Ebirowoozo Byantereerako Lyrics – Paul Kafeero

Ebirowoozo byantereerako nawummulamu
Kwekundabako nga nange nsaka ku kanyama
Ko n’obunkenke kwe baali banteeka
Nayambiddwa byonna maama byampuguse
Nga bw’omanyi ensi bw’esula etukunguzza
Ng’egattika alaba era n’agawumbidde
Kw’avubuse yonna ne ku bakadde ennyo
Ko n’obuto enyogootola etugasse wamu
Naawe bw’otyo bw’osula okupaakupanya
Nga gy’obiva ne gy’obiraza waakulemye
Bwekutyo no kw’alinawo n’atalina
Ensi bw’efuukuuka tewali agyewogoma
Kale no tewali wali mirembe misa
Bwe tutyo tutambula tulembereza
Aw’okufunira obufunyi obwogerero
Mu buli ekijja n’ofuba ogumiikiriza
Kisinziira ne mu ngeri gye bitweyoleka
Nkumu ebijja nga bigyonyesa obulamu
N’owatanya nga mpaawo akwatirako
N’anti be weekubako buli omu alowooza bibye
Nafunye obuvumu mu ngeri esesa alabako
Bye njagala ennyo ebimu nabyesonyiye
Kazibe nsimbi nga zinansombera agazibu
Mbeera omwavu nga neebaka ku tulo

Nze eby’obugagga bye nina ngeraageranya
Ddoboozi lyange mpozzi n’ogumiikiriza
Ko n’okumatiranga mw’ekyo kye ninawo
Zino mbuto byoto asaggirirra y’eyecca
Tutuuyana wano n’agazibu mu byo ku nsi
Omunafu alowooza kufa ye ajje ayoole
Kye nva neesonyiwa ennyo mw’ebyo bye sirina
Ne ku bye ninawo nze osanga ndowooza kimu
Osanga n’abakyala n’ajja yemalamu
Olwa siringi n’amalirira yeweeyo
Kw’eno ensi gy’olaba eyacankalanye
Awome ekiwanga munda w’engabo ezaaya
Ddala Namatovu obeera onoonya ki?
Okuva ku Paul akufissiriza koonoolya?
Nga lw’afunye ne lwatafunye mussa kimu
Obugagga buli luddawa obulibeererera?
Mulimu naawe ky’olaba ekisingirira
Naye weekulidde ensi ki ky’oginoonyamu?
N’eri eyamatira ko n’akupakupanya
Bannange eby’okugwirana bisaana bato

Waliwo Mukama ebintu by’atutuusiriza
Nga bikontana n’embeera zaffe ez’obulamu
Abawewufu b’endowooza bafumba obubugo
Ne beeyuna mu nsonda z’endege enyeenya
Waliwo agazibu ogujja n’obuzaabuzibwa
Ng’anti gasusse ku maanyi ag’obulamu
Mu ng’ebirwadde ebijja mu ngeri etiisa
Mulimu ebirabwa nga bigwana ku nkanamu
Naye bannange ensonda z’endege enyeenya
Ngyekubittika ntya mbu nsaba emikisa!
Ate nzirire eby’okola ezitandikisa?
Nvujje eri ab’amatama ago agengedde
Mukisa nabaki ogwo oguyengerwa eddagala?
Ddala omuganga gw’atabula mu nkanamu?
Teguriiyo na yadde ogugulwa lupiiya
So teri aliyinza kukotoggera gwa munne
Nze okufuuka mu colour mbu gundi yansinze
Gwe gwaki ogumpika okuzijjagala
Kwe kumala ebiseera ebyo okwo kw’owulira
Nga bano abasokoolera zi maguja obusomyo

Tuva mu buto nga tuwoomerwa ebyendya
Engeri ez’enjawulo abateefu n’abaluvu
Nze nabikkuta nkyali na mu ssomero
Kye nva nsaasira akaddiye n’omululu
Mwe muli n’abeeyisa nnyabo engeri etanyuma
Ng’obulyazaamanya ye kkubo lya nfuna ye
Yakifuula na kitongole agaba emigabo
N’agyonyesa abamukira ne basinga
Sso bw’omubuuza bye baamutuma ku byokunsi
Mwawukana ayanjala engalo obugalo
Beebo b’osanga no ku ndiri e Mulago
Nga bamubanja eziriko endagaano empya
Mukama akummanga ebintu ebirala
N’akufissiriza kintu mmizi mu mwoyo
N’omanya ne w’okoma ku by’olabako
Bye weekoledde ne bye wekangira w’otudde
Ate era mwewale nnyo n’emimwa emyangu
Egyanguyirwa ekyalabiddwa n’ekitali
Naddala bu lugoogyamye bu nyanjala eyidde
Ntemera ku lwa jjo obwalemwa edda n’ebyensi
Bannange eby’okugwirana bisaana bato
Naye kinvinvi ate okufunguko obubugo
Olw’obuntuntu ng’obusente n’ebyendya
Mungu nnyima ebirala onfissize emmizi mu mwoyo

Jjukira nakugambye ensi y’etukunguzza
Ng’egattika alaba era n’agawumbidde
Kw’avubuse yonna ne ku bakadde ennyo
Ko n’obuto enyogootola etugasse wamu
Naawe bw’otyo bw’osula okupaakupanya
Nga gy’obiva ne gy’obiraza waakulemye
Bwekutyo no kw’alinawo n’atalina
Ensi bw’ecakankuka tewali agyewogoma
Kale weekubirizanga nnyo mu kujjukira
Mu kadde akazibu ani yakukwatirako?
K’abe mukazi nga yasse okuguma mu bizibu
Tasaana kwerabirwa ensi esekera ayengezza
Omwo mwe muli n’empisa zi mafunyo
Oli n’ayatula nga ye bw’atatya swala!
Be bagwa n’eddalu eyo ku mikolo olw’ebyendya
Ng’avudde ku kulya nga ye tatya awemula
Ku nsonga eyo we wava akazaalabulwa
Bulwa busobozi bwa kubyetuusaako
Nziriŋŋana abaliimisa ebituusiddwa
Engeri ey’eggunju nga ye yeezira ekisibo
Nga gwe ddala wava ku by’okuswalukuka
By’ebimpemempeme ebyo naawe by’owulira
Ebiwema paka ne nsiko gye kyandisize
Kwe kwefuumuula okwo ng’essolo eggumba
Ebintu bibuza engerageranya
Era okusinga byagala kwekeneenya
Emize egisinga tegifaanana ba nnyini gyo
Mwegendereze nnyo amaliba ebiriga emisege
Mwesonyiwenga ennyombo nga mukyali e buziba
Enziza y’emisango ekyukanyisa ennamula
Kuba ssi misango gy’egitwejeerezesa
Wano musazi gwe tutenda obukambwe ennyo
Ky’ekyo ekiiso kya mbuzi kirekerera eyasse
Ne kikanirira obukodyo bw’abaaga
Bwetyo n’enkejje ey’omutemu etenda luti
Nga n’emmese ku kamasu sso ssi oyo eyateze
Nze Kafeero Paul abaagaliza eddembe
Eri Lugaba nnyini byonna atakuumira mpeera
Atayiza eneema ne bakodo agemula
Eh, ŋŋenda naye mmala kwewawaamu
Anaagiramu ntudde wano wammanju
Tweweemu bino bya nsi bya kuleka
Kale tofaayo sembera totya ngugula
Mbalinzeeyo ab’ekika mirembe mube
Anaagiramu ntudde wano wammanju
Tweweemu bino bya nsi bya kuleka
Kale tofaayo sembera totya ngugula
Mbalinzeeyo ab’ekika mirembe mube

Submit Corrections