Huhuhu
Babongoote
David Lutalo
Yaled

Eno ssaala y’abo bonna abanteeka abanjagaliza ebibi
Bambi taata eyatonda eggulu n’ensi nkusabye bawe ebirungi
Ebibaleetera okutigomya abalala obibawenga mu bungi
Osanga banaggwamu omutima ogwo ogubafuukuula mu langi
Nkisabye lwa bulungi
Yadde nga munda nina obulumi
Omutima bagujjuzza ebituli
Naye gwe basasule bulungi
Kuba byennina tebibakkusa
Bandidde nsigazza nkuta, aah
Amannyo nebwegabawanguka
Amagumba beebagalwanira, ooh
Ebibuno nebwebibanuubuka
Waakutte asigala aluma, oh oh

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Okwagala ngatte omusaayi gwange
Ogwo gwe musango gwange
Buli atemye omugongo gwange
Katonda mukuteeredde
Bammekese obugumba bwonna
Nafuuse kabuzi kaabwe
Bataayizza mu nsonda zonna
Bakoonye ekyenyi kyange
Ekinnyiga nti bantegeeza
Mbu ndi muganda waabwe
Nga baagala kubaaga ddiba lyange
Baliise lumonde waabwe
Banfudde mukalo gwa ngege
N’obugumba basonjole
Ninga miwuula gya ffene
Bansokodde bawoomerwe
Mungu bano bwotaabawe
Bamekese enjala zange mu bigere
Bawe emmere babwegere
Balye n’ebigere basindise

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Nja nembuuza taata lwaki?
Katonda ssaabalwanyi
Gwenjagala mponye ebisanyi
Ate y’angiwa omusaayi!
Ow’omukwano mu bitonde y’ani?
Ddala omululu gwaki?
Awava olukaalikaali
Wano eno ensobi eri kw’ani?
Ssebo Mukama Katonda wange, eeh
Bawe emiceere bakkute, ooh
Nze nsaba magezi bwongo
Bo bateere mu mabakuli akalo
Buli kyakulya okibawe leero
Omukkuto gubaleete otulo
Babenga mu kulya bulijjo
Njala yeebefunguza ku buko
Bazinga n’enkata ekiro
Bajja kumira obwana obuto

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Abalabe bange bakkuse (bakkute)
Mukama (babongoote)
Eh, nze neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)
Buli lunaku obawe emmere (bakkute)
Katonda wange (babongoote)
Eh, neeyagale nga beebase (bakkute, babongoote)

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin