Aah ah
Ayi Beene
Nga nze Da Agent wo
Arghhh
Akulukutira ku beat

Both
Ah naye baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Ono ye baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Omutanda ye baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Tasosola mu mawanga wa kisa
Nange baamuŋŋamba
Kabaka wange baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Kabaka wange baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Omutanda ye baamuŋŋamba
Baamuŋŋamba
Tasosola mu mawanga wa kisa
Nange baamuŋŋamba

Betinah
Mazima ani yali amanyi nange? (sabula)
Ndirinnyako mu Lubiri lwo Bbaaffe (eeh!)
Ne nnyimba, nga bwe mbiibya!
Ng’abantu nga bwe basaakaanya
(Nange ne mpaana)
Ndi mukyala Mudaama nemanyi (eeh)
Mu maaso ga Kabaka mba Muganda yennyini
Anti ayaniriza buli omu yenna gy’avudde
Tasosola mu mawanga wa kisa
Kye nva mbiibya ne nsuuta (ne nsuuta)
Ne nninnya nga ssirinnya (Baur, Baur)
Ne ndatta ne nsaakaanya
Nti aggundeggunde Beene

Agent
Baŋŋamba nti omulembe Omutebi yaguwa bavubuka
Ffe tukole ku nsimbi tusobole okwekulaakulanya
Teyeetaba mu ntalo ayaniriza amawanga gonna
Buli ewasobye era gwe bayita
Kuba wa kisa ate era mutabaganya
Olaba nze Omusaamya yennyini era sseddira
Naye mu Lubiri lw’Omutanda nvimba nga Mulangira!
Muwaana nemerako kuba ekituufu yankwatako
Ky’ova olaba kati ne beat z’Olugand a akulukuta nzituulako
Ye Kabaka, Beene eeh!
Maasomoogi, Mutanda eeh!
Bemba Musota, Cuucu eeh
Magulunnyondo eh!
Bwe ntandika okugabasomera nkeesa ne nsulawo
Amukwataako gwe nfiiraako mufumita n’effumu

Oggundeggunde ayi Beene
Savaam Music
Bettinah Fassie, argggh
Eddie Dee

Both
Saagala amwerijjirako saagala bakkeme!
Ogabattuke nkukubirewo emigere gya Van Damme
Okukkulumme ovunname onnegayirire
Ate nneme gwe ewali Kabaka waffe
Omukenkufu kali gwe toba nnume
Nange anaamugambako musse! eeh
Mukwateko nkutte! eeh
Ssikwegezaamu Bemba (tomwegezaamu)
Ono ye Bbaaffe (ono ye Bbaaffe)
Ono ye Bbaaffe, Empologoma
Kye nva mbiibya ne nsuuta (ne nsuuta)
Ne nninnya nga ssirinnya (Baur, Baur)
Ne ndatta ne nsaakaanya
Nti aggundeggunde Beene

Hmmm
Tokoppa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *