Ebitubaako, birumya emmeeme
Binyiga, ojula kwetuga (eeh)
Ensi n’efunda, bwetyo n’ekaluba
Newetamwa, newebuuza walya ki? (ooh)
Ng’oli wekka, bw’omu bwoti
Wegomba, ofuneyo akufaako
Naye ekibi, bano bantu bannafffe
Bw’alaba nga waggwamu, ng’akwewala (eeh)
Ssuubi lyange nditadde mw’oyo
Katonda wange atandekerera
Entalo zange zonna mwendi
Katonda wange y’anazinnwanira (ooh)
Oyo y’antegeera ebyange gwe mbikwasa
Nawummula, ebya stress nembita
Oyo gwe mbikwasa kubanga y’antegeera
Nawummula, eby’okusinda nembita
Oluusi wewaayo, okusanyusa abalala
Neweerumya, olw’okuba omwagala (ooh)
Bw’otyo n’ositula emigugu gyebandyetisse
Baabuwe, olw’omutima omwagazi
Mu mutima munda n’olowooza
Nti okoze ekitundu kyo kyebalijjukira
Okwandibadde, ng’okusiima
Bazza bukyayi newenyiwa kale
Tofa na bantu tunuulira oyo
By’okola abisiima olifunamu empeera
Tokoowakoowa okukola obulungi
Katonda wo ye ebyo by’okoze abisasula (ooh)
Oyo y’antegeera ebyange gwe mbikwasa
Nawummula, ebya stress nembita
Oyo gwe mbikwasa kubanga y’antegeera
Nawummula, eby’okusinda nembita
Kisaana nnyo okuba omwetowaze
Mu by’okola, kwossa n’obwesigwa
Osonyiwanga nnyo eri abo abakunyiiza
Basembeze, togeza kubeewala
Tomanyi na bya nkya bwe biriba ebyo
Olwaleero akujeeza enkya oliba mukama we
Towooleranga ne bwaba bingi by’akkoze
Mukwase Katonda y’anaamuwangula
Mutima gwange tegeera ekyo
Kuuma ekitiibwa kyo olifunamu obuwanguzi
Kakkana mu nsi gulumiza oyo
Katonda yekka y’anaakuyimusa (ooh)
Oyo y’antegeera ebyange gwe mbikwasa
Nawummula, ebya stress nembita (aah)
Oyo gwe mbikwasa kubanga y’antegeera
Nawummula, eby’okusinda nembita
Oyo y’antegeera ebyange gwe mbikwasa
Nawummula, ebya stress nembita
Oyo gwe mbikwasa kubanga y’antegeera
Nawummula, eby’okusinda nembita
Oyo y’antegeera ebyange gwe mbikwasa
Nawummula, ebya stress nembita