Champiyon
One Blessing, made it
Champiyon

Leka nsome, nkule, nfune omulimu nkole
Ndifuuka looya, doctor oba omukulembeze
Yadde nga bangi be ndaba ensi b’enyize
Nze kansabe nneme kubeera omu ku b’eremye

Aaah sibalibwa mu baalemwa
Ndibalibwa mu baasomoka entindo za ba winner
Aaah ah ndifuuka champiyon (champiyon)
Ndiwandiikibwako nti natoba nnyo era nentuukayo
Nga nze aliko oooh (champiyon)
Nga nze aliko
Nga nze aliko, eeh

Beebaka nze ndi ku future mpanga
Olumala nga bawoza oba nkikola ntya!
Nsula ng’atalina gyebanzaala
Nkanya kwekwata Kigumba atayiwa
Lw’olisenguka lw’olimanya
Nti bingi by’obadde wesembereza
Naye nga tebirina gyebikutwala, eh
Abakwesembereza beesesa
Abasinga bakyamu nkusaba goba
Tofuuka madaala kweberippa nebawalampa aah

Aaah tobalibwa mu baalemwa
Olibalibwa mu baabuuka enkwe za ba user
Aaah aah olifuuka champiyon (champiyon)
Oliwandiikibwako nti watoba nnyo era n’otuukayo
Nga gwe aliko oooh (champiyon)
Nga gwe aliko
Nga gwe aliko
Eeh (champiyon)

Champiyon
Champiyon
Champiyon

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin