Bannakampala Lyrics – Alex Mukulu

Bannakampala nga mwogera!
Bannakampala nti nga mwogera!
Bannakampala nga mwogera!
Ooh bannakampala nga mwogera!
Ssibanenya abagenze ne batadda
Badduse, badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako, ne basoma enjiri

Lutaaya nti batta mutte!
Katumba ye yamutta
Katumba ayinza atya omwana wa ssebo?
Okutta mukwano gwe enfiirabulago!

Bannakampala nga mwogeraI
Oh bannakampala nti nga mwogera!
Bannakampala nga mwogera!
Ooh bannakampala nga mwogera!
Ssibanenya abagenze ne batadda
Badduse, badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako, ne basoma enjiri

Mukasa ssente aziggya wa?
Alimbalimba abantu nti akuba bidongo
Budongo ki n’olubiri lw’ennyumba
N’ovuga n’omukyala n’avuga!

Bannakampala nga mwogera!
Eh bannakampala nti nga mwogera!
Bannakampala nga mwogera!
Ooh bannakampala nga mwogera!
Ssibanenya abagenze ne batadda
Badduse, badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako, ne basoma enjiri

Mukulu ssente aziggya wa
Omusajja mubbi nnyo ez’ekkanisa z’aliko
Kasooka mbaawo ssirabanga nsimbi
Kuwandiikiddwa bbanka ya church
Ssente ze tukozesa Bank Governor
Zonna awandiiseeko Bbanka ya Uganda

Bannakampala nga mwogera!
Ooh bannakampala nga mwogera!
Bannakampala nga mwogera!
Eeh bannakampala nga mwogera!
Ssibanenya abagenze ne batadda
Badduse, badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako, ne basoma enjiri
Katonda asse omukono gwe ku kibuga Kampala
Abantu bave mu kukuba omudomo bakole
Amen

Bannakampala nga mwogera!
Eeh bannakampala nga mwogera!
Bannakampala nga mwogera!
Oooh
Ssibanenya abagenze ne batadda
Ssibanenya
Badduse
Badduse
Badduka bigambo
Badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
Ab’ebbula by’okola
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako
Bwe gaggwaako
Ne basoma enjiri
Ne basoma enjiri
Ssibanenya abagenze ne batadda
Ssibanenya abagenze ne batadda
Badduse
Badduse
Badduka bigambo
Badduka bigambo
Kyokka Kampala ye yasoba
Kyokka Kampala ye yasoba
Ab’ebbula by’okola be basingamu
By’okola, by’okola
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bakeera ku makya ne bagula amawulire
Bwe gaggwaako
Bwe gaggwaako
Ne basoma enjiri
Ne basoma enjiri
Katonda asse omukono gwe ku kibuga Kampala
Abantu bave mu kukuba omudomo bakole
Amen

Katonda asse omukono gwe ku kibuga Kampala
Abantu bave mu kukuba omudomo bakole
Bakole, bakole, bakole
Bakole nga Mukwano
Bakole nga Mukwano
Bakole nga Karim
Bakole nga Mulwana
Bakole nga Kisekka
Bakole nga Ssekalaala
Bakole nga Kisozi
Bakole nga Kato
Bakole nga Pike
Bakole nga Batuma
Bakole nga bwe tukola
Bakole nga Mukwano
Bakole nga Karim
Bakole nga Mukwano
Bakole nga Karim
Bakole nga Mulwana
Bakole nga Kisekka
Bakole nga Ssekalaala
Bakole nga Kisozi
Bakole nga Kato
Bakole nga Pike
Bakole nga Batuma
Bakole nga bwe tukola
Bakole nga Batuma
Bakole nga bwe tukola
Bakole nga Wavamunno
Bakole nga Madhivani
Bakole nga Wavamunno
Bakole nga Sembule

Submit Corrections