Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna
Tumanyi Makaayi ne banne
Abaaleeta Yesu Omulokozi yekka

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Baabatemako emikono ne babasiba
Mu kabazi ne babooca nga balaba bonna
Baali bato abaasoma akatono
Yesu eyebazibwa najulirwa leero

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Ekyewuunyisa Balikuddembe
Gonza ne Kaggwa nabo abo baali bagumu
Baabatemako emikono
Baabasalako ebigere
Ne batemwatemwa obufiififi bonna
Walukagga ne Rugarama, Kakumba ne Mukasa
Lukka, Kadoko ne Munyangabyanjo
Okukkiriza kwe mwalaga n’obuvumu
Bwemutyo ne mubeera abasaale baffe

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Mukaajanga yatuuyana n’atawuka
Nga bookebwa
N’abamu nga batemebwatemebwa
Mwalimu n’omwana gw’azaala
Kw’olwo kyamubuukako
Naye bwe yakkiriza

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Baali bumu nga bookebwa omuliro
Ne wataba n’omu awanjaga ateebwe
Baali ku kimu ekya kusaba obusabi
Yesu gwe bakkiriza atwale emyoyo gyabwe
Waliwo n’amaanyi g’akozesa
Yesu eri bonna abamwesiga bulijjo
Omuliro ogw’entiisa n’omusaayi oguyiika
Yesu yalinga wakati waabwe

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abasajja beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Twewaddeyo naffe olwaleero
Gyoli Yesu gwe Omulokozi wekka
Tuli bagumu ng’abalenzi bali
Nga twesiga amaanyi go okutuusa lw’olidda

Alleluia
Ku lwa Yesu
Battibwa nga bayimba
Beewaayo abaana beebazibwa
Ku lwaffe baawaayo
Obulamu ne byonna

Submit Corrections

One thought on “Beewaayo Lyrics – Catholic Church Hymns”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *