Eeeh
Hmmm ah
Obwennyamivu okunneetiba ekiwanga kino
Nzenna nebumbuna buli nsonda
N’eddoboozi lituuse kunva wala
Oh kye lutulanga ky’amaanyi
Natudde nenzija ndowoolereza
Bansanga nkutte ku ttama eka eyo
Obweraliikirivu obuntokoosereza
Endowooza zaatandika n’okunkyuka
Obulumi bwanfudde kyonziira
Ne mu buliri naddukayo nga ntya nayo
Era oluusi ngugumuka nessiraba
Olw’ebirooto ebibunye okwekanga
Lufunvubidde mu ngeri etagendwako
Nze sirabanga ttemu lisusse liti
Lusattiriza mu byeya by’ennaku etakoma
Bannange olumbe lumazeewo bataayi bange
Lulinga olwajja n’ekigendererwa luno lulumya
Nerunsuuza omukwano gw’abanywanyi bange bonna
Baasirika bali ku lukuusi wala etegendwa adda
Abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka omu
Ye kasajja gwe olinda ki gyotaazaalwa?
Katuzuŋŋanirako tekeebaka katala
Kagwagwa gwe oli kasiru totegeera
Komaniina kale nange jangu ondye
Olusajja lwaggunze bataayi bange
Mu kabanga mpawe kaaga kati
Tekaabazitoowereddwa kaabayodde kanywa
Abasajja embaggubaggu bonna lumu
Luno lwampangudde nsigadde kwewunika
Era kati ntunula ng’eyava edda ku nsi kuno
Kunzannyira ku bwongo essuubi odyesa
Nerunzira buteba ku mukwano kutula
Woowe lumanyiira luno
Ooh lujooga luno bwerutyo lulumya
Hmmm
Ndabye ndibaggya wa eyo etegendwa adda?
Gyesiitume mubaka nti owange bandabire
Nfudde nnyabo laba ensi bw’entunuulidde
Bannange bandeseewo zindaze etalabwa
Ebyama byonna byonna entegeka zaffe
Naabikola ntya obw’omu ebingi bityo?
Ankwatirako magamaga siraba
Bindibiridde sibiyinza nzekka
Buvunanyizibwa bubadde bungi nnyo
Obwandekeddwa wansi w’ennaku etalabwa
Okubuusabuusa kwambunye sikyeyinza
Ne bannange twali n’ebigendererwa
Basajja mubabadde bbali ko mmwe era
Nga mukoma ku wuuyo wuuyo y’oyo azze
Naye abasajja babadde basajja nnyo
Nga bonna engeri zaabwe zibunye ebyewunyo
We nasinziira obalumba neebuuze
Neewunya nnyo ekyali kibatankudde!
Kuba nze baali bankozesaako na dda
Kko nze nedda ab’omukwano tweteese
Ng’anti ndaba tufiirwa kya muwendo nnyo
N’ebibadde biva mu kuddiŋŋana mwabiraba
Tuteredde tufuuse baaluganda nate
Banneeganye lumu nnyabo naswalukuse
Nga lulinga olwajja n’ekigendererwa lulumya
Nerunsuuza omukwano gw’abanywanyi bange bonna
Baasirika bali ku lukuusi wala eyo
Baasirika bali ewala etegendwa adda eyo
Abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka nti omu
Nti abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka omu
Luno lulumya
Mukama obulamu bw’ogabira mu kwesiima
Okubutuggyako engeri evulubanye essungu
Ensisi etusukkako ku ba accident
Bannange olwaza ku munno n’oteekwasa
Ndabye ennaku nnyabo sigenda kuzzaawo
Si nzekka ne be kikwatako bonna
Na buli anyumirwa eddoboozi ly’omuyimbi gira
Twekubaagiririze wamu ffenna
Si kya bokka abaatubulako edda luli
Sso si bano abatugenzeeko luno jjo
Era tekiriba nti tukirinze bulinzi
Ku ffe kya vvumira mpaawo atalikyetikka
Sikirabanga y’amala akisiŋŋaana
N’abaliddawo kino balikyewunya
Ayi Omukama bino by’ogeraageranya
Essuubi lyabimmaze mbulwa entegeka
Edduma ly’embaga liweebuula baategeka
Na buli mperekeze ekanulira yettanira
N’omuyite ageegeka yabyesooka
Nange gye mpita bansaasira babimbuuza
Obwamulekwa oba nga kyana ky’esigga
Ye bw’azaala aleke eyo nti weefeeko
Bannange abanzija ewaffe bwe lwatabuka
Lwaggunda ng’olwajja n’ekigendererwa
Nga lulinga olwajja n’ekigendererwa lulumye
Nerunsuuza omukwano gw’abanywanyi bange bonna
Baasirika bali ewala ku lukuusi eyo eyo
Abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka oh oh
Nti abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka omu
Ndi ku dduma embaga ebuze akawuutiriza
Bagenyi bange abaali aba buli kadde
Nzijirwa essuubi eriringa ery’okwewussa
Nti oba bulikya nebakonkona ewange nate
Kano kacwano walumbe ng’otaamuuse!
Ndi ku muggalo gw’abemikwano munsonyiwe
Bannange ki kino ate ekinondoola?
Okukonkomola obwa ppeke ndabye sinoga
Magamaga mu bifo mwebaatuulanga
Mbaaliiridde bwetuseetula olwali
Bwe tusoomooza munaffe nti nywa ku Bell
Ffe twewaamu obulamu bwa kiseera buno
Kumbe bansiibula engeri gye saakenga bonna
Twateesanga lulumika nju yange oh oh
Kumbe bansiibula engeri gye saakenga bonna
Twateesanga lulumika nju yange oh oh
Musango muloope abaana be twazaala
Aba bano bakwasa n’ensonyi obalaga
Ensi gy’ebutandikiddeko bu bambi wala
Walumbe ky’atulanga ky’amaanyi
N’abaali bayimba kuzaala baazikira
Okujaagaana nti bw’okuza ojaganya
Basigadde kuyimbanga gaasaaka
Ge gattula anti kati be boola obwaffe
Mpaawo kya kola Mukama twakkiriza
Teri awakanya taata ky’ogerageranya
Kuba obuyinza n’ekitiibwa byonna bibyo
Emirembe bwe gyali egiriwo n’egiriba
Mundoosanga bataayi nemmanya ekijula
Ab’emikago nesitankana nnyo ate
Mu ngeri enteefu mbaaniriza tweteese
Ŋŋonjoole kuba bannange mwasirika
Muwummule mirembe mu kitangaala
Tulisisinkana Mukama bw’aligera
Mu nnaku ey’ekitalo mwemwandeka kaŋŋume
N’amaziga tegazza baagenda
Gwe omuwala Nagawa mpeereza yanguwako
Mpa eddeku lyange liri awo mu nsonda
Ŋŋenda gyebagwesiwa ne nnyammwe bw’akomawo
Ndi wa Black Lunkuse bw’abeera annoonya
Aaah ŋŋenze
Luno lulinga olwajja n’ekigendererwa lulumye
Nerunsuuza omukwano gw’abanywanyi bange bonna
Baabulira ewala etegendwa adda eyo
Baasirika bali ku lukuusi eyo bonna
Abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka nti omu
Abaali bwetutyo nsigaddewo nzekka omu
Nga lulinga olwajja n’ekigendererwa lulumye
Nerunsuuza omukwano gw’abanywanyi bange bonna