Bamulya Asooka Lyrics – Fred Ssebatta

Ndaba ku ki eyambulako edda
Mwana wange mukulike ekkubo
Mbawadde rank mweyisa kizungu
Buno bwe budde bwe mwalaga
Nsanyuse nnyo okujja ne muzzukulu wange
Gwe mwansuubiza
Nti ndi wa mutuuma erinnya akuze
Mutabani eyo gyobulidde y’efuna
Laba bw’otuzaaliddeyo ki baby
Katulabe omusaayi gwaffe gwennyini
N’ennyindo ya muzeeyi jajja Nzera
Ku byana biwala ebyaze kuno enkumu
Mutabani obutawasa nalumwanga ennaku
Ŋŋumye mukomwana kati nfunye
Nsanyuse muzze n’okutuuma erinnya baby
Naye ate wano ka mbuuze nga ffala
Ng’omwana tannatuumwa linnya mumponye
Bano baki abambadde enkutu abazze babawondera?
Nga bankubye ensonyi!

Muzeeyi munnange mutwanirizza mwebale
N’omwana omusiimye n’onzikiriza
Naye bamulya asooka be twazaddemu baasoba
Eby’obuwangwa taata babikutamya
Buli muggulanda ewaabwe tteeka okuttibwa!
Ne bamulya omuchomo n’azikirira
Oba ssi ekyookumutuwa atuumwe erinnya
Gwe kitange osooka kuzannya matatu
Ng’oli ne mukomwana n’akulaga essanvu lye
Gwe n’oggyayo bbiri awo n’ogimukuba
Ako ke kasiimo taata k’owaayo okwebaza
Olw’okuzaalayo ne banzikiriza
Era abo be bako abatujiddeko b’olaba
Be bazze okukakasa obujulizi
Guma mukomwana ajje akulage essanvu lye
Olwo luggwe baby aleme kuliibwa

Woowe mwana wange luno ng’onzise!
Neemoola ntya ne mukomwana tubikkule bucaanisi!
Buba buswavu bwennyini!
Nze omuntu omukulu ne nkikola ekyo nvumwa
Mbeera kisassalala kyennyini
Ye mbuuza lwaki wekyankuula ssebo
N’ogenda owasa mu kabira z’ewala?
Ab’eggwanga lyo n’ojja obaleka eyo ebbali
Betwandikwataganye nootalamuza bya nsonyi
Ffe okutuuma amannya ssebo
Eno ewaffe tetusooka caanisi
Era mukomwana teyeramba luggya
Onkwase n’obuko olw’okuwonya baby?
Oba omwana bamulya
Bamulye siggya nze kuswala bya kito
Ndayira jajjange Nzera

Muzeeyi munnange kye nkusaba onsaasire
Weegumye omale gazannya matatu
Omwoyo gw’omwana gususse nnyo okunzita
Gwe nsoose okuzaala n’azikirira?
Ye manyidde wa oba gwe nkomyeko baabuwe?
Nga Mukama ye chance gye yangerekera
Weewaawo nawaba ne nzaala mu byetere
Temunnenya nali nina kukikola
Ku mawanga gye nali ddala ewala ennyo bwewatyo
Nandiggye wa omukazi azaalibwa kuno?
Era nali nina kupanga bali abaakuli
Ab’e Bulya asooka ne mpasa abo
N’obulungi bwa Sitina bwansukkako ne nkemwa
Nga figure ye ssi y’etakusikiriza
Oba nsobi nga yajja kye nkusaba onsaasire
Omwana omale gamutuuma linnya
Guma mukomwana ajje akulage essanvu lye
Tununule ssebo omusaayi taata
Mazima omwana asusse nnyo okunnuma
Kebamulya ngya kwekola ekikyamu

Abavubuka abatawasanga
Baana bangnge mugende mpola
Temumala gapaala bwemutyo
Empisa z’obuwangwa buli wantu zaawuka
N’enneeyisa tetugifaananya
Weebuuzenga nnyo omuntu gwe wasiima ebimufaako
Nga tonnaba kucanga caanisi
Wandigwa ku mukazi mu dda n’akufuukira omuteego
Eby’omukwano nemubyevuma
Waliwo n’obulombolombo webufuukira obukambwe
Mawanga mangi awatazannyirwa
Gwe kale mbikkulira ntya muka mutabani amakudde ?
Nedda nedda temunaayiza

Siggya kuzannya na muka mwana caanisi
Taata guma kya lumu
Enkola ya bamulya asooka nze ngyewaze
Omuzzukulu omuwaddeyo?
Kabamulye gw’asinga gwe eyabanaayiza
Katonda wange ndi ku ki?
Mugende mugende tukooye na wano abagwenyufu
Omwana wange y’annumye nze
Nange nnyiize nnyo okujja ne mumpemula bwemutyo
Kabalye sirina kya kola

Submit Corrections