Hey Secret
Action SugarBwoy

Byakyuseemu
Nafunye muwala wa binojjo (omulabye?)
Y’ono ku bbali mu kagoye ak’obutolobojjo
Nnyingo ku nnyingo
Ammeketa anfudde kikajjo (ammalawo)
Aga nnyabo era kati siri sure
Ku buli alippira eno etambula
Oba taakubwe nkokola!
Lwakuba mmwe muli ku kiri nti azirina
Alina ekirala eky’enjawulo oh
Kankyesigalize bagamba ekiri mu ttu
Kimanyibwa nnyinikyo oh

Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu
Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu (action)

Tuli ba kubakaluubirizaamu
Ba ex abatayagala kukivaamu
N’emmundu tuli ba kuzibatunuzaamu
Bakimanye nti mateeka ba kukivaamu
Experience gye nina
Gy’alina mu bya love fenna twalabaalaba dda
Tutukyazannya katemba buli lwe kimutemba
Mu love andaba nga don dada
Lwakuba mmwe muli ku kiri nti azirina
Alina ekirala eky’enjawulo oh
Kankyesigalize bagamba ekiri mu ttu
Kimanyibwa nnyinikyo oh

Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu
Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu (action)

Ono girl, yanfudde invisible
Kati situukikako nafuuse untouchable
N’anti ye yali amanyi kiri impossible
Laba bw’ajja afuna nze
Ate nga ndi reliable (Action Sugar Bwoy)
Bangi bamulaba, naye tabalaba
Amwagala ndi omu abalala baagala bya bukaba
Namuzuula natuula era ssikyawetwa
Mpitibwa nantawetwa nafuuka lukoma
Nafunye muwala wa binojjo (omulabye)
Y’ono ku bbali mu kagoye ak’obutolobojjo
(Tolo, tolo, tolobojjo)
Lwakuba mmwe muli ku kiri nti azirina
Alina ekirala eky’enjawulo oh
Kankyesigalize bagamba ekiri mu ttu
Kimanyibwa nnyinikyo oh

Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu
Bwoleka
Luno luvuutu ki tondeka? (nkugambye)
Bwoleka
Nz’amanyi kyendiko
Bwoleka
Ndya ku luvuutu (action)

Green Gang

Submit Corrections

Leave a comment