Baana Bange Lyrics – Fred Ssebatta

Mwesiimye abalina ba kitammwe
Abaakola entegeka nootosanga bwavu
Vva ku ffe ba nkobazambogo lwotakola
Era kizibu okufuna ky’olya
Kw’oteeka ebizibu eby’enjawulo
Ebikulumbagana n’obulako ayamba
Sso ng’omwana wa boobo
Ye ne bw’akola ekyejo afunako ababiita
Naye bano ba zinkulubuse
Bw’akaaba y’akoowa talina bamuzza
Nange bwe ntunuulira abange
Ne nfuna omutima ogwennyamira olw’ebyo
Gwe nze atalina kye ntegese
Nti kirijuna abaana be nzadde abangi
Neekola n’abaatupikanga nti muzaale
Kibi nnyo n’okuba nga baafa
Abange mbadde wa beetikka
Mbakube ewa jajja eyampabisa mw’ekyo
Nsaasira n’abansisinkana nga ninga omulalu
Atayogera bya buntu
Bannange ndaaga lwa baana
Nze mundeke nabula we ŋumidde
Abaana bangomya!

W’oyitira omugwi w’eddalu nti mwogere
Ng’aboogera obulungi bootolaba
Baana bange njagala mbatuuze
Wadde nga mbalaba muli myaka mimpi
Ekisooka mbasaba munsonyiwe
Olw’entegeka embi ennyo ezansiba mu bwavu
Sso nga nandibadde ne ssente
Naye ekibi amakubo agazitwala mangi
Nga nkoleredde ba nnyammwe
Buli amala okufuna asibamu bigenda
Ate amabujje n’aleka awo
Olw’okubulwa ayamba ne nnoonya omuggya
N’oyo olukuzaalamu ababiri n’amaanyuuka
Nabulwa anywerera mu bwavu
Eyo nno y’engeri gye mwayala
Naye ssi lwakuba nali masanyu mangi
N’abaŋŋamba oluggube lw’abaana
Nze kaŋume kuba tekibalwa mu bivve
Gwe bameka abasinga n’ebyabwe n’awongeera
Naye era n’avaayo bukumbu!
Oba mu kifo ky’emmaali bampa baana
Nakyo nina kukyebaza nsanyuke
Kasita mutandekerere ne muteeka mutima
Bye nzize mbagambe, kirinsanyusa

Mu nsi ne bw’oleka zi faamu
Ng’omwana wo amagezi tafunye kikyamu kuba
Yandikoze plan n’eyitimuka
Omwami anoonyaamu bitundwa
Kye nvudde nsalawo kino ekitono kye nina
Okukibawa mu bwavu bwange
Baana bange njagala mbaweerere
Kuba ky’ekyobugagga kye ngabye mu lwatu
Mweyambise omukisa mwesomere nga ndi mulamu
Mu maaso tomanya biriddirira
Kasita mulaba bannammwe abatasomye
Ensi eno bw’ebagoya obwenvu
Waakiri ngya kwesiba ekkutiya nga ndi mulamu
Temutya ndi munywevu mw’ekyo
Kisinga lwemwetugumbula olw’essuuti obusuuti
Gye nina mu nnyumba
Ye n’obukadde bwange ani alinzijanjaba
Singa temuusome bulungi?
Munyiikire okusoma baana bange
Anaalemwa ekkalamu tandaajaniranga!

Ekirala kye mbakuutira mmwe abaseka
Muve ku ky’okuboolana ekyo kibi!
Waliwo ebibasimattuka nga muli mu mboozi
Ebitawooma gyendi
Gundi ssi mwana wa maama n’ekiva mu kyo
Oluusi muggyamu bikonde
Oba bireetebwa ba nnyammwe be basobya
Ku lwange simanyi bulungi naye nga kinnuma
Agenda n’akabuuza nti ye nga tonyirira?
Wenna otunula bulwadde oba eka bakkuba?
Ne bw’aba nnyina aliyo awaka takakuba
Nako kalian kukiggumiza nti nno bankuba
Jiida mbuulira amazima oba olya n’emmere
Obuviiri bukuseenyuse kiki ekikuluma?
Nako tekamulwisa nti bwe bajjula emmere
Nze maama n’antuma e mugga oludda n’anvuma
Bw’ava ku by’emmere ng’olwo ate abaka ngoye
Ka maama n’akasumbuwa ate nga kakooye
Essweta yo gye naggulira ki togyambala?
Empewo ekufuuyira awo kwe kuzimba amatama?
Ko kko baagiwa Nayiti mw’aba asiiba
Mbu nze nnene tekyantuuka ate sseebikka
Maama wo ki ky’anjogerako eyo ne daddy?
Ngya kugulira keeki bwotannimbe
Ne kalyoka ketentegula ebitasaana
Olw’okuba kafiirira keeki gye wakagambye
Ne ka kkolimya n’agakolimo agatasaana
Nti olabye mwana wange omukazi taakutte?
Naye bulikya n’asiba engugu n’agenda
N’ababe n’aleka awo eno ensi aligiraba
Ng’amaziga ofukumula!

Kale kakazi kattu by’okawangamulira
Amaziga kaddayo bye keetisse
Olwo nako ne katandikira awo
Oludda awaka ne keewunika baabuwe
Kale endowooza za bannyammwe
Z’eziyinza okubaleeta okuboolana muzite
Mulondengamu ebinaabagasanga
Mwagalane oluganda lunyuma lugatte
Tomanya ne gw’ogayirira y’alikuwa omukono
N’osomoka ki goonya
N’olwekyo buli gwe mbalaganga nti wa luganda
Nammwe mumuwanga n’alya
Eky’okuba nga mwawula ba nnyammwe ssi y’ensobi
Emukubya effunfugu mu kyenyi
Ekyo mukivunaananga nze
Naawe ow’ekitalo simanyi bwe wajja
Ate bazadde bannange bwe tufaanana
Ninawo kye mbakuutira ŋende
Mufenga okusomesa abaana
Okusinga lwonozaawa n’oleka amagunju
Nze kati kye nsaba Mukama ng’atuusizza
Ekiseera mwanampitira akyuse
Kubanga bwe ndeka abange nga tebeejuna
Mpaawo alijjayo abayambe
Kindya omwoyo!

Submit Corrections