Dunamiisi Lyrics – Joseph Segawa

Tadooba yabanga ttaala
Ettaala, ewaffe e Muduma
Ffe Umeme tetwamulina
Twakulira ku ttabaaza ya jajja omunaku tadooba
Tadooba ne bw’ogitereka
Ng’amafuta mwegali era tetalagga
Ffe twakikolako ettabaaza ya jajja munaku tadooba
Ekyama ky’ettabaaza ya jajjange eyo
Nazuula ng’amafuta gabaamu
Era yatutumanga e Muduuma
Ewa Sekidde okugagulanga
Nga lwe bakutumye olina okukakasa
Ng’amafuta gatuuka eka
Nga lwe bakutumye olina okukakasa
Ng’amafuta tegayiika
Eno mu bagenyi jajja be yakyaza
Ajja n’otufuta abeera wa nkizo
Mu bagenyi be twafuna e Muduuma
Alina amafuta abeera wa nkizo

Dunamiisi
Nzijuza amafuta nneme okukala
Dunamiisi
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Dunamiisi
Nzikiza amafuta nneme okukala
Ayi kitange (kitange)
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo

Kiruma ng’agago gakalidde
Ng’ettabaaza yo ekalidde
Akaliro waliwo katono nnyo
N’olutambi lusiriira
Abawala bali embeerera abataano
Kino bakimanyi nnyo
Kiruma, omulinde okusanga
Ng’ettabaaza ezikidde
Obuntu nze bwe mpita ebintu
Amafuta ne gagenda
Amerika, Bulaaya amayumba ag’amategula
Emmotoka ezimyansa
Abakyala, abakyala abamyansa
Ndokola, ayi omwoyo
Ye nze nkole ntya?

Dunamiisi
Nzijuza amafuta nneme okukala
Dunamiisi
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Dunamiisi oh
Nzikiza amafuta nneme okukala
Dunamiisi (dunamiisi)
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo

Nkusobya oluusi mu kuyomba
Ng’ate obusungu amafuta bugatwala
Obukugu mbukooye
Nzijuza amafuta nneme okukala
Ayi Omwoyo, dunamiisi
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Nkusaba dunamiisi
Nzikiza amafuta nneme okukala
Ayi kitange, kitange
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Sikyasaba nnyo
Kati ssikyasaba nnyo
Tekola essimu gye wampa
Nzijuza amafuta nneme okukala
Oluusi ngayaala amafuta g’ompa ate ne gayiika
Ayi omwoyo, omwoyo
Nzikiza amafuta nneme okukala
Ssebo kitange
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Ndokola, WhatsApp entwala
Nzikiza amafuta nneme okukala
Entwala, WhatsApp entwala
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Nkusaba, dunamiisi
Nzikiza amafuta nneme okukala
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo
Ayi omwoyo, ayi omwoyo fuga
Nzikiza amafuta nneme okukala
Ssebo omwoyo fuga
Ettabaaza yange eyakenga bulijjo

Submit Corrections