Beeping Lyrics – Kazibwe Kapo

Kyova weeyogeza obw’omu ng’oli mu kkubo
Omulala kizibu nate okimanya
Ebintu byansobeddemu eka eyo
Ekintu mukwano gwe kirina amaanyi
Sso tekifunirwa treatment
Lwa kwekaza ndabika ba kapo siri fit
Emikwano gy’ebiro bino nze gyankubye entiisa
Gino egya beeping abivuddemu asinga
Nze kale eyali amaze ebbanga
Ng’ebyo ebya laavu nabiwera ewange
Neevuma ekyanaawudde
Okuganza omuntu ono eyeyisa nga ka kid
Beeping z’onyiganyiga nkamuse
Nzize ku charging fire amaze okeewa
Laavu ze banyigamu lock ebyo byaggwawo
Eza luno nzibu ssebo
Kati beeping tezimala bbanga
Bali ku ‘fulasingi’ ngeri ya ssimu
Gwe gaziwa nti olw’okuba Judith
Lwalinyiga erya red olyekuba sorry

Beeping zimmazeemu n’amaanyi kandeke
Ka nnyige ku lya red mbyerese
Ababeepinzeeko mumala we nkomye
Ebintu mbitaddeko lock mpummule
Bino mbiggyemu fuse lwa mpaka
Wamma anetaaze sorry gwe mpowa

Gwe awakana ogenda kuvaawo okakasa
Nti okuganza kwakomya luli amaanyi
Ebya luno nze mbinyumya numira
Bakumanya nkula kaakufuna amasuse
Ye ffe Katonda be yawunda mu ndabika
Buli akulaba ayagala amale okufuna
Luno mbiguddemu ndabuse
Emikwano gy’ekkubo ssitugulwa maama
Eby’okunnumya omutwe mbiggyemu gas
Omukazi omwenzi gundi kye ndabye akamula
Ofuna essujja eritavumulwa doctor
Leero n’obeera awo plan zo zikomya
Bye muliddeko bimala oyo aneesunga
Ku luno asiibye mayiba
Emikwano nze gimmaze amaanyi
Gino egitawangaala ginnumya kichwa
Gw’owulira nti otaddeko endowooza yo
Ate kaamala okufuna ofuuka mulabe

Beeping zimmazeemu n’amaanyi kandeke
Ka nnyige ku lya red mbyerese
Ababeepinzeeko mumala we nkomye
Ebintu mbitaddeko lock mpummule
Bino mbiggyemu fuse lwa mpaka
Wamma anetaaze sorry gwe mpowa

Temunfuna obubi nti emikwano sigimatira
Ndi muwagizi ngiruddemu ebbanga
Era wentuukidde ogikomya
Sipapye bupapi wabula mmaze okimanya
Nti bannaffe kwe tuwummuliza endowooza yaffe
Eky’oganza omu muziro gwabwe
Asiba dozen nnamba ewiiki emu
Nze omwenyinyaze we nkomye obaganza
N’agabanya laavu n’alemwa ogituusa
Ky’ava yecanga n’abamu obakyawa
Awatali nsonga n’owulira ng’ofa
Nze obutundu bwa laavu sijja kubulinda
Emikwano gwe ataagume gireka
Ogenda kulwawo ng’amasanyu togafuna
N’otulo tufuuke twa mpaka otufuna
Anti omutima gusula guli wa Cissy
So nga gw’omaliddeko endowooza yo
Yali ku beeping okoggera bbule

Beeping zimmazeemu n’amaanyi kandeke
Ka nnyige ku lya red mbyerese
Ababeepinzeeko mumala we nkomye
Ebintu mbitaddeko lock mpummule
Bino mbiggyemu fuse lwa mpaka
Wamma anetaaze sorry gwe mpowa

Ebintu bye nnyumya obiraba ng’olwali
Naye ge mazima laavu yeesaze ebbeeyi
Bya one touch aba agumyemu wa wiiki
Ng’akuba sorry ki mbibeeramu nze ebyo?
Okufuna gwe mwenkanya ekkwano
Eba nsonga mulabe nga kya gold
Baafuuse bazibu bo kye baagala ssente
Oyogera (Osaba) laavu ng’onyumizza mandaazi
By’ebyo ebyange ate tuliddamu olundi
Mpitibwa Kazibwe era n’erya Kapo mpitaba
Emikwano ngitaddeko limit
Abasigaddemu mugume tulibiraba
Yemmwe mukinkase okikola
Olw’amayisa gammwe ag’ekko siisobole
Mpozzi wabeerewo enkyuka
Naye ewatali ekyo omu mbyekubye tteke

Beeping zimmazeemu n’amaanyi kandeke
Ka nnyige ku lya red mbyerese
Ababeepinzeeko mumala we nkomye
Ebintu mbitaddeko lock mpummule
Bino mbiggyemu fuse lwa mpaka
Wamma anetaaze sorry gwe mpowa

Submit Corrections