Dole W’omwana Lyrics – Fred Ssebatta

Ooouh, aargh
Essaawa ya kola
Ebisumuluzo by’emmotoka oba biriwa?
Otyo biibino

Ooh asimbudde atya mmotoka?
Nga siraba anti n’omwana ansumbuwa
Ye ate agudde atya garage!
Nze samanya okubeera n’abakozi abeebafu
Kubanga yandibadde andabula
Nti jangu ko eno ne ndaba mmotoka esimbula
Ki dole akirinyisizza mmotoka
Kati baby wange ajja siiba maziga ankaabire
Stella ayagala nnyo abaana
Ne bw’aba akaaba olumuwa dole nga yeebaka
Olaba ne bwe bubeera ettumbi eyo!
Bwe mba n’ebintawaanya ky’azannyisa
Ye abadde yeeyuna ani okeera?
Nze ajja kigula ekintu ky’omwana nkyeyagalira
Kyemanyi akirinnyisizza ffujjo
Kale oba ssi ekyo ng’alina ky’ayagala okwepena
Dole w’omwana wange maama nfudde!
Ani anannyamba omunkanikira?
Ne bw’onodduka Stella anyiize
Olaba n’ebbeere alinziririra!
Naamukola ntya omwana?
Ndabye nze

Omumbejja ng’onyiize?
Olwo bw’obeera ggwe
Nga nze nkukola ebivve by’onkoze?
Omwana mu nju akaaba
Nvaako nze mbadde tonjagala kwata mwana wo
Ebyo munnange bye nkugamba okwewalanga
Nti abantu ba kuno baveeko obbalaga enseko
Kati bye bakugamba bingi okubuzaabuza
Ne gwe siwuunanga era antenda bwenzi
Ye ani akedde ku makya ennyo okutabangula?
Bambi mwatule manye lwaki anfuŋŋana
Bw’anannema okkuba ebikonde naamugwira
Ne mmuluma amatu nga ssaabalwanyi
Ye nga tonnyega nziraamu mukwano mmanye
Gwe saavumye kiki ennyo otuuka ewala?
Neerabidde nnyo ssente ezikola awaka
Bambi mw’ekyo nsonyiwaamu kuba ndi muntu
Nzijuukiridde eri kumpi ng’e Bugonzi
Kko nze owange kanzire eka naabasanga
Oba ky’ekikwennyamiza yonsa omwana nzize
Ssente ziizo leka naawe kaaba
Genda oyonse omwana
Leka kaaba otyo lwaki munnange weekubagiza?
Nze nvaako
Omwana bw’akaaba atyo
Ekyo ssi kituufu ekivaamu n’oluusi alwalira ddala
Ng’alwala
Nkukoze ki?

Wulira ate bw’antegeeza omwana!
Olwo bw’obeera ggwe
N’oba ne munno wo gwe weesiga
N’ajja alyazaamaanya ebbanja
Ate naateekanga ekintu ky’obulabe bwekityo
Wano n’akkubira jjo baayi
Mazima tewannyega wasimbula mmotoka ng’odduka
Buli lw’odda n’owoza enkya onkeeza, hmmm!
Ndowooza n’amaduuka ggwe ogaggula
Olw’okuba awaka oleseewo ssente
Olowooza sijula naye osaanye onsaasire
Ate onegombesezza atakola
Ng’atuula awo buli lwe mmulaba mba ŋŋuma
Ye ate on’ogenda otya mbuuza?
Nga Stella akaaba walinnye ki dole kye bambi
Tuyingire otunonyezeeko omwana
N’okuyonka agaanye naye ki ennyo ondaaganya?
Taata w’abaana yamba omwana
Asangule amaziga yeebake
Ki dole ky’omwana oba gwe ogaanye
Nfunira annyamba okinkanikira
Wandikyuse n’odda awaka
Stella n’omuwonya essungu ly’alina
Nze webituuse omwana annemye
Ggwe jangu omulabe ennaku gy’alimu

Omuntu ow’ekitiibwa bwenti naawe mpima
Nzira ntya ku dole okwemonkoola?
Ku ssente zendese kiki ye tofuna ekipya?
By’okaaba bya kito vvaawo olimba
Ebya Stella wo biveeko talya ku dole
Tulina kola maka okufuna emirembe
Ye kikuyamba ki okubaawo omwana aseke?
Nga ffe baalaga ebibungu tusula njala
Bameka abalina abasajja abasula awaka?
Nga g’akaaba g’amira ogiyita emirembe
Abeekomerera ebichai okufuna otulo
Nga ne waasula wabi nnyo wakuba ensisi
Nze ky’ekimbunya amawanga seetuulako
Ne noonya ku busente obw’ogula enva
Ate ssinaba ggwe linda ku luno nzire
Bambi ŋŋenze nsabira nnyo baayi
Genda oyonse omwana
Leka kaaba otyo ngya no munnange kusunaasuna
Ng’akaaba
Omwana bw’akaaba atyo
Ekyo ssi kituufu ekivaamu n’oluusi alwalira ddala
Ng’alwala
Katunoonye ensimbi
Tofaayo mukwano byonna by’oyagala bijja kujja
Nze nedda ssi ebyo
Kiki nkugambye nti ŋŋenda kkola
Aah!!!

Kale nga bw’onkaluubirizza baayi
Mugende mu byammwe ennaku y’ekikazi bwetyo
Leka nkulinde lw’olinoonya embazzi
Nga nange nsirika olyoke omanye nti kiruma
Mu butuufu wandibadde oyiiya
Nga nange nnoonya okumanya Stella bw’asula
Leero newankubadde ssente
Fissaawo akadde olemenga kunnumya otyo
Mmwe mukubisa n’empi abaana
Lwa mbeera ezo okulemwa okuyiga omuntu wo
Buli musajja yandibadde alabuka
Bwe wabaawo change
Nga naawe munnange ochangisa
Okuyomba ne mukeesa obudde
Eyo ssi mmindi amaka gabulamu omukwano
Oba emmere agifumba akaaba manya
Nti dole w’omwana abanjibwa
Nsaba omufissizeewo akadde olabe
Abadde ayomba an’aseka
Gwe lw’osuze olaba otya endigida awaka?
Bambi gendera awo
Oba emmere agifumba akaaba
Akaaba lwa dole we bambi
Nsaba omufissizeewo akadde
Abadde ayomba an’aseka
Gwe lw’osuze olaba otya endigida?
Bambi bongera eyo

Nze kandeke nga nkaaba
Agende
Kati akifudde ekyejo
Nze kammuleke
Ndeka mpakase
Nfissizaawo akadde
Ndeka ŋŋende
Nange nsanyuke
Obwavu buno
Laba omukwano ng’ogwo
Bambi tofaayo
K’ogusubwe
Ngya kudda enkya
Nze k’ondeke nga nkaaba
Tofaayo
Gwe ogende
Ba mugumu
Kati okifudde ekyejo
Obwavu buno
Nze kankuleke
Ndabye nze
Nfissizaawo akadde
Nange nsanyuke
Obwavu buno
Laba omukwano ng’ogwo
Ndeka mpakase
K’ogusubwe
Nze k’ondeke nga nkaaba
Ogende Kati okifudde ekyejo
Nze kankuleke
Nfissizaawo akadde
Nange nsanyuke
Laba omukwano ng’ogwo
K’ogusubwe
Nze k’ondeke nga nkaaba
Ogende
Kati okifudde ekyejo

Submit Corrections