Bibuuza
Buli kye ndaba kibuuza

Bibuuza
Buli kye ndaba kibuuza
Walaga wa mukwano?
Ndabye nze
Oluggya lwa wano lubuuza
Byalaga wa ebigere byo?
Bibuuza
Enzigi n’amadirisa bibuuza
Yalaga wa eyaziggulanga?
Ndabye nze
Bulangiti ne pillow bibuuza
Kaalaga wa akabugumu ko?

DMS Records

Omuntu gwe nawaananga mu bangi
Nti yeggwe gwe nalonda
Nalayira mu lwatu
Mu lujjudde lw’abangi
Wakati mu mizira
Wayogera nti yenze gwe wasiima
Banjokya bibuuzo eyo gye mpita
Nti aliwa gwe wawaananga?
Nze ndi eno nkulinze
Mu bulumi obungi
Ninga akagabi
Wakati mu mpologoma mukwano
Nsula na ka pillow mu kifuba kyange
Nnyinikyo wagenda
Olusu lwo ndunoonya
Mu kisenge lwaggwamu
Na kino ekitanda kya babiri
Komawo, osule we wasulanga
Komawo, pillow yo ekulinze

Bibuuza
Buli kye ndaba kibuuza
Walaga wa mukwano?
Ndabye nze
Oluggya lwa wano lubuuza
Byalaga wa ebigere byo?
Bibuuza
Enzigi n’amadirisa bibuuza
Yalaga wa eyaziggulanga?
Ndabye nze
Bulangiti ne pillow bibuuza
Kaalaga wa akabugumu ko?

David

Mbazannyira ku bwongo
Tebamanya nti wagenda
Nziggyayo akagatto ko ne nkakuba eddagala
Ne nkassa ku mulyango
Njoza n’amasaati ku kabalaza
Mbalage nti wooli
Ntema n’obukule mu nnyumba
Bawulire nti tuzannya
Oba nina ekimbulako ngyatulira
Nkyuse mu neeyisa
Ettalo ly’omukazi eryakutwala, likwesonyiwe
Taata w’abaana bange
Komawo, n’engoye zo ozizze
Nze asobola okuzooza

Sauti ya mnyonge
Madiina nalia
Mume wangu alienda
Alipote, alipotea

Abaana tebamanyi kitaabwe bw’afaanana
Wabaleka mabujje
Neighbor, kojja oba jajja bw’akyala
Oyo gwe bayita taata
Mpita mu bulamu bwa kwebuzaabuza
Mbikkirire embeera yange
Nsula nkaaba
Sikiraga na bantu abo
Nzannya part nnene okubalaga nti nnyinimu mu nju mwali
Nkola oluyombo mu kisenge kyange
Mbuzeebuze abali ebweru
Balowooze nina omwami gwe nnyombesa
Nkooye engege ezo
Enkya tozireeta!
Na zino enviiri mukwano
Ziwedde ku mulembe
Naye nga lwaki onnumya otyo?
Nnyombesa pillow oba kisenge?
Onsudde eddalu

Ndabye nze
Oluggya lwa wano lubuuza
Byalaga wa ebigere byo?
Bibuuza
Enzigi n’amadirisa bibuuza
Yalaga wa eyaziggulanga?
Ndabye nze
Bulangiti ne pillow bibuuza
Kaalaga wa akabugumu ko?

Laba okwagala
Bwe kunfudde ekitagasa!
Ntunuulira entebe yo
Mwe watuulanga embuuza walaga wa?
Ne ttivvi yo
Remote yaayo embuuza wadda wa?
Entamu y’awaka
Embuuza emmere ki nagikendeezaako?
Ate akambe k’ewaka
Keebuuza nga tekakyawaata nkota nnamba?
Ebisolo by’awaka
Amatu gaabyo nga tegakyawulira ku ddoboozi lyo!
Nga ndabye

Sauti ya mnyonge (sauti ya mnyonge)
Madiina nalia (analia machozi)
Mume wangu alienda
Alipote, alipotea
Sauti ya mnyonge (sauti ya mnyonge)
Madiina nalia (analia machozi)
Mume wangu alienda
Alipote, alipotea

Sauti ya mnyonge
Madiina nalia
Mume wangu alienda
Alipote, alipotea

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *