Bitwale Lyrics – Nshuti Mbabazi ft. Mesach Semakula

Hmmm
Eh eh
Kati yongeza omukwano (nnyongezaako)
Yanguwa jangu eno (oh yanguwako)
Brian Beats
Aya ha!

Mukwano wasuze otya?
Y’oliyo otya?
Ewange nasuze bubi ng’omutima guluma
Omanyi nkwagala nga mwana
Wootali n’olunaku teruŋŋendera
Nebwomala essaawa
Emu bweti obulamu tebumpoomera, eh
Amazima nasuze bubi ng’omutima guluma yeah
Ng’empewo efuuwa aah
Ng’anakayonta kaluma eh
Ekiwuubaalo n’enjala, nga biruma
Tolya mu wooteeri
Nafumbye akamere ne kaboobera
Akatiko akabaala
Ke waŋŋamba nti nno ke kakuwoomera
Ne bye nkuterekedde eyo okumala ebbanga
Leero luno bitwale, bitwale

Bitwale bitwale
Bino bibyo
Byonna bibyo bitwale
Bino bibyo
Mbiterekedde akabanga
Bino bibyo
Naye olwaleero bitwale
Bino bibyo
Mbitwala mbitwala
Bino bibyo
Leero tompona nkutwala
Bino bibyo
Nkulindidde akabanga
Bino bibyo
Babe bubu nkutwala

Saagala kukulumya otulo bwe tukuluma weebake
Ettaala yo bw’ezikira guma kuba akabiriiti ko nze nina
Ayogererawo ne nsaza ne ka music ne nnyongeza aah
Naye kiki mukwano?
Mu mutima munda awo?
Kiki ekiri munda awo?
Kyonna ky’oyagala ndeeta
Sembera mukwano
Sembeza jangu wano, ooh aah ah

Bitwale bitwale
Bino bibyo
Byonna bibyo bitwale
Bino bibyo
Mbiterekedde akabanga
Bino bibyo
Naye olwaleero bitwale

Babe nze kankubuulire
Gwe munnange Mukama yakuntondera
Nsaba era essaala
Nti munnange yekka y’aba akunkuumira
Byebyo twala
Naye twala mpola tebatuwulira, eeh
Njagala nkubuuze akabuuzo
Will you marry me marry me?

Bino bibyo
Mbitwala mbitwala
Bino bibyo
Leero tompona bubu
Bino bibyo

Kati yongeza omukwano (nnyongezaako)
Yanguwa jangu wano (yanguwa eno)
Sembera munnange (sembera eno)
Yanguwa jangu wano (yanguwa eno)
Sembera babe wange (sembera eno)
Naye ki ekiri munda awo
Mu mutima gwo? (ddala munda awo)
Yanguwa munnange (yanguwa eno)

Submit Corrections