Batujooze Nnyo Lyrics – Gravity Omutujju

Be be be be be
Be be be be be
Be be be be be
Eh eh eh eh eh

Ffe eno tubonaabona
Bo bali mu ntebe
Tusula njala
Bo bali ku nkoko
Ffe eno tubonaabona
Bo bali mu cover eyo
Bawuuta ssupu

Batujooze nnyo
Batujooze nnyo (kwata)
Tetulina na bwogerero
Kitususseeko
Kitususseeko
Kati n’emmere ya kigero
Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi
Bajooga nnyo
Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change
Kyetuzzaako

Yalyose n’etonnya twalabye obuziina
Abakulembeze ekisa nga temukirina!
Siri munnabyabufuzi era temunnona
Naye mmwe mweroopye mwekka nga mukaayana!
Mu nnaku gye tulimu nga tubonaabona
Ng’amazima ensi zonna ziri mu kulaajana
Naye mmwe muli ku musimbi mugugabana
Ne mwerumiriza nga tewali kuwakana
Kino ekiriwo ka kibaanike mu kasana
Tukakasizza nti temufa ku batalina
Emiggo gye mutukubye ssi za ku bubina
Mutukubye ku mutwe ate nga bwe mutusuna
Matooke ge mulya musibisa na luyina
Ffe n’akawunga tukanoonya tetukalina
Katusabe Katonda yekka y’alitujuna
Lunaku lulikya abaluvu ne tubawona

Batujooze nnyo
Batujooze nnyo
Tetulina na bwogerero
Kitususseeko
Kitususseeko
Kati n’emmere ya kigero
Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi
Bajooga nnyo
Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change
Kyetuzzaako

Tusirise nnyo naye nga temutufaako
Bwe musala enkoko byoya bye mutuwaako
Tutandise onafuwa emyaka gituweddeko
Naye olukiiko lw’abaluvu lulemeddeko
Kati nno twekyaye naffe katwogereko
Eby’okusirika abatuuze tubivuddeko
Lino eddoboozi buli muntu limutuukeko
Buno obusajja ndaba bwagala kutulinnyako
Buli omu gy’ali yonna kino kikukwatako
Eddembe ly’obuntu lwaki lituggwaako?
Ab’amaduuka mulowooza ki ekiddako?
Boda ne Takisi essanyu libaweddeko
Tetukola ate landiloodi azitukwatako
Ab’amasannyalaze bo Yaka bamuggyako
Bwe twali twatereka bwonna butuweddeko
Tuli mu loan, emmaali zaatuvundako

Batujooze nnyo
Batujooze nnyo
Tetulina na bwogerero
Kitususseeko
Kitususseeko
Kati n’emmere ya kigero
Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi
Bajooga nnyo
Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change
Kyetuzzaako

Omuwi w’omusolo gyali tateredde
Kubanga gwawaayo mpaawo waafunidde
Abatukiikirira zonna baaziridde
Omuntu wa wansi tebamujjukidde
Olaba beegabira ensimbi mu bulwadde!
Teri kuzizzaayo abamu baalayidde
Mu mazima nga tuli waka tweggalidde!
Maama akaaba n’amabujje tegalidde
Funamu ku nsonyi ku myaka gy’ofugidde
Abantu baagumye batudde bakkalidde
Naye n’ekyokulya ewaka tokibawadde
Mukama taata tusaasire tuswadde
Mululu n’enguzi bisinze ku kirwadde
Tuli mu mikono kola nga bw’oyagedde
Kabalye baabike ffe tubakulekedde
Sirina bingi kuyimba kwe nsobodde

Batujooze nnyo
Batujooze nnyo (kwata, kwata)
Tetulina na bwogerero
Kitususseeko
Kitususseeko (koona, koona)
Kati n’emmere ya kigero
Bakeera ku chips eyo ne batuweereza obuugi
Bajooga nnyo
Bintu bya gavumenti eno ndaba byetaagamu change
Kyetuzzaako
Oooooh

Submit Corrections