Bwalikujjukira
Oliyimba oluyimba
(Eeh wulira maama)
Bwalikujjukira
Oliyimba oluyimba
(hmmm)

Musirikale yayimirizza emmotoka yange
Nabadde njogerera ku ssimu
Ng’ate eno bwe nvuga
N’aŋŋamba paakinga awo
Ekyo okoze kivve
Era tugenda mu kkooti otere obitebye (ooh)
Ne negayirira, ofiisa saasira (hmmm)
Musajja yabadde serious nnyo era n’agaana!
N’aggyayo olupapula ne pen
N’awandiika ebinfaako
N’awandiika ekika ky’emmotoka yange
N’awandiika ennamba y’emmotoka yange
Bwe yamaze n’ambuuza erinnya lyange
Kko nze nze Bugembe
Kko ye nsanyuse okkulaba
Bulijjo nkuwulira
Ennyimba zo ezo zaalokola ne mukyala wange
Mpa ku nnamba yo naakukubirangako
Kko nze on’okuba ku ki?
Essimu yange gw’ogirina, eh eh!

Bwalikujjukira naawe
(Basirikale balibeera mikwano gyo)
Oliyimba oluyimba
(Nga tokyabadduka nga luli edda)
Bwalikujjukira
(Ate olisuza landiroodi wo)
Oliyimba oluyimba
(Mukama ajjukira aah)

Baana b’ewange mu nnyumba
Bafaayo nnyo gyendi
Jjuuzi baaguze ne net mbu nsulenga omwo
Balina enjogera yaabwe gye bagereeseza eyo
Mbu ensiri tezikuluma eggwanga likwetaaga
Baana mmwe akajanja kammwe ako ke muleeta
We nasulira ku luguudo ani yaleeta net?
(Ani yaleeta net?)
Eh eh!

Bwalikujjukira
(Olifuna abakwagala naawe)
Oliyimba oluyimba

Bamanyi okumpita mu makanisa gaabwe eyo (hmmm)
Bwe ntuuka ne bankuba enduulu
Mbu basanyuse nnyo nnyo nnyo
Ne neebuuza?
Bano abampaana!
Baaliwa luli bwe nayimbanga
Nga be nnyimbira beebase? (ooh)
Mmeeme yange ezo enduulu tezikulimbanga
Oyo aba Mukama nga yajjukidde essaala zo
Bantu ba wano beegendereze nnyo mbamanyi (hmmm)
Bakuwanika waggulu nnyo
Ate nebaggyawo eddaala
(Ne baggyawo eddaala)
Tebawaana baavu (tebawaana baavu)
Abanaku tebabawaana
Balina ddiguli Mukama gw’asitula gwe bawaana

Bwalikujjukira
(Mbajjukiza aba Mukama temukoowanga)
Oliyimba oluyimba
(Mukama ajjukira eh eh!)
Bwalikujjukira
(Ng’ennyonyi zifuuse obugaali)
Oliyimba oluyimba
(Ng’amawanga gakwesunga)

Ono yambuuzizza kye njagala
Ne mmusaba mmotoka
Era n’agimpeerawo mbu nnyimbye bulungi (ooh)
Ne neebuuza?
Bano abagaba emmotoka
Baaliwa luli nga ntambuza ekigere?
(Baaliwa luli oba?)
Ne neebuuza?
Bano abampa ku byabwe!
Baaliwa luli bwe nanoonyanga
Ekikumi nga teri akimpa
Ono yansabye mugulireyo kkiro ya sukaali
(Mbu kino kyendi)
Mbu kino kyendi zibadde ssaala zaabwe!
Ne mmutunuulira (ooh)
Ne mujjukira
Nga y’omu kw’abo abaatutigomya
Luli nga batuloga
(Nga batuloga)
Eh eh!

Bwalikujjukira
Abalogo bagamba twakusabira!
Oliyimba oluyimba
Nga buli omu agamba twali ku lulwo!
Bwalikujjukira
Wakyaliyo essuubi guma
Bye nnyimba mbirabye

Oliyimba oluyimba
Nsaasira abampaana
Bwalikujjukira
Nsaasira abampaana
Nsaasira abansuuta

Oliyimba oluyimba
Muwaane Yesu
Nze ani yali ammanyi?

Bwalikujjukira
Mmwe abampaana
Muwaane Yesu

Oliyimba oluyimba
Nze temunsuuta
Gwe Mukama gw’asitula gw’owaana?

Bwalikujjukira
Mmwe abampaana
Mmwe abansuuta

Oliyimba oluyimba
Muwaane Yesu
Nze ndi kasasiro Mukama y’ayambye

Bwalikujjukira
Mmwe abampaana
Nsaasira abansuuta
Nsaasira abampaana

Oliyimba oluyimba
Munveeko mulinkubya emiggo
Bwalikujjukira
Mmwe abampaana
Nze temunsuutasuuta
Muwaane Yesu

Oliyimba oluyimba
Ggwe Mukama gw’asitula gw’owaana?
Bwalikujjukira
Mmwe abampaana
Mmwe abansuuta

Oliyimba oluyimba
Muwaane Yesu
Nze ndi kasasiro Mukama y’ayambye

Bwalikujjukira
Mmwe abampaana

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *