Taata, maama kyembasaba
Okungattira mu kusoma kwemumpa
Ng’obugunjufu obusookerwako
Nsobole okugya mu bantu
Sso nno buntuntu bwebuti
Obuswaza abatiibwa
Butamanya mpisa mu kulya mmere
N’ebiringa bwebityo

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Ab’edda nga basenyesa miti
Naye akamwa nga kawunya kawoowo
Close-Up tebaamulina
Ng’abandi basenyesa vvu
Abaaluno okusenya kwalema
Delident adibirayo
Abamu amannyo nago yellow
Temuseka tuswala!

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Omwana ng’afeesafeesa
Mulabule ng’omugamba kunyiza
Kuba ne bw’aba ng’aliba professor
Tekitegeeza kufeesafeesa
Omwana bw’alya aswankula
Mugambeko akireke
Lwaki ayiga eby’ewala?
Nga tamanyi kwefaako!

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Taata okusena mu nva
Mutabani ky’oba omutendese
Oba ekyayi okisiba mu nnyama
Kimanye nti otendese babo
Omwana bwatalirya kukkuta
B’osanga mu nkaayana
Ndya mutwe sirya nze kyensuti
Nga mukyala we kale amufutiza

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Maama nze ndi wa buwala
Bw’onondeka nze nendalambala
Maaso eyo ndiswala nnyo
Manya naawe ndikunenya nnyo
Leero ndi muto enkya nina okkula
Mmanyisa ebyama byonna
Siri ku mwami nze kungoba
Ng’ebyamaka bigaanye

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa
Bazadde munnyambe
Byessimanyi munnuŋŋamyenga
Kiriba kibi nga bansekerera
Mulirabe bwe lyakula omuwawa

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin