Mu gy’ekinaana muzeeyi yaggyayo emmundu
Agende alwanyise, ebyali binyiga ensi eno (byali bingi)
Omwali effugabbi wamu n’okutta abantu (byali bingi)
Okusosola mu mawanga wamu n’okubba obululu (byali bingi)
Okuteega abantu nebabaggyako ebyabwe (uuh uh)
N’okutwalibwa mu makomera nga tebalina misango (byali bingi)
Abakuumi b’ensi okozesa obubi emmundu (uuh uh)
By’ebyanyiiza Muzeeyi n’agenda mu nsiko

Naye nno bizzeemu (eeh eh)
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (eeh eh eh)
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu

Mubyalwanya Muzeeyi ono mwalimu obwavu (ooh)
Naye ssente enaabuuse nnyo hapana
Owa arcade ez’obupangisa aggamba zimpe mu dollar (aah)
Mbu kuba ssente ya wano egwagwa nnyo ebbeeyi (eh eh!)
Abantu badduka malwaliro bafiire ewaabwe
Nga bill y’eddwaliro esusse nnyo! (eh eh!)
Mpozzi omugenzi gundi bwe baamusaba ennyingi (aaah!)
Nti oyo twabonga naye awo nebaweereza essente
Ebintu by’ani akumanyi? (ani akumanyi?)
Ssi bya buli munnansi (he he he)
Kati ffe abayimbiriza (hmm)
Onoolaba gyebinaatukomye

Naye nno bizzeemu
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu

Ne pandagali alinga eyazzeemu ntidde
Kuba aba opposition bakwatwa nga nsonzi (ttabbu ttabbu)
Bawamba omwana wo nebakusaba essente (aaah)
Bw’olwawo oziweereza nebamuggyako ensingo (eh eh!)
Okuwolereza gwebabbako ettaka otwalwa ng’omubbi (aaah)
Mbu oba olemesa abanene okukuza ensi eno (eh eh!)
Nagenze e Kiboga mbimugambe jjuuzi (aaah)
Naye banaku bannange banvumye nnyo, nnyo nnyo!!!
Nti kasajja gwe akasiru
Kawuuzuumya embaliga
Muleke atulumye, alikoowa n’atuleka
Ffe twamukwasa omu, Mukama y’alimanya
Kati bwebabiŋŋanye
Kwekuweereza obubaka (weereza)

Naye nno bizzeemu (eeh eh)
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (ffenna tugambe Muzeeyi nti)
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (Nankabirwa mugambe Muzeeyi nti)

Naye nno bizzeemu
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (Tamale Mirundi mugambe Muzeeyi nti)
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (abamulaba mumugambe nti)

Naye nno bizzeemu
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (buli muntu mugambe nti)
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu (ffenna tugambe Muzeeyi nti)

Naye nno bizzeemu
Ebyamulwanya byazzeemu
Muzeeyi mumugambe
Nti ebintu bizzeemu
Abange bizzeemu
Ebyamulwanya bizzeemu
Ab’eyo mumugambe
Nti ebintu bizzeemu

Submit Corrections