Best Man Lyrics – Abdu Mulaasi

Mu by’emiziki joy gwe nina
Kasita ompulira tewebulankanya
Rasta Smart bwe nkola
Abdu Mulaasi avumbula ebipya, era ntuuse
Nkyaliwo nga bulijjo
Ne bye nnyimba byange bya mutwe
Tebangiyizangako
Abadde awakana kaakati nvuma
Nti embwa eyiiya
Ne kaakano nzize
Nkulage amasanyu agaabula awasa
Eyali Best Man
Nafundikira nga nze mugole, siri keeki
Omanyi embaga enyuma
Nga n’agabula yakkuse okulya
Ayinza n’okkuwa entamu
Nange omugole namuddaabiriza, takyajulira

Eyali Best Man nafundikira nga nze mugole
Obubbi bwamwegaanya
Muka omusibe wange wa waka
Eyali Best Man nafundikira nga nze kawasa
Obubbi bwamwegaanya
Muka omusibe wange wa waka

Twakeera nnyo ku makya
Tunone omugole ng’era bulijjo
Tetwakola nsobi
Bye baatusaba twabyetikka
Tufune ekyana
Nali Best Man
Nga nze ndabirira oli kawasa
Nanyuma nnyo mundeke
N’omugole omukazi kyamwekanza
Nga yenna angudde
Eno baali bawoowa
Obwana bw’omanyi obutateeka
Ne bukaayana bwokka
Abdu Mulaaci alabika yaawaca
Yaciba faamu
Kko akalala Beciti Man
Abaali bammanyi nga bulijjo
Bonna bakyewuunya
Kko n’omugole nekeneenye
Mpulira ayimba
Yakyuka atunule
Ne mutemyako nti bwe nkola
Omanyi wambwa wa ddalu
Nga gwe omutakudde nti kandabe
Ajja kuluma

Chorus

Best Man
Abaakituuma baabulankanya
Aah ah owange tabeera
Ngya kunoonyayo Next Man
Omanyi Sula Ssaku
Yali musajjasajja lwakuba
Ssente zamwettanira
Nga nange waaziggya wambuzaabuza
Laba ssente
Omanyi ono ssenga
Yali mukwano gw’ono kawasa
Yakaka omuwala ono akkirize
Nga naye endabika tekkaatiriza
Yali bad
Nze eyali Best Man
Nga nze nsinga oli kawasa
Nange salina nsobi
Y’eyanonda ntino mbeere
Omanyi awali ekibi
N’ekirungi we kijja
Ebizibu ebyagwa ku Ssaku
Olunaku lw’embaga ate nze lwe nfuna
Nasula nsanyuka

Chorus

Nfuna ntya essanyu manya?
Kati nkulaga ebyagwa ku Ssaku
Yali mukwano gwange bulijjo
Ssi mu ssente
Ng’era ennusu alina
Nga nange w’aziggya wambuzaabuza
Nze kw’olwo lwe mmanya
Nti mukwano gwange mubbi wa lulyo
Yali wa mmundu
Yali mubbi bulijjo
Ne kasiki yagenda apakase
Banne bwe baabategeera
Ne balonkoma Sula Ssaku
Nti ye boss
Wembley nga bulijjo
Ewali essanyu yo weeraga
Asala keeki agabule
Ne bakuba essasi nti tudduke, tugende
Ffenna twasaasaana
Ye kawasa baamwetikka
Nze eyali Best Man
Nakwata omugole nti tudduke
Twekweke ewange
Yasula wange mu maka
Nga yeevuma ssenga abaamumulabira
Bwe yatulika akaabe
Ne musirisa nga bulijjo
Muwonya mbooko
Muka omusibe yakkaatiriza
Nti ne bw’alivaayo talikombako
Ekisajja ky’ekibi
Ate kibbi kko nze bireke
Ofunyeemu nze
Ye Sula Ssaku eby’embaga ye byagotaana
Nze kati essanyu nina
Bbaayi mweraba olwaleero awo we nkomye
Ninda amadda

Repeat Chorus to End

Submit Corrections