Artin on the Beat
Check in
Aaaargh

Yenze Black Panther
Mbaanirizza mu Wakanda
Nkiddamu,
Mbaanirizza mu Wakanda
Nzaalibwa Uganda Hip hop busagwa mpanda
Najja ne neetegereza game ne ngiwamba
Ne nkola ebyabalema lwaki ate mukolima?
Baba obaddeki Navio, Zamba ki temusiima?
Gamba munno agambe munne bw’aba ajja ajje ne banne
Nze nsonga mwogerwako
Mwandibadde mwebazaako
Myaka munaana ku top rapper ki ayinza ogezaako? (No one)
Ssi sayiningibwa siri cheque one two, mic check
Ndi self made in Uganda teba blunder
Nzaalibwa wano
Nkulidde wano
Manyi ebyagalwa abantu ba wano
Siri mutiitiizi nebwegwaka nebwegaba mataba oba lutalo
Emisolo nebwegirinnya nzinoonya siddukira mu exile

Ndi kaana ka mbaata gwe Navio tofuguma
Mutabani wa Margie dda ewaka bakutakulire
Nkoko nzungu ku ttivvi olabe amawulire
Yaka bw’aggwaako mummy wo omukubire akugulire (Hello mummy)
Food akujjulire ne chai akutabulire
Wassaamu nnyo nga tofunamu kko ggwe k’otuyimbire? (mwana!)
Oyogereza biki wanditumye omutongole akukwanire
Mummy wamulabisa n’asalawo omukazi amukusasulire
Dda mu kuzaala baana mummy arcade abazimbire

Gwe ka Rocky Giant wabula oswaza nnyo
Wenakusanga wooli lwaki tova mu kazannyo (kanyiiza)
Ka sitayiro ko baakakoowa kaali kabbowa nnyo
Tolina kipya just majaani kale mangi nnyo
Gasse ku chai otembeeye n’omugaati gwa toosi
Wa locking-a mu bikadde tewegomba ba boss?
Fuuka bouncer tukakase bw’olina eyo force
Nze ndi magoba mu Hip hop, gwe oli loss (owulidde?)

Gwe ate Babaluku lengera wano
Akaffe k’abatuuze olwo ak’abagwira ka ddi?
Nkoma kuwulira nga weesoma Hip Hop jjajja
Naye ssiwulira tune zo okuva lwe najja
Kyokka mpulira batabani bo, by’obayigiriza
Kufumbirwa bakyala bazungu, na bakama nsimbi
Eyo ye foundation ya free style session?
Gwe bye wenyumiriza mu Hip Hop generation?

GNL Zamba nkuyita, toyitaba?
Wadduka omwoto wawulira bwe gwokya zi baboon?
Nga waddukira wala nnyo
Watya nnyo competition
Tokyasobola ne bwebakussa ku podium bw’omu (tamalaako)
Wanywa nnyo taaba n’ebigambo ne bikuggwaamu
Wagenda kuwasa oba gwe gwebaawasaamu?
Eno tulinze firimu ya Hollywood gyolibeeramu (tulinze)
Oba olirimba ppaka ddi bibaawo ebyo mu bulamu
Okuyimirira nange kubira Shadrack omwegayirire
Akuwe eky’okola ne mu nsawo era akuwanirire
Otengerere rap nze nkube ofukamire
Zamba osaze e****e Mun G akusangule?
Hahahaha

(Talking)
Buno obugoma temuli ssente
Just for fun
Kunyumirwamu
Just kunyumirwa
Artin

Submit Corrections

2 thoughts on “Black Panther Lyrics – Gravity Omutujju”
  1. Owange Muwara Gwe, owangdekawonorowoza nti nze nja koga neda welimba nze neyogelakugeja nabakusigula bampitaku mukubo nebatandika okugeya kyekugabmba awowobokoma yebasajabo kunjogeraku sagala ode mumpalana kyobamanya nze nakubuka olwobwenzi na mpisa abi nze wa li oyolsa,owange muwara gwe,nze na ku buka juziwanowantomiraomubaku nayemusajagwe lwakitompowa am sorry beby idon’t kya your love nze kyekusaba mumuti gwo mubirowozo bwo,owange muwara gwe’zijamumutima gwo we labide adaganojetwakola otumila ababaka jobelagwe wankyawa belanaboabalina akaja

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *