Batutunze bageziwadde nnyo ensi yo bagitunze my God
Nkaaba mununge nkaaba ng’eno ensolo ku ttale eno ennunge namunungu ezzaawo
Mukama ensi bagitunze
Gyewatonda abantu mwattu byo abitunze
Bangi batutunze tebalaba naye batutunze
Nkaaba nga nno mpunze nkaabira kimu ensi yange bagitunze
Emigabo gyo bagitunze tufugibwa balina ennimi zaabwe ezo bagirunze
Beerabidde eby’obuwangwa ennimi zaabwe eggwanga lyabwe balitunze
Maama gyetulaga enzikiza ekutte maama, dada
Musomesa biki abaana bammwe?
Nammwe kyemulaga ekyo enkya abaana bammwe kyebalaba
Muvudde mu byammwe eby’okwefuga, eby’okulya byemweyiggira
Mugenze n’ebyabi byemwasoma
Muwoza article nnema
Mulwadde n’ebirwadde kandida
Mubitegedde mutya mmwe bannabirya?

My God kati tuyambe
Emitima gyabwe gizimbadde
Bbugubbugu gubatambadde
Beyambudde, bambadde
Emisege, nga gyambade
Eddiba ly’engo nga gitulumbye
Ente zo bazitwala Mukama anunge
Taasa abaana bo, babalumbye
Eby’obugagga bwabwe babitunze
Ensozi, gold n’amazzi

Tusula bubi eno gyetusula
Tuzingiddwaako mu nsi yaffe netutuula
Hmmm tusiibirira ntula, nyaanya n’ebisula
Oluusi tetulya oluusi mwana wattu tusula
Mukama Katonda gguluddene mwattu eyatutonda
Nkaabira gwe nga sinnata Mukama n’anunda
Nnoonya byennina ebyo ebintunda byensunga
N’abange byembawa ebyo baabizunga
Baabipinga baagala biri eby’abajinga
Baagala biri ebyabali abajapanitunga
Abatukolera emmundu ezitutunda n’ebiso ebyo ebitutunga
Abatulaga entalo n’okwagala abo abakukufunga
Abaggyawo okwagala n’okusuubira essuubi omala batunda
Kaakati obasendasenda bagendere ku kyebatunda

Bandigaba n’empeke abaana b’abatunda
Bazaala baana b’emitwe anti baatutunda
Obasanga banjula nga basaba n’enguuna
Babasala biguuna bawunze abaana bampenga
Baabo, benda ku bali
Bano benda ku bali ono yakoze biri
Emikisa bagisibye bakutte abagoberezi ba sitaani abakutte amaaso laba luli
Amasimu gaabwe go tegawummula
Banzibira wala bwentyo bandaba

Oli akutte muwala we
Atudde ku muganda we
Laba ono atunda ku aunt we
Cousin, Sister bonna bali ku bbaawe
Aah mu kuzaala bakaaba
Omuliro gubumbujja nga gwokya
Abakola batyo empeera baagakaaba,
Baagakaabanga, betulugunyanga
Ebirungi bwebatyo baabisuulanga
Baalinnyira wansi ettabaaza baagizikiza kaakati bali mu nzikiza
Bakaaba kibakutte ekizikiza ekitangaala abazungu bakitutte
Nga batukaabya
Boogera luzungu batutunze
Maama we ne taata we nabo abatunze
Abeeganye ensi ye ng’agitunze
Maaama maama
Yeah eh
Oh, oooh oh
Temunkaabya
Bannayuganda nze
Ensi yo bagitunze

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin