Tugitandika na kukaaba nga batuzadde
Mu bulumi obw’ekitalo obuyitiridde
Tufundikira tetugiriimu nga tufudde
Ensi
Omuzira Genius

Eyo Scoffi

Dunia lugendo luwanvu naye teruwoneka
Lusingamu hard times zokka
Emmotoka gw’eva mikono y’atawanika
Ensonga ziizino, lwaki bagidduka
Ebirime tebikyadda ettaka lyafuluka
Akuwola ettaano ayagala omusingire maka
Amasomero ogamba ge gaafuuka bbanka!
Anti kati ssente zonna gye ziggwera
Ze basaba zokka okwewandiisa edda zaali ziweerera
Okufuna omulimu omala kuwaayo misale
N’agukufunidde nga akucharginga ku salary
Aw’okuzimba kati ofuna fuuti bbiri
Kyokka ng’abaana olina lukunkumuli
Okutunda omusaayi bizineesi ekutte akati
Basaze bantu ne bakuba n’obulatti
Tunadda wa mu Dunia ekalubye bweti?

Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki bye ngikolamu ebyange?
Ndi ku lugendo aaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

Ndiba na kaki mu Dunia nze omuwejjere?
Nga buli kigirimu kyafuuka kya buseere!
Obubbi mu yo sirina na bwe nkinnyonnyola
N’omufu ali e magombe bamuziikula
Ne bamujjamu sanduuke mwali ne bagitwala
Okubuulira omusawo ekikuluma omala kusasula
Kyokka nga ne treatment takuwadde
Ku masomero n’atali mulekwa abika abazadde (baafa)
N’alayira nga bwe baafa afune sponsor
Ne gw’osobezza akatini akazimbulukusa
N’agenda akuloopa mu mbuga afune z’akujjamu
Gw’osaba akuwole lupiiya asooka zisuza ku biggya
Bank property for sale ogamba motto ya ggwanga
Toyisa nnyumba bbiri nga tonnakisanga
Ebizimbe bye twegomba wansi bitudde ku buwanga
Genius Omuzira

Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki bye ngikolamu ebyange?
Ndi ku lugendo aaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki bye ngikolamu ebyange?
Ndi ku lugendo aaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

Tutuuse okwerya entama okusinziira bwe ndaba
Buli kimu kya kaweereege okukifuna kutoba
Gw’osaba akusalireko ng’ogula abula na kukuba
Abali ku myalo n’amaggi babula kugavuba
Akuyingiza ekkomera aba ayagala ovundireyo
Emirimu gye balanga gyonna gya ntuuyo
Kyokka nga okola 24/7
Okufuna ogutamenya bya mwana w’ani?
Olowooza okwetandika naye nebiwakana
Capital nga weetaagira ddala buwanana
Rent gw’osasula ng’amagoba tomufuna
Saako competition ereeta ne fitina
Amasanyu g’ensi nago gasikaasikanya
Z’obalira ekirala weesanga ozikyakadde
Tunaddawa mu Dunia ekambuwadde?
Nga n’atayina kiwandiiko ajja n’akufuumuula ku ttaka
Kw’owangalidde ye asimbe kalittunsi!

Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki bye ngikolamu ebyange?
Ndi ku lugendo aaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?
Ndi ku lugendo neenonya ngeri gyenfighter mu Dunia
Ndi ku lugendo neebuuza biki bye ngikolamu ebyange?
Ndi ku lugendo aaahhh nwana kulaba nga nfunamu akalembereza
Neebuuza muno mu Dunia ddala mpiseemu ntya?

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *