Eh yo eh yo
Mumpulira eyo?
Mumpulira?
Bye Mucheveni
Bino nammwe bibanyiga eyo?
Jim Nola MC (Jim)
Abeduneego babe
You’re known for a big hat
Ŋamba kikoofiira sso ssi mutima
Kuba gwo tolina
Nga ffene olina kitima
Nnyini otuwa amenvu
Tusirikire ebituluma!
Ndowooza bwe walwa mu nsiko
Otulaba nga bukima
Bbaasi ekaddiye naye ogaanye ogifuluma
Kye nzudde olinda etomere
Ofiire mu ntebe
Emyoyo gya ba freedom fighters giruluma
Ekyabatwala mu nsiko ssi kuzannya kakebe
Mu Africa Uganda ly’ekkula
Naye kinkaabya amaziga ekkula ligaanye okula
Olwa comedian omu ataneezuula
Y’afa kimu gezza lubuto lwe nga ddikuula
Kati twetwala fekka mu buddu ewatali mpingu
Bannyinaffe, batunda mibiri gyabwe mu ddungu!
Ba kadaama bakaaba ebiyumba ssi byangu
Watuwa eddembe limu kukuba mu Pingu
Watuwa freedom of speech
Ne weewa freedom of murder
You don’t want us to think
Kyova watumma freedom of sada
Emmundu muzikwata nga bisiripa
Mwetenda okuba amanda
Bukya weeyita firimu star
Kuluno towona kibanda
Ani atta abasiraamu?
Yogera amazima
Ani atta abasirikale?
Yogera amazima
Ani atta buli ayogera amazima?
Yogera amazima
Obuyinza budde mu bantu
Bafune obwenkanya n’amazima
Bye Mucheveni
Ekimala kimala
Bye Mucheveni
Bambi gendera ddala
Bye Mucheveni
Power belongs to the people
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Bye Mucheveni
Kuva buto nkusiibula
Bye Mucheveni
Kuluno gendera ddala
Bye Mucheveni
Amaanyi gali mu bantu
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Wawamba emyaka asatu mu emabega, imagine
Nkakasa ne maama wange yali akyali virgin
Nkuze okalakata naatera zaala toto
Uncensored, unfiltered, (reality)
Sorry bwe mba njogedde nga hooligan
Bwoba sorry, olw’abo b’osse ne Uzi gun
Obwavu, nzikiza be twatuma light batuwe
Ssente masannyalaze buli asika azza wuwe
Ng’ennyindo ssi ndaalo
Tossa mukka mweno ensi ennene
Oba stuck ebitaala bikwata ng’enseenene
We say a big no to tribalism, no ennene
Tulina kussa kimu ow’ennyindo endaalo, n’owennene
We’re all brothers and sisters date tonight for change
It’s not too late for us to re-arrange
Owa pen n’owekibanga
Buli omu mu kiti kye
K’obe ng’ovuga boda, k’obe ng’ovuga Range
Bye Mucheveni
Ekimala kimala
Bye Mucheveni
Bambi gendera ddala
Bye Mucheveni
Power belongs to the people
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Bye Mucheveni
Kuva buto nkusiibula
Bye Mucheveni
Kuluno gendera ddala
Bye Mucheveni
Amaanyi gali mu bantu
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Buli mulambo ogugwa mu struggle yeggwe kagutta
Eyakutuuma yali alaba mu maaso, nga optical doctor
Tofa ba voter, kasita ab’ewuwo bevoota
Tukooye ofugwa amagye, the military junta
Mu nsi eyaabwe, bannayuganda babundabunda
Ng’ebyobugagga by’ensi yaabwe mutundatunda
Bobi azze bikyuke y’enteekateeka ya Katonda
Kyenva nzikakkana ne nteekateekayo akatunda
Nga Pharaoh, bingi bizze n’oyongera kuwaga
Bwatyo Katonda n’asalawo asindike omuyaga
N’agusindika okuva e Magere mu territory
Ne gujja n’enzige, that’s a sign of victory
Tugatte emikono ng’abazannya sipoolingi
Ku ngule n’omugaati olyawo ki lowooza bulungi
The ballot is your bullet ekujja mu nnaku nnyingi
Kisoboka tokibuusabuusa nga Seppulingi
Bye Mucheveni
Ekimala kimala
Bye Mucheveni
Bambi gendera ddala
Bye Mucheveni
Power belongs to the people
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Bye Mucheveni
Kuva buto nkusiibula
Bye Mucheveni
Kuluno gendera ddala
Bye Mucheveni
Amaanyi gali mu bantu
Bye Mucheveni
People Power, Our Power
Abedunego babe
Bye Mucheveni
It’s a revolutionary generation
Bye Mucheveni
The sun of Najjuma
I want to thank you for your assistance and this post. It’s been great.