Kiki mutuliisa ebijanjalo mu lumbe lw’omugagga?
(Eŋŋwe ezo)
N’obuugi tebunoze sukaali
(Baur on the beat)

Ah ky’ekyindiisa ezange
(Baligabana ebyange bwe ndiba ŋŋenze baligabana)
Ah kye nva seekuba njawulo
(Baligabana ebyange bwe ndiba ŋŋenze baligabana)
Ah Kamenyo ndiwo ku lwa Mungu
(Baligabana ebyange bwe ndiba ŋŋenze baligabana)
Ah baligabana baligabana ebyange
(Baligabana ebyange bwe ndiba ŋŋenze baligabana)

Aaah mbirowozaamu oluusi nange awo ne nesooza
Bwe ndirekawo zi mansion zange ne plaza
Bye nkoleredde ennyo ennyo ebintuuyanyizza
Obilekera omukyala wayita mwaka ne bamuganza
Ku kitanda kyange kukolebweko ebiswaza
Awo ng’omuzimu gw’obuggya ekyo kiriba kinziza
Obilekera omwana talibulwa gwa bitunza
Bw’obilekera ab’ekika famire bagibuzaabuza
Kyokka kkooti ziggwa na nguzi tewaba kubuuza
Ez’ebizimbe kanzinywe sifaayo ne bw’onsooza
Teri yantuma bizimbe era teri ali bimbuuza
Byaki ebinantemuza?
Oba ebirindoza?

Aah ku ngulu baliba banyolwa
Ng’eri munda beesekera
Omulanga agukuba wansi w’ekitanda gy’akebera
Ekigendererwa kiba kimu byapa byange bikwekula
Ebintu byange byendese batandike obilwanira
Baggyeyo amajambiya besuubize n’okwesala
Naye nga ku bonna mpaawo yabikolerera
Abammanja famire yange baligifuukira ekirala
Bakambuwale n’ebyange babule okubitwala
Naye nze be mmanja mpaawo alivaayo n’ayogera
Omulambo gwange baliba batya n’ogusemberera
Kyokka emmotoka y’omulambo yo baliba bagilwanira
Ebyange kambirye ensi ngiveeko nga bwe nagiyingira
Saagala musika kuba tewaliba kya kusikira
Abaana munansonyiwa kuno ssi kubakotoggera
Nkikola kuleka mirembe na bayigiriza kwekolerera
(Kyokka daddy Kamenyo)

Abasawo mu malwaliro be balisooka okunfunamu
Anti ebitundu byomunda byonna balibinzigyamu
Mbu babyetaaga balina eddagala lye babikolamu
Kyokka n’okuva mu ggwanika ssente bazikuggyamu
Mbu olina okusasula ebbanga mayiti ly’emazeemu
Sanyu ly’akola keesi n’ebbeeyi ayongezaamu
Abasezi liba ssanyu baba balinda buzibemu
Kwegamba okufa kwange bangi abakufunamu
Yo kino kirango
(Wuliriza n’obwegendereza)
Aah tonnenya kugenda mu KFC ne ntumya ekikoko
Tonnenya kusanga kyana kya butt ne ssi kiyitako
Bw’onsanga ne nywera ze nkoze tonfaangako
(Aguze Benz kyokka tannazimba)
Zimba mu za nnyoko
Aah tonnenya kunsanga Miami ng’empewo zinfuuwako
Bw’onsanga njooga ntumizza zi Ciroc
Tonnenya waliwo lwe ndigalamira nga ssisobola kutumya yadde kitoko

Bobi Wine beach yaffe eyo
Ba Banjo bakanudde agaaso
Ah Diamond Zari waffe oyo
Agagagga geesunze otwala
Sudhir Mukwano yaffe eyo
Baligabana butto sabbuuni
Omanyi besooka eby’abagenzi
Diggy Baur producer wange eyo
Studio baligigabana
Steven munywanyi wange eyo
Naye ate
Muzanzi’s finest

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *