Corona Virus Alert Lyrics – Piz Mallon

Hmmm
Aaah
Buno bwa twanguyidde
Tebwatuwadde kadde kwetegeka
Leero tunadda wa ffe?
Abaana ba Uganda
Buno obulwadde butambulira mu mpewo
Ne bw’okwata kw’oyo abulina
Tubyewale
Weewale okusemberera abantu abangi

Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osaanyewo essanyu
Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osannyalaze

Mwewale ebikoosikoosi eby’abantu abangi
Mwewale obucaafucaafu
Okuwandawanda buli wosanze
Mulwane masajja nga nange nwana eno tuwangule
Corona tasaasira n’abaana abatugumbula

Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osaanyewo essanyu
Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osannyalaze

Onaabanga mu ngalo zo
Kuumanga obuyonjo
Corona ssi muganda wo
Yakimye bulamu bwo
Onaabanga engalo zo
Kuumanga obuyonjo
Corona ssi muganda wo
Yazze kusaanyawo
N’ennyindo zo ezo zibikkeko
Emize egy’okuzungazunga gikome
Awo Katonda atusaasire
Nammwe musabe
Mulwane nga musaba

Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osaanyewo essanyu
Corona, corona ddala wava wa?
Watulumbye nga muyaga osannyalaze

Submit Corrections