Ddembe Lyrics – Bobi Wine

We no promote no violence
We condemn the violence
Rasta no promote no violence
Hear me out!

Mbalaba bakubaŋŋana, balumaŋŋana, batemaŋŋana
Mbalaba bavumaŋŋana mu kifo Ky’okuluŋŋamya
Omuntu eyandibaddewo okuluŋŋamya abavubuka
Kati ate y’abakulembera mu kukola obutabanguko
Eh bino bwe nabirabye natidde nnyo
Okulwana mu bavubuka kususse nnyo
Ng’ate abakulembeze kibaswaza nnyo
Wamma abavubuka nze nsaba tukole bwetuti

Nsaba okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda mulonde mu ddembe
Awo obulamu butunyumire, nsabye
Okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda tubeere ba ddembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Okuva ku Independence tuli mu ntalo
Ky’ekigaanye ne Uganda okkula lwa ntalo
Buli gavumenti ejja na ntalo
Era baagala okugenda zibe nga ntalo
Bakikola batya eri e busukka nsalo?
Abakyusa awatali kulwana ntalo?
Lwaki temukitandika ba ssebo?
Ng’ate mwagamba ky’ekyabalwanyisa entalo!
Lwaki oyoza engoye enjeru?
Ate n’ozaanika ku kiti ky’enziro
Lwaki temulabira ku Mandela?
Yafuga kimu n’ata bendera
Abakulembeze okulwa mu ntebe
Ky’ekireetera Uganda okufuuka eddebe
Buli ayogerako ng’olwo afuuse mulabe
Ekyo tekituzimba tuba tudda mabega
Abantu obaleka ne balondawo
Omuntu atakoze ne bamuggyawo
Ne Ssemateeka akyogerako
Bw’omubikkula kyosookerako wabula

Nsaba okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda mulonde mu ddembe
Awo obulamu butunyumire, nsabye
Okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda tubeere ba ddembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Now this is a message to every Ugandan
Especially the candidates
Right from L.C.1 straight up to president.
Violence is backwardness
While peace is Godliness

Gano ge mazima gali agakaawa
Atanalabuka kati nkubuusa bboyi
Bw’oba nga mu mazima oyagala Uganda
Ne mu bikolwa okiraganga
Tuzimbe omusingi oguyamba Uganda
N’abaana baffe kwe balirabira
Amanye, nti omuntu okugenda mu buyinza
Tekikyetaagisa kuyiwa musaayi
Amanye, nti abantu beesimbawo
Abantu ne balondako
Asinze N’abafuga
Gwe basinze n’amukwata ne mukono
Naye abakulembeze kati mutulaga kimu kya kulwana!
Lwaki mutukuza bubi?
Laba bwe tukuze fenna nga tumanyi kimu kya kulimba
Lwaki mutukuza bubi?
Nze bwe njogera ku kituufu n’onzigulako emisango
Awo oba otukoze bubi
Ayawuka n’endowoozayo tekimufuula mulabewo
Fenna tuli banna U
Omukulembeze omulungi awuliriza ebiruma abantu
N’abaako ky’akolawo
Buli munnayuganda wooli kikkakatako okukuuma emirembe
Ffena tuli banna U

Nsaba okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda mulonde mu ddembe
Awo obulamu butunyumire, nsabye
Okulonda kubeere kwa ddembe
Ah n’obuyinza bukyuke mu ddembe
Bannayuganda tubeere ba ddembe
Ah n’omwaka gubanyumire

Sir, Dan Magic is a real magician
Dream Studio gye guvugidde
Dan Magic is a real magician
Yeah man
For God and My Country
Kampala, Uganda, Africa
Booo!!!

Submit Corrections