Ooh
Pakii
Ooh

Ng’osaba osabiranga ku balemeddwa ebirooto ebisoboka (ooh)
Kw’ogatta n’abafudde ebirwadde bambi ebigemeka, baana ba ggwanga (ooh)
Osabiranga omusawo atoga ebiwundu ebitabuka, mwoyo gwa ggwanga
Kw’ogatta n’omusomesa asomesa abatannayawula, akolera ggwanga
Osabiranga bannamagye nga bagenze okumeggana, nabo baana ba ggwanga
Uganda Cranes lumu ebikopo eribiwangula, eyo ttiimu ya ggwanga
Bw’ovugisa ekimama akabenje bekatugumbula, be b’eggwanga
Buli ayokya akatale manya kikyamu ky’okola emmaali y’eggwanga
Entalo ezaaliwo mu biseera ebyayita zaakosa ggwanga
Akasente lwekabuze akalina tomunyiigira, mbeera ya ggwanga
Temuzinenya okutusooka bangi bezaalaba, kati betwegomba
Abagenyi bwavu n’endwadde balina okukyaluka ffe tuli bagagga yeah

Namutikkwa w’enkuba tokuba abato nga bagenze emugga (tokuba baana)
Semusana gwanjuba tokaza ebiryo ke kamere mu dda (ke kamere baaba)
Namutikkwa w’enkuba tokuba abato nga bagenze emugga (yii tokuba baana)
Semusana gwanjuba tokaza ebiryo ke kamere kokka (ak’eggwanga)

Katusabire ne ku bazadde, abazaazi n’abaalera abaana b’eggwanga
Katusabire ne kw’oyo alaba oli ennaku gw’eruma n’amuyamba
Bw’omala okulya sigazaamu agasabira omulimi ye muliisa w’eggwanga
Kimwongera baraka n’oguddako n’abaza nekijuna eggwanga
Ng’oluma empuuta lowooza ku Ssebwanika asula ku nnyanja
Agoberera mmunyenye mukaaga okutuuka e buvanjuba mu budde bw’emmambya
Olunaku lwe eh eh eh
Bwerulituuka naye asasulwe, aah
Emmeeza erikyuka naawe ojjukirwe ku mmeeza y’eggwanga
Kale buli yakuwola asasulwe, gy’emirembe mu ggwanga

Namutikkwa w’enkuba tokuba abato nga bagenze emugga (tokuba baana)
Semusana gwanjuba tokaza ebiryo ke kamere mu dda (ke kamere baaba)
Namutikkwa w’enkuba tokuba abato nga bagenze emugga (yii tokuba baana)
Semusana gwanjuba tokaza ebiryo ke kamere kokka (ak’eggwanga)

Nange simanyi oba baliba bameka abaliwulira ebigambo bino
Nkwanga simanyi oba ziriba mmeka empeke eziriva ku kikongoliro eh
Tuliramulwa lwa nsobi zetwakola, ebyasoba
Abamu lumu balisiima ebirungi byetwakolanga
Sseruwagi mulisa omumuli, abato baleke (ooh, show time)
Abato baleke (ooh)
Ba la ba ba ba
Abato baleke (ooh)
Mulisa omumuli (ooh)
Herbert Skillz gwebawaana
Ooh
Ooh
Ooh

Deal done

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin