Dunia Weeraba Lyrics – Livingstone Kasozi

Mukama Katonda eyasuubiza ensi y’aboonoonyi
Okugizikiriza nga bwe yazikiriza Sodom ne Gomorrah
Wuuno agenda okuzikiriza ensi ye omulundi ogwokubiri
Olw’ebikolwa by’obwenzi n’obutemu ebisukkiridde
Kye nva nsiibula ensi eno
Nga neegayirira Mukama Katonda wange
Asaasire abagisigaddemu

Mbadde mpitaayita emmanga eyo
Ne nfuna ekikangabwa awo ku makya ennyo
Katono mpitireyo bannange!
Mwanditegedde nga nze nzaaye
Nzigyiddwa endowooza enkyamu
Nti Katonda naalagira kw’eno essaawa
Ntino Livingstone
Ssibako ebibyo kati nkutwala
Mpulidde ekizibu mu mutwe muno
Okumala gatwalwa ttaaya ntyo
Nga sifunyeewo wadde akadde
Nzije mbawenyeeko mmwe ab’emikwano
N’okusiibula ku nsi eno
Gye mpitiddemu ennyo mu kudaaga
Nga noonya siringisi bannange
Naye ne nvaayo eyo ddala buggo
Okutandika obwenzi buno
Omuvudde buno obulwadde obumpanise
Gonna masanyu ga mu nsi muno
Naye tugalekawo ffe ne tugenda
Nazze kusiibula ku nsi eno
Gye ggambye mwe mpitidde mu kudaaga
N’okusiibula bannange
Mwenna abannyambyeko mu bulwadde

Wowowowo woowe
Bannange mweraba nze ŋŋenze
Yayayaya yaaye
Dunia weeraba nze nkooye
Kankulekere bannange
Naye bannange bayise bulungi
Baleme kubeera nga nze
Gw’osanyusirizza ku lukuusi
Obaweereze n’emmaali
Nga bakyaliko kko ku magumba
Baleme kubeera nga nze
Gw’ogaggawalizza mu bulwadde

Okujjirwa endowooza enkyamu
Nvuddeyo ntegedde mutima
Nti okufa kwo kwa bwereere
Era tekugulwa kwo na nsimbi
Ate kwatukisa n’essaawa
Ssinga tunaabako oba ng’etuuse
Nootawunyirira banno otyo
Abakkungubagira mu maka go
Gwe bw’oba weeyita mulamu nnyo
Walumbe akuseka nga bw’akuŋŋoola
Kuba nga yayagadde tosibaamu
Oleka n’omuyi awo ku kitanda!
Mu linnya lya Katonda kitaffe
Mukama ky’ompadde kino kikuuno
Okumpaawo ddala akaseera
Ne mbunya enjiri yange ey’obulwadde
Okwo kwe nteeka bannange
Mwenna abannyambyeko ekizibu ekyo
Ne musondawo ne ssente
N’aganaafa mukoze nnyo baana battu
Wadde mukoze kya maanyi
Naye munda muli mpulira ŋŋonze
Lwotolaba obunyirivu bwa feesi
N’olowooza nti oba Kasozi akyali
Nazze kusiibula ku nsi eno
Gye ggambye mwe mpitidde mu kudaaga
N’okusiibula bannange
Mwenna abannyambyeko mu bulwadde

Okunyiikiranga okkazana
Ofune ky’onoolya ddala kirungi
Mpozzi n’okunoonya ssente
Obalirweko mu bagagga ba binojjo
Naye Katonda kyatakwase
Oyinza okukolera emyaka emingi
Ng’obulwayo myezi bakuziike
N’agaggawaza gwe n’ovunda
Obeera waakatandika ku life
Walumbe atalaga n’ajja akuzinda
Banno obaleka mu mboozi
Nti abadde yaakafuna ate ku nsimbi
Nze mbalibwa mu bagagga
Bannange ssitoma nfunye siringi
Naye zingasizza ki ennyo?
Zino ze nfunidde mu bulwadde
Nze atakyawenya bi Mega
Siringi enyumira nnyo ku bakyaala
Anti oboggola n’amaanyi
Nga munno ky’akusabye gwe ky’omukwanga
Olaba n’ekyali kinange!
Ki Nalweyiso kyazireka nga teziwooma
Bannange wenfunidde ssente
Ng’obulwadde bunzigyeko ku luwombo

Kati nze ntunula ku mamotoka
Gye njagala gye nkwata nti ne nyoola
Ye singa mbaddemu n’amaanyi
Ku luno mwanditegesezza ku bitimba
Wakiri nandiguze n’emmeeri
Yonna ne mbalumbayo ne ku bizinga
Nga nanyumirwanga bakyaala
Amagoba ge nfunyeemu bwe bulwadde
Olaba nalemebwa n’ezadde!
Ku nyenda gye nayenda kya buswazi
Ng’ate ssikyalina na ssuubi
Mbeera nzaalira ki be naaziika?
Siriimu muzibu bannange
Olaba atulesaayo ffe n’okuzaala
Baki abaliddawo nga tufudde?
Ensi yandiggwaawo osanga oba?
Ebintu wandiwadde mukyaala
N’abaana baazadde ne bibayamba
Naye mukenenya bannange
Abeera atwaliramu ate n’omukyaala!

Kaakati nsaba munsonyiwe
Neme bamalira nnyo na biseera
Mukkirize okusiima kwange mu bufunze
Mwenna abannyambyeko mu bulwadde
Neebaza Kafeero Paul
Ne Basudde Herman mu kiti ekyo
Ani yali amanyi bannange?
Basudde nkwebazizza ne nkatagga
Kino mukitwale n’ewammwe
Nti empalana n’obusungu tebiyamba
Okujjako okuyamba bannaffe
Ababeera batuuseeko ekizibu ekyo
Ba Luzira Research Station
Mumpadde eddagala erya buli kadde
Mukyaala Namuleme munnange
Naawe nkwebazizza mu ngeri eyo
Kasule nkulaamira ssanduuko
Njagala ogule nga ya kitiibwa
Nange nziikibwe nga Kerode
Wadde gye tugenda tebeera kudda
Nazze kusiibula ku nsi eno
Gye ggambye mwe mpitidde mu kudaaga
N’okusiibula bannange
Mwenna abannyambyeko mu bulwadde

Wowowowo woowe
Bannange mweraba nze ŋŋenze
Yeyeyeye yaaye
Dunia weeraba nze nkooye
Wowowowo woowe
Kasule weeraba nze ŋŋenze
Yayayaya yaaye
H.K weeraba nze ŋŋenze
Kankulekere bannange
Naye bannange bayise bulungi
Obafaananye ng’era nze
Gw’omaliddeko buli kalungi
Obawenga ne ku ssente
Bwe bayiiya ennyimba fuba ozitunde
Obafaananye ng’era nze
Gw’okoleddeko buli plan

Woowe
Yaaye

Submit Corrections