirinze ne nkusooka)

Waalibadde ondabula
(Ayaa)
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Onkubyeko ekibaati)
Oba n’ojja n’ekipapula
(Oh ma ma ma)
Nga kuliko expiry date lw’olinkyawa
(Ky’onkoze nga kyokya munnange!)
Oh waalibadde ondabula
(Oh aya ya ya ya ya)
N’onteerawo mukwano kalenda
(Ye ng’obikedde!)
Nti ennaku z’omwezi musanvu
(Oh ma ma ma)
Omwezi ogujja nti lw’ogenda okunkyawa
(Wandirinze ne nkusooka)

Oh waalibadde ondabula
N’onteerawo kalenda ng’onkwana
(Onkubyeko ekibaati)
Oba n’ojja n’ekipapula
(Aya ya ya ya ya)
Kiriko olunaku lw’olinkyawa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *