Noonya, noonya
Dokita ajjanjaba ennugu
Noonya, noonya
Yenna amanyiiyo yamba
Dokita ajjanjaba effitina
Noonya, noonya
Kuba abantu
Baagala okuzikiza ettabaaza
Nneme kulaba gye ŋenda
Battima abantu bakaawu
Badui sana
Baagala okunkubya emiranga
Ng’ate omusango gwenazza
Gwa kolerera future yange
Badui sana
Wabula abantu aaah!
Emitima gyabwe girimu akantu
Gyo girimu akantu
Related: Zanie Brown offers bursaries to orphans
Nsiiba nkola ensi eno kupanga
Ne taata yaŋŋamba nti
Abawangula bakyawa ofuluuta
Nsiiba ntawuka ssi wummula
Abaana bange basange
Nga waliwo entegeka
Ekyakabi gye nkolera
Wajjuddeyo abadui
Baagala bo bokka be baba bafuna
Ayi Mukama laba
Mazima oli akeera (haaa!)
N’akwata ssente z’alina
N’aziwa abaana (haaa aaah!)
Bavume oli amusinga
Mu kifo ky’okumugulira ka soda
Amuyigirize bw’apanga
Wabula ennugu eri expensive
Sirina nze muntu gwe nteeka
Ndi ku lwange ntambula
Abali maaso besifaako
Wabula mbatiisa
Mukama laba
Related: Muyaaye Lyrics – Zanie Brown
Ekinsesa obudde bwabwe babwonoona
Nga balwanyisa nze
Ne batamanya Katonda wange tabongoota
Ne lwe banvumye neebaka
Ssibulwa mirembe manyi
Tebayinza kummaliriza
Sigaana bayinza okunnakuwaza (aaah)
Naye Katonda kye yasimba
Ne bw’okiloga era kimera (aaah)