Apple Lyrics – Beijing Busagwa

Beijing Busagwa obwa Scorpion
Nga buwulugumidde mu kibuga Beijing
Kagikuba ye Challenger
(Challenger Pro)

Mwanamuwala omusuffu amannya ye Brenda
Namusanga Makindye eyo ku Calendar
Mba ndi ku kkubo nga nina gwe ninda
Kwe kulaba omuwala afuluma Calendar
Mwanamuwala nga ye Katonda yamuwunda
Okuwulira amannya mbunno ye Brenda
Ng’ali n’emikwano gye nga bwe baazirunda
Gwe nali mmanyiiko omu nga ye Nagginda
Baali bampitako bonna nga bagenda
Nga bonna abagenda njagala Brenda
Nga bw’omanyi ntinno tavaamu oyo Ddunda
N’akasimu ke eby’okuvuga tekaabirinda
Ne neegumya engeri gye neeyita commander
Nsembedde nno olwo mbuuze ku Brenda
Neeyanjudde awo amannya neeyise na Zandar
Ne neefuula atamayi nti nno ye Brenda
Nasooka ne mmugamba hullo madam Lindah
Ko ye bambi oh am sorry mukulu Zandar
My name is Brenda from Kawanda
Ka nnywe ku twendo mbanyumize nga bwe byagenda

Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono (international)
Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono

Obulungi bw’ono omwana bwa nnyo
Buli amulaba walaayi yatya nnyo
Kubanga alabika bulungi atukula
Buli amusanga amwegwanyiza, eeeh
Ma baby otukula tamanyi bakyotala (alaali)
Okukuuma leka ngule kitala
Nkuutekeko gyoggi wabule akugambako oh oh oh
Oli wange nzekka baby tongiwa
Obulungi bwo nze mbwetaaga

Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono
Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono

Yamala n’akkiriza era yagonda
Ne nkuba akabonero ne neebaza Katonda
Ne tulinnya enziga era ne tugenda
Bwe yatuuka eyo ewaka n’atuula ku veranda
Ne nnyingira mu nnyumba ne ndeeta akatunda
Ne mmuwa ne tutuula emboozi n’egwa amakerenda
Ne mmunyumiza obudde eno nga bwe bugenda
Ng’eddoboozi lye muli nze linkyusa eby’enda (walaayi walaayi)
Kwe kukyuka n’aŋŋamba nti nno njagala genda
Kko nze ekidde ky’enkuba kibindabinda
Ofaayo bw’obivaako bambi eby’okugenda?
Ne nfukamira n’ebyomulwisa ne neetonda
Kwe kuŋŋamba ye nti bambi teweetonda
N’obudde buubuno bukyali ziri mwenda
Ne mmukwata ku mukono ne tugenda munda
Nennemerako ne twebaka era teyagenda (aah)
Bwe bwakya ne mpulira essanyu muli munda (clear!)
Okuva kw’olwo n’omukwano ne gulanda
Okuwunzika mu love tuli baaluganda
Ku bbanga lye mmaze naye ono ye tayenda
N’abamukwana eyo mu kkubo abakuba emyenda (nkwetaaga)
Abagamba tabagaala nze gwe yalonda
Ŋŋenda mutwalako mu church ewa Kiganda (mmutwale asabe)
Mukube embaga mmutokose ebyenda

Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono
Ono ava munsi y’abalungi
Atukula alinga lususu lwa apple
Walaayi ssibalimba eeeh
Nze akkirizibwa okubeera n’ono

Obulungi bw’ono bw’alaali
Bino bye mbagamba ssi bya lwali
Ssikuba kalimi nga Ddunda
Kibunoomu gwe nina ekituufu kyo abasinga (hmmm!)
Anti ono Beijing Busagwa
Kagikuba
Challenger Producer
Cairo Walker nalulungi ono akutumidde
Yo!

Submit Corrections