Ayi Namasole wa rosary entukuvu
Gwe Kiwamirembe nnyaffe ow’e Fatima
Eyakutonda yakutaliza buli kibi
N’akuwa okuzaala Yezu Omulokozi
Tuutuno ffe abaana bo abaakukwasibwa
Twesingira omutima gwo ogutalina bbala
Obwa kabaka bwa Kristu buubuno wano
Yeruzaalemu omujja Eklezia
Kati abatamanyi Mulokozi bamumanye
Naffe tufube okutuuka ku nkomerero
Ayi Namasole wa rosary entukuvu
Gwe Kiwamirembe nnyaffe ow’e Fatima
Eyakutonda yakutaliza buli kibi
N’akuwa okuzaala Yezu Omulokozi
Tuutuno ffe abaana bo abaakukwasibwa
Twesingira omutima gwo ogutalina bbala
Ekifo kino ekyaffe, Kiwamirembe
Kyakukwasibwa Maria okibeeremu
Naffe abaana bo nnyaffe otulabirire
Kati nno tuwera okubeerera ddala ababo
Ayi Namasole wa rosary entukuvu
Gwe Kiwamirembe nnyaffe ow’e Fatima
Eyakutonda yakutaliza buli kibi
N’akuwa okuzaala Yezu Omulokozi
Tuutuno ffe abaana bo abaakukwasibwa
Twesingira omutima gwo ogutalina bbala
Tugulumize Kitaffe ali mu ggulu
Tugulumize mwana omununuzi
Ne mwoyo omutukuza atulambika
Katonda omu oyo ffe gwe tukkiriza
Ayi Namasole wa rosary entukuvu
Gwe Kiwamirembe nnyaffe ow’e Fatima
Eyakutonda yakutaliza buli kibi
N’akuwa okuzaala Yezu Omulokozi
Tuutuno ffe abaana bo abaakukwasibwa
Twesingira omutima gwo ogutalina bbala