Serena
Nkoze nnyo empisa nzimazeeyo
Chris ebintu by’omukwano nze binnemye
Mazima n’oba ng’eyazza omusango abasajja! Aah
Kkomera lya laavu
Linsuza nkaaba bannange, haa
Serena nsazeewo ŋenze, kaneeyombekere
Mazima n’obwenzi bwe bunsusseeko
Bawala n’okunvuma banvumye nnyo
Banvumira ki kale nga basanga anyiridde?
Nze ntoba
Kkomera lya laavu
Linsuza nkaaba bannange, haa
Serena nsazeewo ŋenze, kaneeyombekere

Both
Bino bikalubye kisusse
Togeza nnyabo ne gy’odda bizibu
Akomawo mwenda nga bukya
Gwe nno kale at least akomawo
Nedda bikalubye birumya
Togeza nnyabo ne gy’odda bizibu
Akomawo mwenda atamidde
Gwe nno kale at least akomawo

Both
Eeh twajjirwa emirimu
Tampa time mbu akola nnyo
Ndowooza wamma nze najja
Kukuuma nju nkizudde, ndabye
Olwo munaalya ki ate?
Muleke akole ssente
Serena obwavu ndwadde
Oyo omukozi musiimye nnyo
Essimu ye ndaba ye mukazi we
Misana n’ekiro ndaba akyatinga
Ono ne bw’omuwa emmere tagirya
Essimu yamwefuga
Kasita agigula, n’agireeta gwe n’ofumba
Obutava ku ssimu aba ne deal
Mufune enkya kyemunaalya

Both
Bino bikalubye kisusse
Togeza nnyabo ne gy’odda bizibu
Akomawo mwenda nga bukya
Gwe nno kale at least akomawo
Nedda bikalubye birumya
Togeza nnyabo ne gy’odda bizibu
Akomawo mwenda atamidde
Gwe nno kale at least akomawo

Both
Sijja kusala gwa kawala
Nga waliyo ogw’akalenzi
Muko nange yaŋŋamba
Mbu toyomba osula Ntebe
Mbu ate ebbuba eriri ku gwe
Kisaawe kiramba
Gwe omuwolereza lwakuba
Oli musajja naawe
Ndowooza naawe eyo bw’obeera
Mulamu ng’alabye
Tebikukankanyanga ebyo
Abo abawala mukoka
Giyite empewo eno ekunta
Just know gwe first priority
Mukwate mpola ajja kukyuka
Mulinde mu kisenge omugambe
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Aleeta abakazi ewange
Tuula,
Kasita yegwe General
Nywera
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Abawala message ze basindika
Tuula
Nzisoma nga yeebase
Nywera
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Kibi okebera essimu
Tuula
Eya bba wo mukwano
Nywera
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Kyokka ye omwami
Tuula
Wa ddembe okukebera eyiyo
Nywera (Shaa!)
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Ate baggya bange bangi
Tuula
Ne ba jajja baaguma
Nywera
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Luli nasanga obupiira
Tuula
Oyo mulungi yekuuma nyweza
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Both
Naye enkya nze ssiggulawo
Tuula
Kakisule wabweru
Nywera
Abo abakuwaga ogende
Bw’onovaawo nga baseka

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *