Champion Lyrics – Ragga Dee

Njagala nzije nkubuulire
Bino mwattu saagala owulire biwulire
Njagala nzikalire nkukubire
Akayimba ka reggae ku radio okawulire
Njagala nkateekemu ebisoko by’omukwano
Byonna byonna mwana wattu obiwulire
Njagala nkukwatire nkugerere
Obugero bw’Oluganda mwana wattu obuwulire
Guno gutusaza mu kabu
Oli mulungi maama onsudde n’eddalu ooh oh
Tompita kirimululu
Omukwano mungi onkubya nduululu ooh oh
Because, me and you is like a one plus one
I am the butter and the bread is you
Me and you is like a one plus one
I am the butter and the bread is you

You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm
You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm

Njagala ontwaleko mu baakuzaala
Ssirwa tusanga mu kkubo ne bampita kataala
Njagala nkwanjule twerage
Zi Beamer zi Hummer n’abagagga mu kidaala
Njagala nkusuulire akabaga
Nga weesibye kadaali
Omyanse mu bitaala
Njagala nkugulire designer
Skirt ne blouse, n’engatto ez’omulembe
Njagala nkutwaleko mu bakadde bange
Nabo mbakakase nti nno nafunye ekimyula
Njagala tutambule ffe twerage he!
Tulumye ba people eyeetuga nno yeetuge
Guno gutusaza mu kabu
Oli mulungi maama onsudde n’eddalu ooh oh
Tompita kirimululu
Omukwano mungi onkubya nduululu ooh oh

You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm
You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm

Njagala nkutwaleko ku holiday
Tugendeko e Spain, oba nno Italy
Njagala nkuzimbire akayumba e Ntinda
Eri mu bagagga, ab’e Kiwaatule
Njagala nkuzimbire apartment
Mu kibuga mu makkati eri e Kitintale
Njagala nkuwe cash weerage
Eyo gye tugenda gwe maama okyekole
Osaana Q7
Osaana na mmotoka nga toli heaven
Ennyumba osaana eriko garden
Nga bwe tutuulamu tuba mu Garden of Eden
Eno love teri sudden
Nze ngya kuwa buli kimu toli burden
Njagala nkutwaleko e Sweden
Nga bw’otya obutiti nkutwalako e Germany
Njagala nkutwaleko America
Tusookere Virginia oba e Boston
Osaana ne nkutwala mu Commission
Agasajja gaayo n’ogaleetera commotion

You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm
You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm

Because, me and you is like a one plus one
You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm

I am the butter and the bread is you
You’re a champion
Me and you is like a one plus one
Kuba era nange I am the champion hmmm
I am the butter and the bread is you

You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm
You’re a champion
Kuba era nange I am the champion hmmm

Submit Corrections