Buladina Ndibakooya
Buladina Ndibakooya
Omwana wange ogenda
Mu bufumbo bwo ng’omuntu
Buladina gw’osoose
Mwanange nnyamba buyambi
Otereere obeeyo, ofumbe mirembe
Mu mikono gyo ensuwa yange
Mmwe mwe ntadde otuzzi otutono
Nkalamata bw’ajjanga
Mw’onoosoonsekanga olwendo
Buladina ng’osenako, otulala ng’onywako
Otulala n’obatika
Simanyi oba otegedde ensonga!
Nkunnyonnyola bulungi ebintu
Wototegedde ng’oŋŋamba
Awo nga nziramu, sirikutikka emidibo

Chorus
K’ogende ng’omutendeke ng’ogenda
Ng’eyatuuzibwa ng’ofumba
Fuma ekigambo kusagaasagana
Obe kya kulabirako eyo mu banno
Ng’omutendeke ng’ogenda
Ng’eyatuuzibwa ng’ofumba
Fuma ekigambo kusagaasagana
Obe kya kulabirako eyo mu banno

Nsooka okukwebaza ennyo emisomo
Yogaayoga Ndibakooya
Bwiino ssi kintu muzannyo
Onsaasiridde lupiiya
Okupakasa kutunyoola
N’okweresa okuweerera bizito
Era byalema nkumu bwotofuba
Mpisa z’ababyegomba entuuyo
Nze byonna by’okoze era nsiima
Notawampuka ng’abalala
N’ondeetera omusajja ndabeko
N’okutegeera gy’olaga ng’omuntu
It’s alright Ndibakooya eh!
Nange mmanyi ku kazungu akatono
Bwe n’asobya ng’ompabula
Olukula luyooka ogwalwo
Byonna n’empisa Ndibakooya
Z’ondaze ng’okyali ku luggya
N’okwekuuma ennyo
Ne miwambo gy’ekkubo nootakemwa
Akataazimbe mwana wange
Emmuli kazeebagajja bukiika
Ng’era omunafu, bw’ajjula eggolu era eri bba
Ofangayo nnyo Ndibakooya
Ng’ofukamidde ku maviivi
By’osinga okusaba Katonda
Magezi na bugumiikiriza
Ensi ssi mulabe eri omuntu
Omutonzi yagituweesa ddembe
Bw’onokulembezanga amazima
Byonna bya kukwanguyiranga
Obusungu obufuganga
Kitone okuva era eri ye
Y’agabira bonna abalina
Naawe kimusabe ng’omuntu
Munnange Omutonzi mulamuzi
Kubanga bw’osobya y’asalawo
Bwe weenenya y’asonyiwa
Ate bw’amala ng’agemula
Nze ye yanterekera enkalu zange
Ze ntoddenga eyo gye musoma
Ne nkyaama ne ku Ggombolola
Ne mpa omusolo nga nkomawo
Kale ezifikkawo ng’enkalira
Nsisinkana ekifi ne ntemesa
Nga maama wammwe awuuta
Nange ku mutima nga ngiwayo

Mwana wange weewale nnyo obunafu
Y’ensibuko y’empisa ezo envundu
Abanafu baba ba nsaalwa
Ate omunafu alingiriza
Yanirizanga abagenyi
Buli omu n’ekiti ky’agwaamu
Munnange tolengezza abantu
Amagezi gaba ga mitwe ssi migejjo
Emyaka gimpuubidde akawero
Toddamu n’oswaza oluggya luno
Ojja okuwemula enju yange
Ng’okumpanyirizza mu bufumbo
Obukumpanya bubi Ndibakooya
Bukwasizza abangi mu byokya
Tokukusiza omusajja olubugo
Byo tebyekweka birumiriza
Eby’abasawo n’okweraguza
Eminkuduulu Ndibakooya
Na gano agamindi agaabinuse
K’obigezanga ng’olaama
Nkiddamu Ndibakooya
Nti emikunduulu n’okweraguza
K’obigezanga nnyabo wange
Ne bwe ndiba magombe nkomawo
Nkuutidde kwesiganga Katonda
Kitaffe y’oyo atalemwa
Tusobya n’atuddiramu
Ezo emmandwa tewaliiyo esonyiwa
Ebiduula by’abakyaala ebyo
Ntoli z’amazina mazunza ŋŋambo
Ye nakazadde w’empisa ezo empemuzi
By’ebyo ebyesittazo bikolimisa
Ekitiibwa kya balo ng’okuuma
N’omukwano omungi ennyo
Ebyama by’awaka ng’ozibira
Owa kalebule ng’okyaawa
Obenga muyambi, ow’omutima omudduukirize
Omukono omuzadde nkusaba
Ne ku gwotozaala gwe gubonereza

Chorus

Kaakano akatanda akatono
Ke nasobodde okusibirayo
Kano akayiso n’ekidondi kya wuzi ng’ogenda
Omukyaala okuzuula obunafu bwa bba
Osooka kuddaabirizanga nsawo ye
Bitusuza ku Ggombolola
Ng’ezo gwa Kayisaali nazisudde
Engera yiino ey’akambe
Olukato n’enjulu n’ekiwabyo
Ate ako akasimo, ne ku nkalagye osigako
Nkusibiriddeyo n’ekisolo
Kiyana kyange kiruusi
Omukama bw’ayamba, n’otuta ng’owuuta
Ebiddako bya kukuzitoowerera
Naye nkusaba obigumiikiriza
Nange bimmenyedde ebyeya
Bampagayita nga bisiibo

Owange waggya wa omusajja omuzito?
Lupiiya yantonedde kakadde
Ng’omutwalo kasiimo
Nsaba ozinterekere mu nsawo yo
N’addira omusimbi omulala
N’agula amakanzu ekitalo
Ngoye za ba maama ne ssenga
Byonna sengeka mu nsawo yo
N’abala lupiiya endala nate
N’antonera ng’enkalira
Ogira ombalirako nze zaalemye
Abulako kuwunya nga muvundu!
Kyabadde kijjobi ng’agemula
Mu bingi bye yaleese ebirala
Ndiiba!, omusajja yaleese otwenge

Naye wakati mu kuwoomerwa ennyo omwenge
Nsonyiwa Ndibakooya
Sijja gukombako dita wange
Kanje nkubuulire gy’obiraza

Omusajja gw’otera ennyo osanga
Oyo avuga ppikipiki eya bbululu
Baasisinkana ne maama wo ku baganga
Gye baasinziira okutta ekyama
Ebintu ebyo gy’oba obiraza
Ekyo baakikoza ttima na bujoozi
Okukuza mbadde muyambi
Mwanange ssi nze kitaawo!!!

Gye biva ne gye bidda simanyi
Kuba ne ku muganga bwali buganzi
Obukakafu awo sirina
Naye ng’ono yaatera ennyo okuwera
Effujjo ly’omuze ogw’embaliga
Maka gange gaabuna ebyawongo
Nga maama wo agufudde omugano
Ne binzitira omwana mulamba
Bwe byamala oyo okutuga
N’omukulu yapaala bupaazi
Ng’agudde n’eddalu aluma bantu
Ne gye buli eno simanyi
Oba gyaali akyawumpuguma!
Oba battira eyo ne basuula!
Enkunga ne zirya
Nga noonyezza omwana wange
Yagenda awuunuuna, ng’empuunamalungu
Nga n’omuto bwe yasooka atyo
Naye yazaawa awuunuuna
Kati no maama wo ate ye
By’ebimu by’ebyo ebintu
Baalwana na muka oyo muganga
Bwe yadda yawuunamu ebiri ng’agwa wali
Naye bwatyo ng’azaawa
N’akundekera ng’oli kato
Nakusigaza nga muntu atoola
Kuba gwe kw’ebyo tewalinaawo musango
Wakati awo mu biwoobe
Oluggya lwabuna ebyebikiro
Ewange waafuuka eky’erorerwa
Kwe kulabika watyo nga matongo
Nange by’ayagala okunnumbagana
Kko nze awannyu wewaawo
Bwototya musajja munno
Ne bindesa amaka awo malamba
Kwe kusenga omutala eno ewalala
Gwe nakukwasa okulera ng’agamba
Nti tukuweeyo gye bakukaayanira
Nga ndaba kikolwa kya butemu
Mukama mu kujuna ng’ovaamu
N’omutindo kw’osomedde omuzito
Nga Balinnyenkandaggo
Musajja aze awera nkolokooto
Bwe tusisinkana nga nnywamu
Nga yeetala ayisa awo obugero
Mbu agikuba empola, eh takitta?
Mbu kiriba edda n’ayimba
Azinye obuzina awo obw’ekirogo
Yafuukira ddala okwo ŋŋombo
Akikuba empola bw’asonga

Mpaawo ajuguna,
Hmm oli nga yeefuga dda ekyalo
Olulala walumbibwa awo essujja
N’oyiwa n’ebirogologo
Enkeera n’otandika owunuuna, eeh!
Nga nfukamidde ku maviivi
Nalaajana eri Katonda
Nti ku luno bw’onvaamu
Ewuwo tujja babiri ne Ndibakooya
Nga nnyenga awo biragala
Mululuuza na bbombo
Ne Viks nga nsiiga
Mukama ng’ayamba
Nnyabo ndaba ositudde essiisi
Naye BA mukkakkamu ng’ogenda
Empaka tezirikuwunga zaaya
Ogoome nga bagereesa
Singa nalina ng’emigemeranyi
Gino ssi gy’emikono mwe wandikulidde
Nze nakuzibwa ntya Katonda
Beera mukyaala mufumbi
Eyeesonyiwa ebimuyitirirako
Eky’obusirise nkikukwasa
Ng’ekyokulwanyisa ssaabawanguzi
Bw’onokuuma ebyama
Ojja kuzuula ebiriyitira
Munnange ssi buli eyetiba ensekese
Nti y’akkuta gye ziyiisizza
Obufumbakafu tebeera empisa yo
Empya z’ababaza tezoosa bakyaaze
Tewesaasiranga entuuyo
Kubeera kweganya mirimu
Kino ssikikugambya bukyaayi
Ttima oba bukambwe
Eby’okudda nti ondabeko
Nsaba obisuule muguluka!

By’onzijukiza bikira ensi
Bye nalafubanira by’afa ttogge
Wajja ngeri ya kinanfuusi
Okwava n’amaka gange osaana
Nkusaba oyige ensi ng’okyaali muto
Tekungulwa tugiryako makoola
Mu miranga mwe tugiyingirira
Mwe tuginnyukira mu biwoobe
Eminkuduulu n’okweraguza
Na gano agamindi agaabinuse
N’ebiduula by’abakyaala ebyo
Bye byassa maama wo mu lugendo
Lumirirwa ensi yo era
N’abato mubatendeke ennimi zaabwe
Muzibaagazise ne mu njogera
Ekirala towooleranga eggwanga
Omukwano gwa balo ng’oseesa
Bw’oyongeza ng’oyagala
Obwana bwa balo ng’obulera
Ebyama by’awaka ng’ozibira
Wakati mu kwagaliza ennyo
Guno mukisa okuwerekera
Okuva ewa Ddunda Katonda
Akwatireko tuuka mirembe
Lumirirwa ensi yo era
N’abato mubaagazise ennimi zaabwe
Muzibatendeke ne mu njogera
Ekirala towooleranga eggwanga

Chorus to fade

Submit Corrections

One thought on “Buladina Lyrics – Paul Kafeero”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *